Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yamba Abalala Okukkiriza Obubaka bw’Obwakabaka

Yamba Abalala Okukkiriza Obubaka bw’Obwakabaka

Yamba Abalala Okukkiriza Obubaka bw’Obwakabaka

‘Agulipa n’agamba Pawulo nti Oyagala okunsikiriza onfuule Omukristaayo.’​—EBIKOLWA 26:28.

1, 2. Kiki ekyaleetera omutume Pawulo okuyimirira mu maaso ga Gavana Fesuto ne Kabaka Kerode Agulipa II?

GAVANA Omuruumi ayitibwa Polukiyo Fesuto yakyaza Kabaka Kerode Agulipa II ne mwannyina Berenike, mu kibuga Kayisaliya mu 58 C.E. Nga bayitiddwa Gavana Fesuto, bajjira mu kitiibwa eky’amaanyi ne baayingira mu kifo awaawulirirwanga emisango nga bali wamu n’abaami abakulu n’abakungu ab’omu kibuga.’ Fesuto yalagira baleete omutume Omukristaayo Pawulo mu maaso gaabwe. Kiki ekyaleetera omugoberezi wa Yesu Kristo oyo okuyimirira mu maaso g’entebe ey’okusala emisango eya Gavana Fesuto?​—Ebikolwa 25:13-23.

2 Fesuto kye yagamba abagenyi be kituwa eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Yagamba: “Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky’Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate. Naye nze ne ntegeera nga takoze kigambo ekisaanidde okumussa: naye ye bwe yajulira Agusito ne nsalawo okumuweerezaayo. Sirina kigambo ku ye eky’amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta we muli, era okusinga w’oli, ggwe kabaka Agulipa, bwe tunaamala okumukemereza ndyoke mbeere n’ekigambo eky’okuwandiika. Kubanga ndaba nga kya busiru okuweereza omusibe n’obutabuulira nsonga eziri ku ye.”​—Ebikolwa 25:24-27.

3. Lwaki abakulembeze b’eddiini baavunaana Pawulo?

3 Ebigambo bya Fesuto biraga nti Pawulo yasibibwako omusango ogw’okulya mu nsi ye olukwe​—omusango ogwaliko ekibonerezo eky’okufa. (Ebikolwa 25:11) Kyokka, Pawulo teyalina musango. Omusango ogwo gwamusibibwako abakulembeze b’eddiini ab’omu Yerusaalemi olw’okumukwatirwa obuggya. Baaziyiza omulimu Pawulo gwe yali akola ogw’okulangirira Obwakabaka era ne banyiiga nnyo olw’okuba yali ayamba abalala okufuuka abagoberezi ba Yesu Kristo. Mu bukuumi obw’ekitalo, Pawulo yaggibwa e Yerusaalemi n’atwalibwa mu kibuga ky’e Kayisaliya ekyali ku mwalo era eyo gye yajulira Kayisaali. Okuva awo yali wa kutwalibwa Rooma.

4. Bigambo ki ebyewuunyisa Kabaka Agulipa bye yayogera?

4 Kuba ekifaananyi nga Pawulo ali mu lubiri lwa gavana era mu maaso g’abantu omwali n’omufuzi w’ekitundu ekyali ekikulu ennyo mu Bwakabaka bwa Rooma. Kabaka Agulipa akyukira Pawulo era n’agamba: “Okkirizibwa okuwoza ensonga zo.” Nga Pawulo ayogera, wabaawo ekintu ekikulu ennyo. Pawulo by’ayogera bitandika okutuuka ku mutima gwa kabaka. Mu butuufu Kabaka Agulipa agamba: ‘Oyagala okunsikiriza onfuule Omukristaayo.’​—Ebikolwa 26:1-28.

5. Lwaki ebigambo bya Pawulo eri Agulipa byali birungi nnyo?

5 Kifumiitirizeeko! Oluvannyuma lwa Pawulo okwewozaako obulungi, omufuzi oyo yakwatibwako nnyo olw’amaanyi g’Ekigambo kya Katonda. (Abaebbulaniya 4:12) Kiki ekyafuula ebyo Pawulo bye yayogerako ng’awoza okuba ebirungi ennyo? Era kiki kye tusobola okuyigira ku Pawulo ekiyinza okutuyamba mu mulimu gwaffe ogw’okufuula abantu abayigirizwa? Bwe twekenneenya ebigambo bye yayogera nga yeewozaako, tusobola okulabamu ensonga bbiri enkulu: (1) Pawulo yayogeranga mu ngeri esikiriza. (2) Yakozesanga bulungi Ekigambo kya Katonda, okufaanagako omukozi omulungi bwe yandikozesezza obulungi ebintu by’akozesa.

Yigiriza mu Ngeri Esikiriza

6, 7. (a) Nga bwe kikozesebwa mu Baibuli, kitegeeza ki “okwogera mu ngeri esikiriza”? (b) Okwogera mu ngeri esikiriza kutusobozesa kutya okuyamba abalala okukkiriza enjigiriza za Baibuli?

6 Mu kitabo kya Ebikolwa by’Abatume, ebigambo by’Oluyonaani ebivvuunulwa okwogera mu ngeri esikiriza bikozesebwa mu kunnyonnyola okubuulira kwa Pawulo. Okwogera mu ngeri esikiriza kituukana kitya n’omulimu gwaffe ogw’okufuula abantu abayigirizwa?

7 Mu lulimi olwasooka olw’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, “okwogera mu ngeri esikiriza” kutegeeza “okumatiza” oba okuleetera omuntu okukyusa endowooza ye oluvannyuma lw’okumunnyonnyola,” bwe kityo ekitabo ekiyitibwa Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words bwe kigamba. Bwe twekenneenya amakulu g’ebigambo ebivvuunulwa okwogera mu ngeri esikiriza, nakyo kyongera okututangaaza. Birimu amakulu ag’okwesiga omuntu. N’olwekyo, bw’oyogera mu ngeri esikiriza, omuntu n’akkiriza enjigiriza za Baibuli, obeera omuleetedde okukussaamu obwesige, era bwe kityo, n’akkiriza by’omuyigiriza. Kya lwatu, tekimala okutegeeza obutegeeza omuntu Baibuli by’eyogerako okusobola okubikkiririzaamu era n’okubikolerako. Oyo akuwuliriza alina okumatira nti by’oyogerako bituufu, k’abe mwana muto, muliraanwa, mukozi muno, musomi muno oba gw’olinako oluganda.​—2 Timoseewo 3:14, 15.

8. Kiki ekizingirwa mu kumatiza omuntu okukkiriza amazima agali mu Byawandiikibwa?

8 Osobola otya okumatiza omuntu nti by’obuulira okuva mu Kigambo kya Katonda ge mazima? Ng’annyonnyola mu ngeri ey’amagezi, etegeerekeka era mu bwesimbu, Pawulo yagezzaako okukyusa ebirowoozo by’abantu be yali ayogera nabo. * N’olwekyo, mu kifo ky’okugamba obugambi nti ekintu kituufu, olina okuwa obukakafu obulaga obutuufu bwakyo. Ekyo kiyinza kukolebwa kitya? Kakasa nti by’oyogera byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda so si ku ndowooza yo. Era kozesa obujulizi obulala okukakasa by’oyogera okuva mu Byawandiikibwa. (Engero 16:23) Ng’ekyokulabirako, singa ogamba nti abantu abawulize bajja kunyumirwa obulamu mu lusuku lwa Katonda ku nsi, kakasa ensonga eyo ng’okozesa Ebyawandiikibwa nga Lukka 23:43 oba Isaaya 65:21-25. Osobola otya okuwa obujulizi obulala okukakasa ensonga yo eyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa? Oyinza okukozesa ebyokulabirako ebimanyiddwa oyo akuwuliriza. Oyinza okumujjukiza ebintu ebisanyusa eby’obwereere gamba nga okugolooba kw’enjuba, akawoowo k’ebimuli, obuwoomi bw’ekibala oba essanyu lye tufuna bwe tulaba ekinyonyi nga kiriisa akaana kaakyo. Muyambe okutegeera nti essanyu lye tufuna mu bintu ng’ebyo, bwe bukakafu obulaga nti Omutonzi waffe ayagala tunyumirwe obulamu ku nsi kuno.​—Omubuulizi 3:11, 12.

9. Tusobola tutya okunnyonnyola mu ngeri ey’amagezi mu mulimu gwaffe ogw’okuyigiriza?

9 Bw’oba ogezaako okwogera mu ngeri esikiriza okusobola okukkirizisa omuntu enjigiriza za Baibuli, weegendereze nti ebbugumu ly’olina terikuleetera kugwa lubege ne kiviirako akuwuliriza okulekera awo okussaayo ebirowoozo. Ekitabo Ministry School kiwa amagezi bwe kiti: “Okwanika obutereevu enjigiriza ey’obulimba ey’omuntu omulala, wadde nga weeyambisa olukalala lw’Ebyawandiikibwa, kiyinza obutamusanyusa. Ng’ekyokulabirako, singa emikolo egimu emiganzi givvuumirirwa ng’egy’ekikaafiri, ekyo kiyinza obutakyusa ndowooza abantu gye balina ku mikolo egyo. Naye kisingako obulungi okumunnyonnyola mu ngeri ey’amagezi.” Lwaki tulina okufuba okunnyonnyola mu ngeri ey’amagezi? Ekitabo Ministry School kigamba: “Okunnyonnyola mu ngeri ey’amagezi kukubiriza abalala okubaako bye boogera, kibaleetera okufuna kye basobola okulowoozaako oluvannyuma, era kituwa omukisa okuddamu okukubaganya nabo ebirowoozo mu biseera eby’omu maaso. Kusobolera ddala okubasikiriza.”​—Abakkolosaayi 4:6.

Okutuuka ku Mutima ng’Oyogera mu Ngeri Esikiriza

10. Pawulo yayanjula atya ensonga ze nga yeewozaako mu maaso ga Agulipa?

10 Kati ka twekenneenye ebigambo Pawulo bye yayogera nga yeewozaako ebiri mu Ebikolwa essuula 26. Weetegereze engeri gye yatandikamu okwogera kwe. Ng’ayanjula ensonga ye, Pawulo yafuna ky’asinziirako okwebaza Agulipa, newakubadde nga kabaka oyo yali akoze ekintu eky’obugwenyufu eky’okuwasa mwannyina Berenike. Pawulo yagamba: “Bye nnavunaanibwa ­Abayudaaya byonna, kabaka Agulipa, nneesiimye kubanga ŋŋenda okubiwoza leero w’oli; era okusinga kubanga omanyi empisa n’ebibuuzibwa byonna ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiikirize okumpulira.”​—Ebikolwa 26:2, 3.

11. Ebigambo bya Pawulo eri Agulipa byalaga bitya nti yali amussaamu ekitiibwa, era byavaamu miganyulo ki?

11 Weetegerezza nti Pawulo yassa ekitiibwa mu Agulipa olw’ekifo kye ekya waggulu ng’amuyita Kabaka? Pawulo era yassaamu Agulipa ekitiibwa olw’ebigambo ebirungi bye yakozesa. (1 Peetero 2:17) Pawulo yagamba nti Agulipa yali amanyi empisa n’amateeka g’Abayudaaya era n’agamba nti yali yeesiimye kubanga yali agenda okuwoza mu maaso g’omufuzi oyo eyali amanyi obulungi ensonga ezo. Pawulo Omukristaayo teyeeyisa mu ngeri eyali eraga nti wa waggulu ku Agulipa, ataali Mukristaayo. (Abafiripi 2:3) Wabula, Pawulo yasaba kabaka amuwulirize n’obugumiikiriza. Mu ngeri eyo, Pawulo yassaawo embeera eyandisobozesezza Agulipa awamu n’abalala abaali bawuliriza, okukkiriza bye yali agenda okwogerako. Yali assaawo omusingi ku kintu kye baali bakkiriziganyaako era kye yali agenda okwesigamyako by’ayogera.

12. Tusobola tutya okutuuka ku mitima gy’abatuwuliriza nga tuli mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka?

12 Okufaananako Pawulo ng’ali mu maaso ga Agulipa, ka tufube okutuuka ku mitima gy’abo abatuwuliriza, okuviira ddala ku nnyanjula y’obubaka bwaffe obw’Obwakabaka, ­okutuukira ddala ku kufundikira. Kino tusobola okukikola nga tussa ekitiibwa mu muntu oyo gwe tuba ­tubuulira era nga tufaayo ku ebyo ebimukwatako ne ku ndowooza ye.​—1 Abakkolinso 9:20-23.

Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda

13. Okufaananako Pawulo, osobola otya okukubiriza abakuwuliriza okubaako kye bakolawo?

13 Pawulo yayagalanga nnyo okukubiriza abamuwuliriza okukolera ku bye yayigirizanga ebikwata ku mawulire amalungi. (1 Abasessaloniika 1:5-7) N’olw’ensonga eyo, yatuukanga ku mitima gyabwe egy’akabonero egyabakubirizanga okubaako kye bakolawo. Nga tweyongera okwekenneenya ebigambo Pawulo bye yayogera nga yeewozaako mu maaso ga Agulipa, weetegereze engeri Pawulo gye yakozesaamu obulungi ekigambo kya Katonda ng’ajuliza ku bintu ebyayogerwa Musa ne bannabbi.​—2 Timoseewo 2:15.

14. Nnyonnyola engeri Pawulo gye yayogeramu mu ngeri esikiriza ng’ali mu maaso ga Agulipa.

14 Pawulo yali amanyi nti Agulipa yali Muyudaaya mu bigambo bugambo. Ng’ayogera ku ebyo Agulipa bye yali amaanyi ku ddiini y’Ekiyudaaya, Pawulo yagamba nti mu kubuulira kwe yali “tayogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja” ebikwata ku kufa n’okuzuukira kwa Masiya. (Ebikolwa 26:22, 23) Ng’ayogera butereevu ne Agulipa, Pawulo yabuuza: “Okkiriza bannabbi Kabaka Agulipa?” Awo Agulipa yasoberwa. Aba kugamba nti yali takkiririza mu bannabbi, erinnya lye ng’Omuyudaaya omukkiriza lyandibadde lyonooneka. Naye, aba kukkiriziganya ne Pawulo, yandibadde yeetadde mu kabi ak’okuyitibwa Omukristaayo. Mu ngeri ey’amagezi Pawulo yaddamu ekibuuzo kye kennyini, ng’agamba: ‘Mmanyi ng’obakkiriza.’ Agulipa yaddamu atya? Yagamba: ‘Oyagala okunsikiriza onfuule Omukristaayo.’ (Ebikolwa 26:27, 28) Wadde nga Agulipa teyafuuka Mukristaayo, awatali kubuusabuusa, obubaka bwa Pawulo bwatuuka ku mutima gwe.​—Abaebbulaniya 4:12.

15. Pawulo yasobola atya okutandikawo ekibiina mu Sessaloniika?

15 Weetegerezza nti Pawulo yabuulira amawulire amalungi ng’awa obukakafu era ng’ayogera mu ngeri esikiriza? Olw’okuba Pawulo yabuulira mu ngeri eyo nga ‘akozesa bulungi Ekigambo kya Katonda,’ abamu abaamuwuliriza baafuka bakkiriza. Bwe kityo bwe kyali mu Sessaloniika Pawulo gye yabuulira Abayudaaya awamu ne Bannaggwanga abaali batya Katonda mu yeekaalu. Ebiri mu Ebikolwa 17:2-4 bigamba: “Awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n’ayingira mu bo mu ssabbiiti ssatu n’abannyonnyola ebyawandiikibwa, ng’ategeeza nti Kristo kyamugwanira okubonyaabonyezebwa n’okuzuukira mu bafu. Abamu ku bo ne bakkiriza.” Pawulo yayogera mu ngeri esikiriza. Yakubaganyanga ebirowoozo, yannyonnyolanga, era n’akozesanga Ebyawandiikibwa okulaga nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. Kiki ekyavaamu? Ekibiina ky’abakkiriza kyatandikibwawo.

16. Osobola otya okufuna essanyu erisingawo mu kulangirira Obwakabaka?

16 Oyinza okweyongera okukuguka mu kwogera mu ngeri esikiriza ng’onnyonnyola Ekigambo kya Katonda? Bwe kiba kityo, ojja kusobola okuba omumativu mu buweereza bwo era ojja kufuna essanyu mu mulimu gwo ogw’okubuulira n’okuyigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Ekyo kye kituuse ku babuulizi b’amawulire amalungi abakozesezza amagezi agatuweebwa okweyongera okukozesa Baibuli mu mulimu gw’okubuulira.

17. Okusobola okulaga nga bwe kiri eky’omuganyulo okukozesa Baibuli mu buweereza bwaffe, yogera ku ekyo ekyakutuukako, oba yogera ku ebyo ebiri mu katundu kano.

17 Ng’ekyokulabirako, omulabirizi atambula ow’Abajulirwa ba Yakuwa yawandiika: “Ab’oluganda bangi kati bakwata Baibuli mu ngalo nga babuulira nnyumba ku nnyumba. Kino kibayambye okugisomera abantu bangi be basanga. Kino kiyambye gwe babuulira n’omubuulizi okukwataganya Baibuli n’obuweereza bwaffe so si na magazini zokka n’ebitabo.” Kya lwatu, okukwata Baibuli mu ngalo nga tubuulira, kisinziira ku nsonga nnyingi nga mwe muli n’empisa ey’omu kitundu. Wadde kiri kityo, twagala okumanyibwa ng’abantu abakozesa obulungi Ekigambo kya Katonda nga twogera n’abalala mu ngeri esikiriza basobole okukkiriza obubaka bw’Obwakabaka.

Beera n’Endowooza ya Katonda mu Buweereza

18, 19. (a) Katonda atunuulira atya obuweereza bwaffe, era lwaki tulina okubeera n’endowooza ye? (b) Kiki ekijja okutuyamba okuddiŋŋana obulungi? (Laba akasanduuko “Engeri y’Okuddiŋŋanamu Obulungi,” ku lupapula 14.)

18 Engeri endala ey’okutuuka ku mitima gy’abatuwuliriza ezingiramu okutunuulira obuweereza nga Katonda bw’abutunuulira era n’okubeera abagumiikiriza. Katonda ayagala abantu bonna “okutegeerera ddala amazima.” (1 Timoseewo 2:3, 4) Ekyo naffe si kye twagala? Yakuwa mugumiikiriza era obugumiikiriza bwe busobozesa bangi okutuuka ku kwenenya. (2 Peetero 3:9) N’olwekyo, bwe tusanga omuntu ayagala okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka, kiyinza okutwetaagisa okumuddiŋŋana enfunda n’enfunda okusobola okumuyamba okutegeera amazima. Kyetaagisa ebiseera n’obugumiikiriza okusobola okulaba ensigo ez’amazima nga zikula. (1 Abakkolinso 3:6) Akasanduuko akalina omutwe “Engeri y’Okuddiŋŋanamu Obulungi” katuwa amagezi ku ngeri y’okuyambamu abantu. Kijjukire nti obulamu bw’abantu​—ebizibu byabwe n’embeera ze balimu, bikyukakyuka buli kiseera. Kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okubasanga mu maka gaabwe, naye okufuba okwo kugwanira. Twagala okubawa akakisa okuwulira obubaka bwa Katonda obw’obulokozi. N’olwekyo, saba Yakuwa Katonda akuwe amagezi osobole okwogera mu ngeri esikiriza ng’oli mu mulimu gwo ogw’okuyamba abalala okukkiriza obubaka bw’Obwakabaka.

19 Singa tusanga omuntu ayagala okuwulira obubaka bw’Obwakabaka, kiki ekirala ffe ng’Abakristaayo kye tusobola okukola? Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okutegeera ensonga eno.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 8 Okumanya ebisingawo ku nsonga eno ey’okwogera mu ngeri esikiriza, laba essomo 48 ne 49 mu kitabo ­Benefit From Theocratic Ministry School Education, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Ojjukira?

• Kiki ekyaleetera ebigambo Pawulo bye yayogera nga yeewozaako mu maaso ga Kabaka Agulipa okuba ebirungi?

• Obubaka bwaffe busobola butya okutuuka ku mitima gy’abantu?

• Kiki ekinaatuyamba okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda okusobola okutuuka ku mitima gy’abantu?

• Tusobola tutya okutunuulira obuweereza bwaffe nga Katonda bw’abutunuulira?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14]

Engeri y’Okuddiŋŋanamu Abantu

• Laga nti ofaayo nnyo ku bantu.

• Londa ensonga esikiriza okuva mu Baibuli ey’okukubanyaako ebirowoozo.

• Lekawo kye munaayogerako ng’ozzeeyo.

• Weeyongere okulowooza ku muntu oyo ng’omaze okuva mu maka ge.

• Ddayo amangu ddala nga bwe kisoboka, oboolyawo nga waakayitawo olunaku lumu oba bbiri, okusobola okweyongera okumuyamba.

• Kijjukire nti ekiruubirirwa kyo kwe kutandika okumuyigiriza Baibuli.

• Saba Yakuwa asobozese omuntu oyo okukulaakulana.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Pawulo yayogera mu ngeri esikiriza ng’ali mu maaso ga Gavana Fesuto ne Kabaka Agulipa