Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Buulira Okusobola Okufuula Abantu Abayigirizwa

Buulira Okusobola Okufuula Abantu Abayigirizwa

Buulira Okusobola Okufuula Abantu Abayigirizwa

“Pulisikira ne Akula bwe baawulira [Apolo] ne bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.”​—EBIKOLWA 18:26.

1. Wadde nga yali “ayaka mu mwoyo,” kiki Apolo kye yali yeetaaga okumanya?

PULISIKIRA ne Akula, Abakristaayo abafumbo ab’omu kyasa ekyasooka, baalaba Apolo ng’ayogerera mu kuŋŋaaniro mu kibuga ky’e Efeso. Olw’okwogera obulungi era mu ngeri esikiriza, Apolo yaleetera abamuwuliriza okussaayo omwoyo. Yali “ng’ayaka mu mwoyo,” era yali ‘yigiriza bulungi ebikwata ku Yesu.’ Kyokka, kyali kyeyoleka kaati nti Apolo yali ­‘amanyi kuyigiriza kwa Yokaana kwokka.’ Wadde nga Apolo bye yali ayigiriza ku Kristo byali bituufu, naye yali amumanyiiko bitono nnyo. Apolo yali yeetaaga okwongera okumanya ekifo Yesu Kristo kye yalina mu kutuukirizibwa ­kw’ebigendererwa bya Yakuwa.​—Ebikolwa 18:24-26.

2. Mulimu ki omuzibu Pulisikira ne Akula gwe baakola?

2 Awatali kulonzalonza, Pulisikira ne Akula beewaayo okuyamba Apolo okukwata “byonna” Kristo bye yalagira. (Matayo 28:19, 20) Ebyawandiikibwa bigamba nti baatwala Apolo ‘ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.’ Kyokka, waaliwo ensonga endala ezaali zikwata ku Apolo ezandireetedde Abakristaayo abalala okulonzaalonza okumuyigiriza. Nsonga ki ezo? Era kiki kye tusobola okuyigira ku kufuba kwa Pulisikira ne Akula okuyigiriza Apolo Ebyawandiikibwa? Okwekenneenya ebyo ebyaliwo kusobola kutya okutuyamba okufuna be tuyigiriza Baibuli?

Essira Lisse ku Byetaago by’Abantu

3. Lwaki ebimu ebyali bikwata ku Apolo tebyaziyiza Akula ne Pulisikira okumuyigiriza?

3 Apolo yali Muyudaaya era kirabika yakulira mu kibuga ky’e Alegezandereya. Mu kiseera ekyo, Alegezandereya kye kyali ekibuga ekikulu ekya Misiri era ekitebe ekikulu eky’obuyigirize obwa waggulu, era nga kimanyiddwa olw’etterekero ly’ebitabo eddene. Ekibuga ekyo kyalimu Abayudaaya bangi awamu n’abayizi. N’olw’ensonga eyo, Enkyusa ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani emanyiddwa nga Septuagint, eyo gye yafulumizibwa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Apolo yali ‘amanyi bulungi Ebyawandiikibwa’! Akula ne Pulisikira baali bakozi ba weema. Baatya okuyamba Apolo olw’okuba yali mwogezi mulungi? Nedda. Olw’okuba baalina okwagala, baafaayo ku muntu, ku byetaago bye ne ku ngeri gye baali bayinza okumuyambamu.

4. Ludda wa, era mu ngeri ki Apolo gye yafunamu obuyambi bwe yali yeetaaga?

4 Ka kibe nti Apolo yali mwogezi mulungi nnyo, yali yeetaaga okuyigirizibwa. Obuyambi bwe yali yeetaaga yali tayinza kubufuna mu Yunivasite yonna naye yali ayinza kubufuna kuva eri Bakristaayo banne mu kibiina. Apolo yali ali kumpi okuyigirizibwa ensonga ezandimuyambye okutegeera obulungi enteekateeka ya Katonda ey’obulokozi. Pulisikira ne Akula “baamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.”

5. Kiki ky’oyinza okwogera ku mbeera ey’eby’omwoyo eya Pulisikira ne Akula?

5 Pulisikira ne Akula baali banywevu nnyo mu by’omwoyo ne mu kukkiriza. Kirabika baali ‘beeteefuteefu bulijjo okuddamu buli muntu ayagala okumanya ebikwata ku kusuubira kwabwe,’ ka kibe nti omuntu oyo yali mugagga, muyivu oba muddu. (1 Peetero 3:15) Akula ne Pulisikira baali basobola ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’ (2 Timoseewo 2:15) Awatali kubuusabuusa, baali bayizi b’Ebyawandiikibwa abanyiikivu. Apolo yakwatibwako nnyo bye baamuyigiriza okuva mu ‘kigambo kya Katonda ekiramu era eky’amaanyi,’ era ekisobola okutuuka ku mutima.​—Abaebbulaniya 4:12.

6. Tumanya tutya nti Apolo yasiima obuyambi obwamuweebwa?

6 Apolo yasiima nnyo ekyokulabirako ekirungi eky’abasomesa be era ne yeeyongera okukuguka mu kufuula abantu abayigirizwa. Yakozesa bulungi okumanya kwe yalina mu mulimu gw’okulangirira amawulire amalungi, naddala mu Bayudaaya. Apolo yali wa muganyulo nnyo mu kuyamba Abayudaaya okukkiriza Kristo. Olw’okuba yali ‘amanyi nnyo Ebyawandiikibwa,’ yali asobola bulungi okubawa obukakafu obulaga nti bannabbi bonna ab’edda beesunga nnyo okujja kwa Kristo. (Ebikolwa 18:24) Era Ebyawandiikibwa bitutegeeza nti Apolo yagenda mu Akaya gye ‘yayambiranga ennyo abakkiriza olw’ekisa; era n’alaga mu lujjudde nti Abayudaaya baali bakyamu, ng’ajuliza mu byawandiikibwa okukakasa nti Yesu ye Kristo.’​—Ebikolwa 18:27, 28.

Yigira ku Byokulabirako by’Abayigiriza Abalala

7. Akula ne Pulisikira baafuka batya abakugu mu kuyigiriza?

7 Akula ne Pulisikira baafuka batya abayigiriza b’Ekigambo kya Katonda abakugu? Ng’oggyeko okuba nti baafubanga okweyigiriza n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana, bateekwa okuba nga baaganyulwa nnyo olw’okubeera awamu ne Pawulo. Okumala emyezi 18, Pawulo yabeeranga mu maka ga Akula ne Pulisikira e Kkolinso. Baakoleranga wamu eweema n’okuziddaabiriza. (Ebikolwa 18:2, 3) Lowooza ku mboozi ezikwata ku by’omwoyo ze bateekwa okuba nga baanyumyanga. Nga baaganyulwa nnyo mu by’omwoyo olw’okubeera awamu ne Pawulo! Engero 13:20 wagamba nti ‘Atambula n’omuntu ow’amagezi, naye aliba wa magezi.’ Okubeera n’ow’omukwano omulungi kyabaganyula nnyo mu by’omwoyo.​—Abakkolinso 15:33.

8. Kiki Pulisikira ne Akula kye baayiga bwe beetegereza obuweereza bwa Pawulo?

8 Mu kulangirira Obwakabaka, Pawulo yateerawo Pulisikira ne Akula ekyokulabirako eky’omuyigiriza omulungi. Ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume bigamba nti Pawulo ‘yayogereranga mu kuŋŋaaniro mu kkolinso buli ssabbiiti n’akkirizisa Abayudaaya n’Abayonaani.’ Oluvannyuma, Siira ne Timoseewo, bwe baamwegattako, Pawulo ‘yeemalira ku kutegeeza ekigambo, ng’abuulira Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.’ Bwe kyeyoleka nti abantu b’omu kuŋŋaaniro baali tebasiima, Pulisikira ne Akula baalaba nga Pawulo ava mu kifo ekyo n’agenda mu kirala ekyali kisingako obulungi okubuuliramu, mu nnyumba eyali okumpi n’ekuŋŋaaniro. Ng’ali eyo, Pawulo yasobola okuyamba Kulisupo, “omukulu w’ekuŋŋaaniro,” okufuuka omuyigirizwa. Kirabika, Pulisikira ne Akula baakiraba nti okufuula omuntu oyo omuyigirizwa, kyali kintu kirungi nnyo mu kitundu ekyo. Ebyawandiikibwa bigamba: “Kulisupo . . . n’akkiriza Mukama waffe n’ennyumba ye yonna; n’Abakristaayo bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.”​—Ebikolwa 18:4-8.

9. Pulisikira ne Akula baakoppa batya ekyokulabirako kya Pawulo?

9 Ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo mu buweereza bw’ennimiro kyagobererwa abalangirizi b’Obwakabaka abalala, gamba nga Pulisikira ne Akula. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo abalala: “Mungobererenga nze, nga nange bwe ngoberera Kristo.” (1 Abakkolinso 11:1) Nga bagoberera ekyokulabirako kya Pawulo, Pulisikira ne Akula baayamba Apolo okutegeera enjigiriza z’Ekikristaayo mu ngeri esingawo obulungi. Ekyavaamu, Apolo naye yayamba abalala bangi. Awatali kubuusabuusa, Pulisikira ne Akula nabo baayamba okufuula abantu abayigirizwa mu Rooma, e Kkolinso ne Efeso.​—Ebikolwa 18:1, 2, 18, 19; Abaruumi 16:3-5.

10. Kiki ky’oyize mu Ebikolwa by’Abatume essuula 18 ekijja okukuyamba mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?

10 Kiki kye tusobola okuyiga bwe twekenneenya Ebikolwa by’Abatume essuula 18? Nga Akula ne Pulisikira bwe baayigira ku Pawulo, naffe tusobola okulongoosa mu ngeri gye tufuulamu abantu abayigirizwa nga togoberera ekyokulabirako eky’abasomesa abalungi ab’Ekigambo kya Katonda. Tusobola okubeera n’abo ‘abeemalira ku kutegeeza ekigambo’ era ‘abanyiikira okubuulira abalala.’ (Ebikolwa 18:5) Tusobola okulaba engeri ze bakozesa okutuuka ku mitima gy’abantu nga boogera mu ngeri esikiriza. Engeri ng’ezo ziyinza okutuyamba okufuula abantu abayigirizwa. Omuntu bw’aba asoma naffe Baibuli, tuyinza okumugamba okuyita abalala ab’omu maka ge oba baliraanwa be okutwegattako nga tusoma. Oba tuyinza okumusaba atutegeeze abalala be tuyinza okusoma nabo Baibuli.​—Ebikolwa 18:6-8.

Ssaawo Embeera Ezinaakusobozesa Okufuula Abantu Abayigirizwa

11. Abayigirizwa abappya bayinza kusangibwa ludda wa?

11 Pawulo ne Bakristaayo banne abalala baayagalanga nnyo okufuula abantu abayigirizwa nga babuulira nnyumba ku nnyumba, mu katale ne bwe baalinga batambula​—kwe kugamba, mu buli kifo. Ng’omubuulizi w’Obwakabaka omunyiikivu ayagala okufuula abantu abayigirizwa, osobola okugaziya ku buweereza bwo? Osobola okukozesa buli kakisa k’ofuna okunoonya abo abasaanira era n’obabuulira? Ngeri ki ezimu ezisobozesezza babuulizi bannaffe ab’amawulire amalungi okufuna abayigirizwa? Ka tusooke twekenneenye okubuulira okw’oku ssimu.

12-14. Okulaga emiganyulo egiri mu kubuulira okw’oku ssimu, yogera ku ebyo ebyakutuukako oba ebiri mu katundu kano.

12 Bwe yali ng’abuulira nnyumba ku nnyumba mu Brazil, Omukristaayo gwe tujja okuyita Mariya yawa tulakiti omukyala eyali ava mu nnyumba. Ng’akozesa omutwe gwa tulakiti eyo ng’ennyanjula ye, Mariya yabuuza omukyala oyo, “Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?” Omukyala yaddamu: “Nnandyagadde. Naye, ekizibu kiri nti ndi musomesa, ate okusomesa abaana kitwala ebiseera byange byonna.” Mariya yamugamba nti basobola okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli nga bakozesa essimu. Omukyala oyo yawa Mariya ennamba ye ey’essiimu, era akawungeezi ako kennyini, yatandika okumuyigiriza ku ssimu ng’akozesa brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki? *

13 Bwe yali ng’abuulira ku ssimu, omubuulizi ow’ekiseera kyonna mu Ethiopia yatya bwe yawulira oluyoogaano ng’ayogera n’omusajja. Omusajja yamugamba addemu amukubire. Omubuulizi oyo bwe yaddamu okumukubira, omusajja yeetonda era n’amutegeeza nti ekiseera kye yali amukubiddemu essimu, ye ne mukyala we baali bayomba. Mwannyinaffe yakozesa ebigambo ebyo okumulaga obulagirizi obw’amagezi Baibuli bw’ewa mu kugonjoola ebizibu by’omu maka. Mwannyinaffe yamugamba nti amaka mangi gayambiddwa nnyo akatabo Ekyama ky’Okufuna Essanyu mu Maka, akakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’ennaku ntono nga mwannyinaffe amaze okumuwa akatabo, omusajja yaddamu n’amukubira essimu. Omusajja oyo yagamba: “Akatabo kano kawonyezza obufumbo bwange!” Mu butuufu, yali akuŋŋaanyiza ab’omu maka ge n’abategeeza bye yali asomye okuva mu katabo ako. Mwannyinaffe yatandika okubayigiriza Baibuli era mangu ddala omusajja oyo yatandika okugenda mu nkuŋŋaana obutayosa.

14 Omulangirizi w’Obwakabaka mu Denmark eyafuna omuyizi wa Baibuli ng’abuulira ku ssimu agamba: “Omulabirizi w’obuweereza yankubiriza okukozesa essimu mu kubuulira. Ku ntandikwa, nnalonzalonza, nga ŋŋamba: ‘Ekyo si kye kintu kye njagala.’ Kyokka, lumu, nnafuna obuvumu ne nkubira omuntu omu essimu. Sonja ye yagikwata era oluvannyuma lw’okunyumyamu akaseera katono, yakkiriza okutwala ekitabo ekyesigamiziddwa ku Baibuli. Olumu akawungeezi, twakubaganya ebirowoozo ku nsonga ekwata ku kutondebwa, era yayagala okusoma akatabo Life​—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation. * Nnamugamba nti kyandibadde kirungi singa tusisinkana ne tukubaganya ebirowoozo ku nsonga eyo. Yakkiriza. Sonja yali mwetegefu okuyiga nange mu kiseera kye nnagenderayo, era okuva olwo, tusoma buli wiiki.” Mwannyinaffe agamba: “Okumala emyaka mingi nnali nsaba Katonda nfune omuyizi wa Baibuli, naye nnali sisuubira nti nnyinza okumufuna nga mbuulira ku ssimu.”

15, 16. Byakulabirako ki by’oyinza okuwa ebiraga emiganyulo egiva mu kukozesa engeri ez’enjawulo okusobola okufuna abayizi ba Baibuli?

15 Bangi baganyulwa olw’okuteeka mu nkola amagezi agabaweebwa okubuulira abantu yonna gye babasanga. Omukyala Omukristaayo mu Amerika yasimba emmotoka ye okumpi n’emmotoka endala mu kifo emmotoka we zisimba. Omukyala eyali mu mmotoka eri endala bwe yamulaba, mwannyinaffe yatandika okumutegeeza ku mulimu gwaffe ogw’okuyigiriza abantu Baibuli. Omukyala oyo yawuliriza bulungi era n’afuluma mu mmotoka ye n’agenda ku mmotoka ya mwannyinaffe. Omukyala yagamba: “Ndi musanyufu nnyo kubanga oyimiridde n’oyogera nange. Okumala ekiseera kiwanvu, mbadde sikyafuna bitabo byammwe. Ng’oggyeko ekyo, njagala okuddamu okuyiga Baibuli. Osobola okunjigiriza?” Mu ngeri eyo, mwannyinaffe yateekawo embeera eyamusobozesa okubuulira amawulire amalungi.

16 Mwannyinaffe abeera mu Amerika bino bye byamutuukako bwe yakyalako mu kifo awakuumirwa bannamukadde n’abo abalina endwadde ez’olukonvuba: Yatuukirira omukulu w’ekitongole ekimu mu kifo ekyo era n’amutegeeza nti yandyagadde okuyamba mu by’omwoyo abantu ababeera omwo. Era mwannyinaffe yamugamba nti ajja kuba musanyufu okuyigiriza Baibuli ku bwereere bonna abaagala. Omukulu yamukkiriza okugenda mu bisenge ebitali bimu. Mangu ddala, yatandika okuyigiriza abantu 26 Baibuli emirundi essatu buli wiiki era ng’omu ku abo agenda mu nkuŋŋaana zaffe obutayosa.

17. Ngeri ki etera okuba ennungi mu kufuna abayizi ba Baibuli?

17 Abalangirizi b’Obwakabaka abamu bafuna emiganyulo bwe bategeeza omuntu butereevu nti baagala okumuyigiriza Baibuli. Olumu ku makya, ekibiina ekimu ekirimu ababuulizi 105 baakola kaweefube ow’okutegeeza buli muntu gwe basanga nti baagala okumuyigiriza Baibuli. Ababuulizi 86 beenyigira mu kaweefube oyo, era oluvannyuma lw’essaawa bbiri nga babuulira, baali bamaze okufuna abayizi ba Baibuli abappya 15.

Weeyongere Okunoonya Abasaanira

18, 19. Bulagirizi ki obukulu Yesu bwe yawa bwe tusaanidde okujjukira, era okusobola okutuukiriza ekyo, twandimaliridde kukola ki?

18 Ng’omulangirizi w’Obwakabaka, oyinza okugezaako okukozesa agamu ku magezi agaweereddwa mu kitundu kino. Kya lwatu, kyandibadde kya magezi okulowooza ku mpisa y’omu kitundu ng’osalawo engeri ey’okubuulira gy’oyagala okukozesa. N’ekisinga byonna, ka tujjukire obulagirizi Yesu bwe yawa obw’okunoonya abo abasaanira era tubayambe okufuuka abayigirizwa.​—Matayo 10:11; 28:19.

19 Okusobola okutuukiriza ekyo, ka ‘tukozese bulungi ekigambo eky’amazima.’ Ekyo tusobola okukikola nga twogera mu ngeri esikiriza eyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Ekyo kijja kutuyamba okutuuka ku mitima gy’abantu abaagala amazima era kijja kubaleetera okubaako kye bakolawo. Bwe twesiga Yakuwa okuyitira mu kusaba, tujja kusobola okuyamba abamu okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo. Era nga omulimu guno gwa muganyulo nnyo! N’olwekyo, ka ‘tufube okusiimibwa mu maaso ga Katonda,’ nga buli kiseera tuwa Yakuwa ekitiibwa ng’abalangirizi b’Obwakabaka abanyiikivu, ababuulira nga balina ekiruubirirwa eky’okufuula abantu abayigirizwa.​—2 Timoseewo 2:15.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 12 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 14 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Ojjukira?

• Lwaki Apolo yali yeetaaga okweyongera okuyigirizibwa Ekigambo kya Katonda?

• Akula ne Pulisikira baayigira batya ku Pawulo?

• Kiki ky’oyize okuva mu Ebikolwa by’Abatume essuula 18 ekikwata ku mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?

• Osobola otya okussaawo embeera ezinaakusobozesa okufuula abantu abayigirizwa?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Pulisikira ne Akula “baayongera okutegeereza ddala” Apolo Ekigambo kya Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Apolo yeeyongera okukuguka mu kufuula abayigirizwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Pawulo yabuuliranga mu buli kifo gye yagendanga