Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 11

Weeyongere Okwambala “Omuntu Omuggya” n’Oluvannyuma lw’Okubatizibwa

Weeyongere Okwambala “Omuntu Omuggya” n’Oluvannyuma lw’Okubatizibwa

“Mwambale omuntu omuggya.”​—BAK. 3:10.

OLUYIMBA 49 Okusanyusa Omutima gwa Yakuwa

OMULAMWA *

1. Ebyo bye tulowooza bikwata bitya ku njogera yaffe ne ku nneeyisa yaffe?

 KA KIBE nti twakabatizibwa, oba nga wayise emyaka mingi bukyanga tubatizibwa, ffenna twagala okweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa. Ekyo okusobola okukikola, tulina okufuga ebirowoozo byaffe. Lwaki? Kubanga ebyo bye tulowooza birina kinene kye bikola ku nneeyisa yaffe, ne ku njogera yaffe. Bwe kiba nti buli kiseera tulowooza ku bintu omubiri bye gwegomba, kituleetera okwogera n’okukola ebintu ebibi. (Bef. 4:17-19) Ate ku luuyi olulala, bwe tuba nga tulowooza ku bintu ebirungi, kituleetera okwogera n’okweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa Kitaffe.​—Bag. 5:16.

2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, tetuyinza kwewalira ddala birowoozo bibi. Naye tusobola okusalawo obutabikolerako. Nga tetunnabatizibwa tulina okulekera awo okwogera n’okweyisa mu ngeri Yakuwa gy’atayagala. Kye kintu ekisooka era ekisingira ddala obukulu ekizingirwa mu kweyambulako omuntu ow’edda. Kyokka okusobola okusanyusa Yakuwa mu bujjuvu, tulina okugondera ekiragiro ekigamba nti: “Mwambale omuntu omuggya.” (Bak. 3:10) Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino: Kitegeeza ki okwambala “omuntu omuggya”? Tuyinza tutya okwambala omuntu omuggya era ne tusigala nga tumwambadde?

KITEGEEZA KI OKWAMBALA “OMUNTU OMUGGYA”?

3. Okusinziira ku Abaggalatiya 5:22, 23, kitegeeza ki okwambala “omuntu omuggya,” era omuntu amwambala atya?

3 Omuntu aba ayambadde “omuntu omuggya” aba akoppa Yakuwa. Omuntu ayambala omuntu omuggya, ng’ayoleka ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, kwe kugamba, ng’agoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu mu ebyo by’akola ne by’alowooza. (Soma Abaggalatiya 5:22, 23.) Ng’ekyokulabirako, aba ayagala Yakuwa n’abantu be. (Mat. 22:36-39) Omuntu ng’oyo aba musanyufu ne bw’aba ng’ayolekagana n’ebizibu. (Yak. 1:2-4) Aleetawo emirembe. (Mat. 5:9) Aba mugumiikiriza, era alaga abalala ekisa. (Bak. 3:13) Ayagala ebirungi era abikola. (Luk. 6:35) Akyoleka mu ebyo by’akola nti alina okukkiriza okw’amaanyi mu Kitaawe ow’omu ggulu. (Yak. 2:18) Abalala bwe bamusosonkereza oba bwe bamunyiiza, asigala mukkakkamu, era bw’akemebwa, yeefuga.​—1 Kol. 9:25, 27; Tit. 3:2.

4. Okusinziira ku Abaggalatiya 5:22, 23 okusobola okwambala omuntu omuggya tulina kukulaakulanya ngeri emu ku emu? Nnyonnyola.

4 Okusobola okwambala omuntu omuggya, tulina okukulaakulanya engeri zonna ezoogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 n’endala ezoogerwako mu byawandiikibwa ebirala. * Bwe kituuka ku ngoye ze twambala, twambala olugoye lumu lumu. Naye bwe kityo si bwe kirina okuba ku ngeri zino. Mu butuufu, nnyingi ku ngeri zino zifaanaganamu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba nga ddala oyagala muntu munno, oba mugumiikiriza era wa kisa gy’ali. Ate bw’oba nga ddala oli muntu mulungi, oba mukkakkamu era oba weefuga.

TUYINZA TUTYA OKWAMBALA OMUNTU OMUGGYA?

Gye tukoma okuyiga okulowooza nga Yesu, gye tukoma okwoleka engeri ze (Laba akatundu 5, 8, 10, 12, 14)

5. Kitegeeza ki okuba ‘n’endowooza ya Kristo,’ era lwaki tusaanidde okwekenneenya ebikwata ku bulamu bwa Yesu? (1 Abakkolinso 2:16)

5 Soma 1 Abakkolinso 2:16. Okusobola okwambala omuntu omuggya, tulina okuba ‘n’endowooza ya Kristo,’ kwe kugamba, tulina okumanya engeri Yesu gy’alowoozaamu era ne tumukoppa. Yesu ayoleka engeri eziri mu kibala eky’omwoyo omutukuvu mu ngeri etuukiridde. Mu butuufu, ayoleka engeri za Yakuwa mu ngeri etuukiridde. (Beb. 1:3) Gye tukoma okulowooza nga Yesu, gye tukoma okweyisa nga ye, era gye tukoma okwoleka engeri ze.​—Baf. 2:5.

6. Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tuba nga tufuba okwambala omuntu omuggya?

6 Ddala kisoboka okukoppa Yesu? Tuyinza okugamba nti: ‘Yesu atuukiridde. Siyinza kuba nga ye!’ Bwe kiba nti eyo ye ndowooza gy’olina, fumiitiriza ku bintu bino. Ekisooka, watondebwa ng’osobola okwoleka engeri za Yakuwa ne Yesu. N’olwekyo osobola okusalawo okubakoppa, era osobola okwoleka engeri ng’ezaabwe. (Lub. 1:26) Eky’okubiri, omwoyo omutukuvu gwa maanyi nnyo. Gusobola okukuyamba okukola ebintu by’otandisobodde kukola mu maanyi go. Eky’okusatu, Yakuwa takusuubira kwoleka ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu mu ngeri etuukiridde, mu kiseera kino. Mu butuufu, Kitaffe ow’omu ggulu atwagala, ataddewo emyaka 1,000 okusobozesa abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, okufuuka abatuukiridde. (Kub. 20:1-3) Mu kiseera kino Yakuwa ayagala tufube okumukoppa, era n’okumwesiga nti ajja kutuyamba.

7. Kiki kye tugenda okulaba kati?

7 Tuyinza tutya okukoppa Yesu? Ka tulabe mu bumpimpi engeri nnya ku ezo eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Nga twekenneenya buli emu ku ngeri ezo, tugenda kulaba kye tuyinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yagyolekamu. Ate era tugenda kulaba ebibuuzo ebisobola okutuyamba okwekebera okulaba wa we tutuuse mu kwambala omuntu omuggya.

8. Yesu yayoleka atya okwagala?

8 Olw’okuba Yesu ayagala nnyo Kitaawe, yeefiiriza ku lwa Kitaawe, ne ku lwaffe. (Yok. 14:31; 15:13) Engeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe ng’ali ku nsi, yalaga nti ayagala nnyo abantu. Buli lunaku yayolekanga okwagala n’obusaasizi, abamu ne bwe baagezangako okumulemesa. Engeri emu enkulu gye yalagamu nti ayagala nnyo abantu, kwe kubayigiriza ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Luk. 4:43, 44) Ate era Yesu yalaga okwagala okungi ennyo kw’alina eri Katonda n’eri abantu, bwe yakkiriza okubonaabona n’okuttibwa abantu aboonoonyi. Ekyo kyatuggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.

9. Tuyinza tutya okwoleka okwagala nga Yesu?

9 Twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa, olw’okuba twagala nnyo Kitaffe ow’omu ggulu. N’olwekyo, okufaananako Yesu tusaanidde okulaga okwagala kwe tulina eri Yakuwa okuyitira mu ngeri gye tuyisaamu bantu bannaffe. Omutume Yokaana yagamba nti: “Oyo atayagala muganda we gw’alabako tayinza kwagala Katonda gw’atalabangako.” (1 Yok. 4:20) Tusaanidde okwebuuza: ‘Njagala nnyo abantu? Bwe mba nkolagana n’abalala, mbalaga obusaasizi, ne bwe baba nga tebampisizza bulungi? Okwagala kundeetera okukozesa ebiseera byange n’ebintu byange okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa? Ekyo ndi mwetegefu okukikola ka kibe nti abantu abasinga obungi tebasiima kufuba kwange, oba nga bagezaako okunnemesa? Waliwo engeri gye nnyinza okwongera ku biseera bye mmala mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?’​—Bef. 5:15, 16.

10. Lwaki tusobola okugamba nti Yesu yali muntu aleetawo emirembe?

10 Yesu yali muntu wa mirembe. Abantu bwe baamuyisanga obubi, teyabeesasuza. Mu kifo ky’ekyo, yafubanga okuleetawo emirembe, era yakubiriza n’abalala okugonjoola obutakkaanya. Ng’ekyokulabirako, yabayigiriza nti Yakuwa okusobola okusiima okusinza kwabwe, baalina okuba mu mirembe ne bannaabwe. (Mat. 5:9, 23, 24) Ate era emirundi egiwerako, yayamba abatume be okugonjoola obutakkaanya bwe baalina ku nsonga ekwata ku ani ku bo eyali asinga obukulu.​—Luk. 9:46-48; 22:24-27.

11. Tuyinza tutya okuba abantu abaleetawo emirembe?

11 Okusobola okubeera abantu abaleetawo emirembe, tetulina kukoma ku kwewala kuleetawo bukuubagano. Tulina okufuba okuleetawo emirembe era n’okukubiriza bakkiriza bannaffe okugonjoola obutakkaanya bwe baba nabwo. (Baf. 4:2, 3; Yak. 3:17, 18) Tusaanidde okwebuuza ebibuuzo bino: ‘Ndi mwetegefu okubaako bye nneefiiriza okusobola okuleetawo emirembe? Mukkiriza munnange bw’annyiiza, mmusibira ekiruyi? Bwe mba n’obutakkaanya n’omuntu, nninda ye y’aba asooka okubaako ky’akolawo okuzzaawo emirembe wakati waffe, oba nze nsooka okubaako kye nkolawo ne bwe kiba nti y’avvuddeko obuzibu? Nkubiriza abo ababa n’obutakkaanya okuzzaawo emirembe?’

12. Yesu yalaga atya abalala ekisa?

12 Yesu yali wa kisa. (Mat. 11:28-30) Ekyo yakiraga ng’asaasira abalala era nga takalambira ku nsonga, embeera ne bw’etaabanga nnyangu. Ng’ekyokulabirako, omukazi Omufoyiniikiya bwe yamusaba okuwonya omwana we, mu kusooka Yesu yagaana okukola ekyo kye yali amusabye, naye omukazi oyo bwe yayoleka okukkiriza okw’amaanyi, Yesu yawonya omwana we. (Mat. 15:22-28) Wadde nga Yesu yali wa kisa, ekyo tekyamulemesa kuwabula balala. Oluusi yalaganga ekisa ng’awabula mikwano gye. Ng’ekyokulabirako, omutume Peetero bwe yagezaako okugamba Yesu obutakola ekyo Yakuwa kye yali ayagala, Yesu yamunenyeza mu maaso g’abayigirizwa abalala. (Mak. 8:32, 33) Ekyo teyakikola kuswaza Peetero wabula yakikola okumutendeka n’okulabula abalala ku kabi akali mu kwetulinkiriza. Peetero ayinza okuba nga yawulira ng’aswadde, naye yaganyulwa mu kuwabulwa okwo.

13. Tuyinza tutya okwoleka ekisa ekya nnamaddala?

13 Okusobola okulaga abalala ekisa ekya nnamaddala, oluusi kiyinza okutwetaagisa okubawabula. Bw’oba ng’obawabula, koppa Yesu ng’okozesa emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda. Bakwate mu ngeri ennungi. Kitwale nti bwe baba baagala Yakuwa era nga naawe bakwagala, bajja kukolera ku kuwabula kw’obawa. Weebuuze ebibuuzo bino: ‘Bwe ndaba mukwano gwange ng’akola ekintu ekikyamu, mbaako kye nkolawo okumuyamba? Bwe kiba nga kinneetaagisa okuwabula omuntu, mmuwabula mu ngeri ey’ekisa? Kigendererwa ki kye mba nakyo mu kuwabula omuntu? Mmuwabula olw’okuba aba annyiizizza, oba mba njagala kumuyamba?’

14. Yesu yalaga atya nti yali muntu mulungi?

14 Yesu takoma ku kumanya bintu birungi, naye era abikola. Olw’okuba Yesu ayagala nnyo Kitaawe, bulijjo akola ebituufu era abikola ng’alina ekigendererwa ekirungi. Omuntu omulungi bulijjo aba anoonya engeri gy’ayinza okuyambamu abalala, era abakolera ebintu ebirungi. Tekimala okumanya obumanya ekintu ekituufu eky’okukola; tulina okukola ekituufu nga tulina ekigendererwa ekirungi. Omuntu ayinza okubuuza nti, ‘Kisoboka okukola ekintu ekituufu ng’olina ekigendererwa ekikyamu?’ Yee. Ng’ekyokulabirako, Yesu yayogera ku abo abaayambanga abaavu, naye nga bafuba okukakasa nti abalala balaba bye bakola basobole okubatendereza. Wadde ebikolwa ng’ebyo byabanga birungi, Yakuwa teyabisiimanga.​—Mat. 6:1-4.

15. Tuyinza tutya okuba abantu abalungi?

15 Okusobola okuba abantu abalungi, tulina okukola ebintu ebirungi nga tulina ekigendererwa ekirungi. N’olwekyo webuuze: ‘Sikoma ku kumanya bumanya kituufu kya kukola, naye era nfuba okukikola? Mba na kigendererwa ki nga nkola ebintu ebirungi?’

TUYINZA TUTYA OKUKUUMA OMUNTU OMUGGYA?

16. Kiki kye tusaanidde okukola buli lunaku, era lwaki?

16 Tetusaanidde kulowooza nti bwe tumala okubatizibwa awo tuba tumaze okwambala omuntu omuggya, era nga tetulina kye twetaaga kukolawo. Omuntu omuggya alinga “ekyambalo ekipya,” kye twetaaga okukuuma obulungi. Engeri emu ekyo gye tuyinza okukikolamu, kwe kufuba okwoleka ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu buli lunaku. Lwaki? Kubanga Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuleetera okubaako bye tukola. (Lub. 1:2) N’olwekyo, buli emu ku ngeri eri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu esobola okutuleetera okubaako kye tukola. Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.” (Yak. 2:26) Bwe kityo bwe kiri ne ku ngeri endala zonna eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Buli lwe tuzooleka, kiba kiraga nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gukolera mu ffe.

17. Kiki kye tusaanidde okukola singa tulemererwa okwoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu?

17 Abakristaayo abamaze emyaka emingi nga babatize, nabo oluusi balemererwa okwoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Kyokka ekisinga obukulu kwe kufuba okweyongera okukulaakulanya engeri ezo. Lowooza ku kino. Singa olugoye lwo lw’osinga okwagala luyulika, olukwata amangu ago n’olusuula? Nedda. Ofuba okuluddaabiriza bwe kiba nga kisoboka. Era oluvannyuma ofuba okulaba ng’oba mwegendereza. Mu ngeri y’emu singa oluusi olemererwa okulaga omuntu ekisa, okuba omugumiikiriza gy’ali, oba okumulaga okwagala, toggwaamu maanyi. Mwetondere mu bwesimbu osobole okusigala ng’olina enkolagana ennungi naye. Era fuba okulaba nti weegendereza obutaddamu kukola nsobi eyo.

18. Oyinza kuba mukakafu ku ki?

18 Mazima ddala tusiima nnyo ekyokulabirako ekirungi Yesu kye yatuteerawo! Gye tukoma okumukoppa ne twoleka endowooza ng’eyiye, gye kikoma okutubeerera ekyangu okweyisa nga ye, n’okwambala omuntu omuggya. Mu kitundu kino, tulabye ebintu bina ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Kirungi oweeyo ebiseera weekenneenye ebirala ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, era weekebere olabe engeri gy’obyolekamu. Ebitundu ebyogera ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu osobola okubifuna mu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, wansi w’omutwe, “Obulamu bw’Ekikristaayo” wansi w’omutwe, “Ekibala ky’Omwoyo.” Osobola okuba omukakafu nti bw’ofuba, Yakuwa ajja kukuyamba okwambala omuntu omuggya, era osigale ng’omwambadde.

OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki?

^ Ka tube nga twakulira mu mbeera ki, tusobola okwambala “omuntu omuggya.” Ekyo okusobola okukikola, tulina okweyongera okutereeza endowooza yaffe, era ne tufuba okuba nga Yesu. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyokulabirako ebiraga endowooza Yesu gye yalina, era n’ebyo bye yakola. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okumukoppa n’oluvannyuma lw’okubatizibwa.

^ Engeri ezoogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 si ze zokka omwoyo omutukuvu gwe zituyamba okukulaakulanya. Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 2020.