Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 12

Olaba Ebyo Zekkaliya Bye Yalaba?

Olaba Ebyo Zekkaliya Bye Yalaba?

‘Omwoyo gwange gwe gujja okusobozesa ebintu bino okubaawo, Yakuwa ow’eggye bw’agamba.’​—ZEK. 4:6.

OLUYIMBA 73 Tuwe Obuvumu

OMULAMWA *

1. Kintu ki ekirungi ekyali kigenda okubaawo eri Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse?

 WAALIWO essanyu lingi mu Bayudaaya. Yakuwa Katonda yali atadde “ekirowoozo mu mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi,” okuta Abayisirayiri abaali bamaze emyaka mingi nga bali mu buwambe e Babulooni. Kabaka yalangirira nti Abayudaaya baddeyo mu nsi yaabwe ‘bazzeewo ennyumba ya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.’ (Ezer. 1:1, 3) Ekyo nga kyali kirungi nnyo! Abayudaaya baali bagenda kuddamu okusinziza Katonda ow’amazima mu nsi gye yabawa.

2. Abayudaaya bwe baakomawo mu buwaŋŋanguse, kiki kye baasobola okukola?

2 Mu mwaka gwa 537 E.E.T., Abayudaaya abaasooka okukomawo okuva mu buwaŋŋanguse baatuuka mu Yerusaalemi, ekyali ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Yuda obw’omu bukiikaddyo. Abayudaaya abo baatandikirawo okukola omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu era omwaka 536 E.E.T. we gwatuukira, baali bamaze okuzimba omusingi gwayo!

3. Kuziyizibwa kwa ngeri ki Abayudaaya kwe baayolekagana nakwo?

3 Kyokka Abayudaaya bwe baatandika okuzimba yeekaalu, baafuna okuziyizibwa okw’amaanyi. Abantu b’amawanga agaali gabeetoolodde “beeyongera okumalamu abantu b’omu Yuda amaanyi era n’okubaterebula babalemese okuzimba.” (Ezer. 4:4) Embeera yeeyongera okwonooneka mu mwaka gwa 522 E.E.T., obwakabaka bwa Buperusi bwe bwatandika ofugibwa kabaka omupya eyali ayitibwa Alutagizerugizi. * Abo abaali baziyiza Abayudaaya ako baakalaba ng’akakisa ak’okubalemesa okuzimba “nga beeyambisa amateeka.” (Zab. 94:20) Baaweereza Kabaka Alutagizerugizi ebbaluwa ne bamugamba nti Abayudaaya baali bateekateeka kumujeemera. (Ezer. 4:11-16) Kabaka oyo yakkiriza obulimba obwo, era n’awera omulimu gw’okuzimba yeekaalu. (Ezr. 4:17-23) Ekyo kyaleetera Abayudaaya okulekera awo okuzimba yeekaalu.​—Ezer. 4:24.

4. Omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu bwe gwawerebwa, kiki Yakuwa kye yakola? (Isaaya 55:11)

4 Abantu abaali batasinza Yakuwa, ab’omu mawanga agaali geetoolodde Abayudaaya, awamu n’abantu abamu mu bwakabaka bwa Buperusi baali bamalirivu okulemesa omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu. Naye Yakuwa yali ayagala Abayudaaya bamalirize omulimu ogwo, era bulijjo atuukiriza ebigendererwa bye. (Soma Isaaya 55:11.) Yassaawo nnabbi omuvumu eyali ayitibwa Zekkaliya, n’amuwa okwolesebwa kwa mirundi munaana kwe yalina okutegeeza Abayudaaya okusobola okubazzaamu amaanyi. Okwolesebwa okwo kwayamba Abayudaaya okukiraba nti baali tebasaanidde kutya abo abaali babayigganya. Ate era kwabayamba okuddamu amaanyi okusobola okukola omulimu Yakuwa gwe yali abawadde. Mu kwolesebwa okw’okutaano, Zekkaliya yalaba ekikondo ky’ettaala n’emiti gy’emizeyituuni ebiri.

5. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

5 Ffenna oluusi twolekagana n’ebintu ebitumalamu amaanyi. N’olwekyo, tugenda kuganyulwa mu kwetegereza engeri Yakuwa gye yazzaamu Abayisirayiri amaanyi okuyitira mu kwolesebwa okw’okutaano kwe yawa Zekkaliya. Okwolesebwa okwo kugenda kutuyamba okuweereza Yakuwa n’obwesigwa nga tuyigganyizibwa, nga waliwo enkyukakyuka ze tufunye mu bulamu, oba nga tufunye obulagirizi ne tutategeera nsonga lwaki buweereddwa.

BWE TUBA NGA TUYIGGANYIZIBWA

Mu kwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna, yalaba emiti gy’emizeyituuni ebiri nga giyuwa amafuta mu ttaala omusanvu ezaali ku kikondo ky’ettaala (Laba akatundu 6)

6. Okwolesebwa okukwata ku kikondo ky’ettaala n’emiti gy’emizeyituuni ebiri okuli mu Zekkaliya 4:1-3, kwayamba kutya Abayudaaya okufuna obuvumu? (Laba ekifaananyi ku ddiba)

6 Soma Zekkaliya 4:1-3. Okwolesebwa okukwata ku kikondo ky’ettaala n’emiti gy’emizeyituuni ebiri kwayamba Abayudaaya okuba abavumu ne beeyongera okukola omulimu gw’okuzimba wadde nga baali baziyizibwa. Ekyo kyasoboka kitya? Okyetegerezza nti ekikondo ky’ettaala kyali kifuna amafuta obutasalako? Amafuta gaavanga mu miti ebiri egy’emizeyituuni ne gayingira mu kintu ekiringa ekibya, era buli emu ku ttaala omusanvu ezaali ku kikondo ky’ettaala yafunanga amafuta okuva mu kintu ekyo ekiringa ekibya. Amafuta ago gaasobozesanga ettaala ezo okwaka awatali kuzikira. Zekkaliya yabuuza nti: “Ebintu bino bitegeeza ki?” Malayika yamuddamu ng’amubuulira obubaka buno obwava eri Yakuwa: “‘Amagye oba amaanyi si bye bijja okusobozesa ebintu bino okubaawo, wabula omwoyo gwange,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.” (Zek. 4:4, 6) Amafuta agaali gava mu miti gy’emizeyituuni gaali gakiikirira omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu ogw’amaanyi ennyo, era ogutasobola kuggwaawo. Eggye ly’Obwakabaka bwa Buperusi ery’amaanyi teryalina bwe liri bw’oligeraageranya ku maanyi g’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Olw’okuba Yakuwa yali ayamba abo abaali bazimba yeekaalu, baali bajja kumaliriza omulimu ogwo ne bwe bandyolekaganye n’okuziyizibwa. Obubaka obwo nga bwali buzzaamu nnyo amaanyi! Abayudaaya kye baali balina okukola kyokka, kwe kwesiga Yakuwa ne baddamu okukola omulimu. Era ekyo kyennyini kye baakola, wadde ng’omulimu ogwo gwali gukyawereddwa.

7. Kiki ekyaliwo ekyayamba Abayudaaya abaali bazimba yeekaalu?

7 Waliwo enkyukakyuka eyajjawo eyayamba Abayudaaya abaali bazimba yeekaalu okufuna obuweerero. Nkyukakyuka ki eyo? Mu mwaka gwa 520 E.E.T., kabaka omupya eyali ayitibwa Daliyo ye yali afuga Buperusi. Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwe, yakizuula nti kyali kikyamu okuwera omulimu gw’okuzimba yeekaalu, era Daliyo yalagira nti Abayudaaya bazimbe yeekaalu bagimalirize. (Ezer. 6:1-3) Ekyo kabaka kye yalagira kyewuunyisa buli omu. Kyokka yakola n’ekisinga ku ekyo. Yalagira abantu b’omu mawanga agaali geetoolodde Abayudaaya okulekera awo okutaataaganya abaali bakola omulimu gw’okuzimba, era n’alagira babawe ebintu ebyali byetaagisa mu kukola omulimu ogwo. (Ezer. 6:7-12) N’ekyavaamu, Abayudaaya baamaliriza omulimu gw’okuzimba nga wayise emyaka ng’ena, mu 515 E.E.T.​—Ezer. 6:15.

Bw’oba ng’oyigganyizibwa, weesige Yakuwa okukuwa amaanyi (Laba akatundu 8)

8. Lwaki osobola okuba omuvumu ng’oyigganyizibwa?

8 Ne leero, abaweereza ba Yakuwa bangi bayigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, abamu babeera mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa. Mu nsi ng’ezo, ab’oluganda bayinza okukwatibwa ne batwalibwa “mu maaso ga bagavana ne bakabaka,” era ekyo kibaviirako okuwa obujulirwa. (Mat. 10:17, 18) Oluusi gavumenti zikyuka, ekyo ne kiviirako ab’oluganda okufuna obuweerero. Oba omulamuzi ow’ekisa ayinza okusalawo mu ngeri etusobozesa okusinza kyere. Abajulirwa ba Yakuwa abalala boolekagana n’okuyigganyizibwa okw’engeri endala. Bayinza okuba nga babeera mu nsi omulimu gwaffe gye gutaawerebwa, naye nga bayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe abaagala okubalemesa okuweereza Yakuwa. (Mat. 10:32-36) Abo ababa bagezaako okuyigganya Abajulirwa ba Yakuwa bwe bakiraba nti bateganira bwereere, emirundi mingi balekera awo okubayigganya. Mu mbeera ezimu, abo abaali bayigganya Abajulirwa ba Yakuwa, oluvannyuma baafuuka abaweereza ba Yakuwa abanyiikivu. N’olwekyo bw’oba ng’oyigganyizibwa, toggwaamu maanyi. Beera muvumu! Yakuwa ali naawe era akuwa omwoyo gwe ogw’amaanyi. N’olwekyo, tosaanidde kutya kintu kyonna.

EMBEERA BWE ZIKYUKA

9. Lwaki Abayudaaya abamu baanakuwala ng’omusingi gwa yeekaalu gumaze okuzimbibwa?

9 Omusingi gwa yeekaalu bwe gwazimbibwa, abamu ku Bayudaaya abaali abakulu baakaaba. (Ezer. 3:12) Baali baalaba yeekaalu Sulemaani gye yazimba eyali ennungi ennyo, era baali bawulira nti yeekaalu empya eyali egenda okuzimbibwa, yali ejja kuba nga ‘terina bw’eri bw’ogigeraageranya’ ku ya Sulemaani. (Kag. 2:2, 3) Baanakuwala nnyo bwe baageraageranya yeekaalu eno empya ku eri eyaliwo mu kusooka. Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kwali kugenda kubayamba okuddamu okufuna essanyu. Mu ngeri ki?

10. Ebigambo bya malayika ebiri mu Zekkaliya 4:8-10 byayamba bitya Abayudaaya okulekera awo okuba abanakuwavu?

10 Soma Zekkaliya 4:8-10. Kiki malayika kye yali ategeeza bwe yagamba nti Abayudaaya “balisanyuka era baliraba bbirigi mu mukono gwa Zerubbaberi [gavana Omuyudaaya]”? Bbirigi ekozesebwa okupima ekintu okulaba obanga kiteredde bulungi oba kyesimbye bulungi. Ebigambo bya malayika byalaga nti wadde ng’abamu baali balowooza nti yeekaalu eyo teyandibadde nnungi nnyo ng’eri eyasooka, yandibadde emalirizibwa okuzimbibwa era yandibadde ku mutindo Yakuwa gw’ayagala. N’olwekyo, bwe kiba nti Yakuwa yandibadde asanyukira yeekaalu eyo, kiki ekyandiremesezza Abayudaaya okugisanyukira? Yakuwa kye yali atwala ng’ekikulu kwe kuba nti bandibadde bamusinziza mu yeekaalu eyo mu ngeri gy’asiima. Abayudaaya bwe banditadde ebirowoozo byabwe ku kusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima n’okusiimibwa mu maaso ge, bandizzeemu okufuna essanyu.

Ba n’endowooza ennungi ku nkyukakyuka eziba zizzeewo (Laba akatundu 11-12) *

11. Kusoomooza ki abamu ku baweereza ba Yakuwa kwe boolekagana nakwo leero?

11 Bangi ku ffe embeera zaffe bwe zikyuka, tuwulira nga tukaluubiriddwa nnyo. Abamu ku abo abaali bamaze ekiseera kiwanvu mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’engeri emu, baasindikibwa okuweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’engeri endala. Abalala baalina okuleka enkizo ezimu ze baali baagala ennyo olw’emyaka gyabwe. Kya bulijjo okuwulira obubi nga wazzeewo enkyukakyuka ng’ezo. Mu kusooka tuyinza obutategeera mu bujjuvu ekyo ekiba kisaliddwawo oba tuyinza okuba nga tetukkiriziganya nakyo. Tuyinza okuwulira nga tusubwa ebintu ebimu bye twali tumanyidde. Ate era tuyinza okuggwaamu amaanyi nga tuwulira nti tetukyali ba mugaso nnyo eri Yakuwa. (Nge. 24:10) Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kuyinza kutya okutuyamba okweyongera okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi?

12. Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kutuyamba kutya okusigala nga tuli basanyufu ng’embeera zaffe zikyuse?

12 Kiyinza okutubeerera ekyangu okutuukana n’enkyukakyuka eziba zizzeewo singa tutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira. Waliwo ebintu ebikulu Yakuwa by’akola leero, era tulina enkizo ey’ekitalo ey’okukolera awamu naye. (1 Kol. 3:9) Obuvunaanyizibwa bwaffe buyinza okukyuka, naye okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli tekukyuka. N’olwekyo, bwe kiba nti enkyukakyuka ezikoleddwa mu kibiina kya Yakuwa zikukutteko, tomala biseera bingi ng’olowooza ku nsonga lwaki enkyukakyuka ezo zikoleddwa. Mu kifo ky’okudda awo okulowooza ku ‘biseera ebyayita,’ saba Yakuwa akuyambe okulaba ebirungi ebiri mu nkyukakyuka eba ekoleddwa. (Mub. 7:10) Ate era ebirowoozo byo bisse ku bintu by’osobola okukola. Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kutuyamba okukiraba nti kikulu okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Bwe tuba n’endowooza ennuŋŋamu, tusigala tuli basanyufu era nga tuli beesigwa eri Yakuwa embeera zaffe ne bwe zikyuka.

BWE KIBA NGA KITUKALUUBIRIRA OKUKOLERA KU BULAGIRIZI

13. Lwaki Abayisirayiri abamu bayinza okuba nga baali bawulira nti tekyali kya magezi kuddamu kuzimba yeekaalu?

13 Omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu gwali guwereddwa. Wadde kyali kityo, abasajja abaali balondeddwa okutwala obukulembeze, kwe kugamba, Yesuwa (Yoswa) kabona asinga obukulu ne Gavana Zerubbaberi, “baddamu okuzimba ennyumba ya Katonda.” (Ezer. 5:1, 2) Ekyo kiyinza okuba nga kyalabika ng’ekitaali kya magezi eri Abayudaaya abamu. Omulimu gw’okuzimba gwali teguyinza kukolebwa mu nkukutu, era abalabe baali bamalirivu okukola kyonna ekisoboka okulaba nga tegugenda mu maaso. Yoswa ne Zerubbaberi baali beetaaga okukakasibwa nti Yakuwa yali wamu nabo, era ddala obukakafu obwo baabufuna. Batya?

14. Okusinziira ku Zekkaliya 4:12, 14, Yoswa Kabona Asinga Obukulu ne Gavana Zerubbaberi, baafuna bukakafu ki?

14 Soma Zekkaliya 4:12, 14. Mu kwolesebwa kuno, malayika yagamba nnabbi Zekkaliya nti emiti gy’emizeyituuni ebiri gyali gikiikirira “abaafukibwako amafuta ababiri,” kwe kugamba, Yoswa ne Zerubbaberi. Malayika yagamba nti abasajja abo ababiri baali ‘ng’abayimiridde okumpi ne Mukama w’ensi yonna,’ Yakuwa. Eyo nga yali nkizo ya kitalo nnyo! Yakuwa yali abeesiga. N’olwekyo, Abayisirayiri baalina okwesiga buli kimu abasajja abo kye baali babagamba, kubanga Yakuwa yali abakozesa.

15. Tukiraga tutya nti tussaayo omwoyo ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye?

15 Leero Yakuwa akyeyongera okuwa abantu be obulagirizi okuyitira mu Kigambo kye, Bayibuli. Okuyitira mu Bayibuli, atubuulira engeri gye tuyinza okumusinzaamu mu ngeri gy’asiima. Tuyinza tutya okulaga nti tukkiriza obulagirizi bwe tufuna okuva mu Kigambo kya Katonda? Nga tuwaayo ebiseera okukisoma n’obwegendereza, era nga tufuba okukitegeera. Weebuuze: ‘Bwe mba nsoma Bayibuli oba ekimu ku bitabo byaffe, nsiriikiriramu ne nfumiitiriza ku ebyo bye mba nsoma? Nfuba okunoonyereza ku bintu “ebizibu okutegeera” ebiri mu Bayibuli nsobole okubitegeera? Oba nsoma busomi mu bwangu awatali kwetegereza bye nsoma?’ (2 Peet. 3:16) Bwe tuwaayo ebiseera okufumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’atuyigiriza, tuba tusobola okukolera ku bulagirizi bwe era n’okutuukiriza obuweereza bwaffe.​—1 Tim. 4:15, 16.

Weesige obulagirizi obutuweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” (Laba akatundu 16) *

16. Bwe tuba nga tetutegeera bulungi bulagirizi obuba butuweereddwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” kiki ekiyinza okutuyamba okubukolerako?

16 Yakuwa era atuwa obulagirizi okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Oluusi omuddu omwesigwa ayinza okutuwa obulagirizi bwe tutategeera bulungi. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuweebwa obulagirizi obukwata ku kweteekerateekera akatyabaga ke tulowooza nti tekayinza kubaawo mu kitundu kyaffe. Oba bwe wabalukawo ekirwadde, tuyinza okulowooza nti omuddu omwesigwa ayitirizza okwekengera embeera. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tuwulira nti obulagirizi obuba butuweereddwa tebukola? Tuyinza okulowooza ku ngeri Abayisirayiri gye baaganyulwa bwe baakolera ku bulagirizi obwabaweebwa Yoswa ne Zerubbaberi. Tuyinza n’okulowooza ku mbeera endala ezoogerwako mu Bayibuli ze twasomako. Waliwo abantu ba Katonda lwe baaweebwanga obulagirizi obwali bulabika ng’obutakola, kyokka nga bwe bwabayamba okuwonyaawo obulamu bwabwe.​—Balam. 7:7; 8:10.

LABA EKYO ZEKKALIYA KYE YALABA

17. Okwolesebwa okukwata ku kikondo ky’ettaala n’emiti gy’emizeyituuni ebiri kwakwata kutya ku Bayudaaya?

17 Okwolesebwa okw’okutaano Zekkaliya kwe yafuna tekwalimu bintu bingi, naye kwayamba Abayudaaya okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gwe baalina okukola ne ku kusinza kwabwe. Era bwe baakolera ku ebyo Zekkaliya bye yalaba, baakiraba nti Yakuwa yali abayamba era yali abawa obulagirizi. Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okuyamba Abayudaaya okweyongera okukola omulimu ogwali gubaweereddwa, era n’okuddamu okuba abasanyufu.​—Ezer. 6:16.

18. Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kuyinza kukukwatako kutya?

18 Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kwa muganyulo nnyo gye muli. Nga bwe tulabye, kusobola okukuyamba okufuna amaanyi ge weetaaga bw’oba ng’oyigganyizibwa, okuba omusanyufu ng’embeera zo zikyuse, era n’okukolera ku bulagirizi obuba bukuweereddwa wadde nga bulabika ng’obutakola. Kiki ky’osaanidde okukola ng’oyolekagana n’ebizibu mu bulamu? Okusookera ddala, laba ekyo Zekkaliya kye yalaba, kwe kugamba, laba obukakafu obulaga nti Yakuwa afaayo ku bantu be. Ate era weesige Yakuwa era weeyongere okumusinza n’omutima gwo gwonna. (Mat. 22:37) Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuyamba osobole okumuweereza n’essanyu emirembe gyonna.​—Bak. 1:10, 11.

OLUYIMBA 7 Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe

^ Yakuwa yawa nnabbi Zekkaliya okwolesebwa okutali kumu. Ebyo Zekkaliya bye yalaba byamuzzaamu amaanyi awamu n’abantu ba Yakuwa abalala okusobola okuzzaawo okusinza okw’amazima, wadde nga tekyali kyangu. Okwolesebwa okwo naffe kusobola okutuyamba okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, wadde nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebikulu bye tusobola okuyigira ku kwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna okukwata ku kikondo ky’ettaala n’emiti gy’emizeyituuni.

^ Nga wayise emyaka, mu kiseera kya Gavana Nekkemiya, kabaka omulala era naye eyali ayitibwa Alutagizerugizi yalaga Abayudaaya ekisa.

^ EBIFAANANYI: Ow’oluganda akiraba nti kyetaagisa okutuukana n’embeera ezikyuse olw’okukaddiwa n’olw’obulwadde.

^ EBIFAANANYI: Mwannyinaffe afumiitiriza ku ky’okuba nti Yakuwa akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” nga bwe yakozesa Yoswa ne Zerubbaberi.