Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwenenya

Okwenenya

Lwaki abantu bonna basaanidde okwenenya ebibi byabwe era ne basaba Yakuwa okubasonyiwa?

Bar 3:23; 5:12; 1Yo 1:8

Laba ne Bik 26:20

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 18:​9-14​—Yesu agera olugero okutuyamba okumanya obukulu bw’okwatulira Katonda ebibi byaffe n’okumusaba atusonyiwe

    • Bar 7:​15-25​—Wadde nga Pawulo mutume era ng’alina okukkiriza okw’amaanyi, awulira bubi kubanga alina okulwanyisa okwegomba okubi

Yakuwa atwala atya abo abeenenya mu bwesimbu?

Ezk 33:11; Bar 2:4; 2Pe 3:9

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 15:​1-10​—Yesu akozesa eky’okulabirako ekiraga nti Yakuwa ne bamalayika basanyuka nnyo omwonoonyi bwe yeenenya

    • Luk 19:​1-10​—Zaakayo, akulira abasolooza omusolo era omukumpanya, yeenenya n’akyusa amakubo ge era asonyiyibwa

Tulaga tutya nti twenenyezza mu bwesimbu?

Okumanya okutuufu kuyamba kutya omuntu eyeenenyezza mu bwesimbu?

Bar 12:2; Bak 3:​9, 10; 2Ti 2:25

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 17:​29-31​—Omutume Pawulo annyonnyola abantu b’omu Asene nti basinza ebifaananyi olw’obutamanya mazima era abakubiriza okwenenya

    • 1Ti 1:​12-15​—Omutume Pawulo bwe yali tannafuna kumanya kutuufu okukwata ku Yesu Kristo, yakola ebibi eby’amaanyi

Lwaki kikulu nnyo okwenenya?

Lwaki tusobola okuba abakakafu nti bwe twenenya mu bwesimbu Yakuwa atusonyiwa, ne bwe tuba nga twonoonye emirundi mingi?

Yakuwa atwala atya abo abeenenya era ne bakyusa amakubo gaabwe?

Lwaki okwenenya kisingawo ku kuwulira obulizi obubi oba okusaba obusabi ekisonyiwo?

2By 7:14; Nge 28:13; Ezk 18:​30, 31; 33:​14-16; Mat 3:8; Bik 3:19; 26:20

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2By 33:​1-6, 10-16​—Wadde nga Kabaka Manase amaze ekiseera kiwanvu ng’akola ebintu ebibi, yeenenya mu bwesimbu, yeetoowaza, asaba nnyo Yakuwa, era akyusa amakubo ge

    • Zb 32:​1-6; 51:​1-4, 17​—Kabaka Dawudi akiraga nti yeenenyezza bw’anyolwa olw’ebibi bye, bw’abyatula, era n’asaba Yakuwa amusonyiwe

Lwaki tusaanidde okusonyiwa abo ababa batukoze ekintu ekibi naye ne beenenya mu bwesimbu?