Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 17

Ngeri Ki Ennungi Yesu z’Alina?

Ngeri Ki Ennungi Yesu z’Alina?

Bwe twekenneenya ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola ng’ali ku nsi, kitusobozesa okutegeera engeri ennungi z’alina ezituleetera okweyongera okumwagala awamu ne Kitaawe Yakuwa. Ezimu ku ngeri Yesu z’alina ze ziruwa? Era tuyinza tutya okumukoppa?

1. Mu ngeri ki Yesu gy’ali nga Kitaawe?

Yesu yamala emyaka buwumbi na buwumbi ng’ali ne Kitaawe mu ggulu era yamuyigirako ebintu bingi. Eyo ye nsonga lwaki Yesu alowooza nga Kitaawe, yeeyisa nga Kitaawe, era alina enneewulira ng’eya Kitaawe. (Soma Yokaana 5:19.) Mu butuufu, Yesu ayoleka engeri za Kitaawe mu ngeri etuukiridde era ng’eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Buli andaba aba alabye ne Kitange.” (Yokaana 14:9) Bwe weeyongera okumanya ebikwata ku Yesu, weeyongera okumanya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, engeri Yesu gye yafaayo ku bantu eraga nti Yakuwa akufaako nnyo.

2. Yesu yakiraga atya nti ayagala nnyo Yakuwa?

Yesu yagamba nti: “Nkola nga Kitange bwe yandagira ensi esobole okumanya nti njagala Kitange.” (Yokaana 14:31) Yesu bwe yali ku nsi, yakiraga nti ayagala nnyo Kitaawe bwe yamugondera ne mu mbeera enzibu ennyo. Yesu era yayagalanga nnyo okwogera ku Kitaawe n’okuyamba abantu okufuuka mikwano gya Kitaawe.​—Yokaana 14:23.

3. Yesu yakiraga atya nti ayagala nnyo abantu?

Bayibuli egamba nti Yesu ‘ayagala nnyo abantu.’ (Engero 8:31) Yesu yakiraga nti ayagala nnyo abantu ng’abazzaamu amaanyi era ng’abayamba. Ebyamagero Yesu bye yakola byalaga nti wa maanyi, era nti musaasizi. (Makko 1:40-42) Yalaga abantu ekisa awatali kusosola. Bye yayogera byabudaabudanga abantu ab’emitima emirungi abaamuwulirizanga, era byabawa essuubi. Yesu yali mwetegefu okubonaabona n’okufa olw’okuba ayagala abantu bonna. Naye okusingira ddala ayagala nnyo abo abakolera ku ebyo bye yayigiriza.​—Soma Yokaana 15:13, 14.

YIGA EBISINGAWO

Laba ebisingawo ebikwata ku Yesu. Era laba engeri gy’oyinza okulagamu okwagala n’okuba omugabi nga ye.

4. Yesu ayagala nnyo Kitaawe

Ekyokulabirako Yesu kye yassaawo kituyamba okumanya engeri gye tuyinza okulagamu nti twagala Katonda. Soma Lukka 6:12 ne Yokaana 15:10; 17:26. Oluvannyuma lw’okusoma buli kimu ku byawandiikibwa ebyo, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Okufaananako Yesu, tuyinza tutya okulaga nti twagala Yakuwa?

Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu era yayogeranga naye mu kusaba

5. Yesu afaayo nnyo ku bantu abali mu bwetaavu

Yesu yakulembezanga ebyetaago by’abalala. Ne bwe yabanga akooye, yakozesanga ebiseera bye n’amaanyi ge okuyamba abantu. Soma Makko 6:30-44, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Mu nnyiriri ezo, Yesu yakiraga atya nti afaayo ku balala?​—Laba olunyiriri 31, 34, 41, ne 42.

  • Kiki ekyaleetera Yesu okuyamba abantu?​—Laba olunyiriri 34.

  • Okuva bwe kiri nti Yesu ayoleka engeri za Kitaawe, ekyo kikuyigiriza ki ku Yakuwa?

  • Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku balala nga Yesu bwe yakola?

6. Yesu mugabi

Wadde nga Yesu teyalina bintu bingi, yali mugabi, era naffe yatukubiriza okuba abagabi. Soma Ebikolwa 20:35, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki Yesu kye yagamba ekisobola okutuyamba okuba abasanyufu?

Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Tuyinza tutya okugaba ne bwe tuba nga tetulina bintu bingi?

Obadde okimanyi?

Bayibuli egamba nti tulina kusaba Yakuwa nga tuyitira mu linnya lya Yesu. (Soma Yokaana 16:23, 24.) Bwe tusaba nga tuyitira mu Yesu, tuba tulaga nti tusiima ekyo Yesu kye yatukolera okutusobozesa okuba mikwano gya Yakuwa.

ABAMU BAGAMBA NTI: “Katonda tatufaako nga tubonaabona.”

  • Okuva bwe kiri nti Yesu ayoleka engeri za Kitaawe, ebyo bye yakola biraga bitya nti Yakuwa atufaako?

MU BUFUNZE

Yesu ayagala nnyo Yakuwa n’abantu. Okuva bwe kiri nti Yesu alinga Kitaawe, bwe weeyongera okumanya Yesu, weeyongera okumanya Yakuwa.

Okwejjukanya

  • Tuyinza tutya okulaga nti twagala Yakuwa nga Yesu bwe yakola?

  • Tuyinza tutya okulaga abantu okwagala nga Yesu bwe yakola?

  • Ku ngeri za Yesu, eriwa esinga okukusanyusa?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki tulina okusaba mu linnya lya Yesu.

“Lwaki Tusaba mu Linnya lya Yesu?” (Omunaala gw’Omukuumi, Apuli 1, 2008)

Bayibuli etubuulira engeri Yesu gye yali afaananamu?

“Yesu Yali Afaanana Atya?” (Kiri ku mukutu)