Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 10

Bayibuli Esobola Etya Okunnyamba?

Bayibuli Esobola Etya Okunnyamba?

LWAKI KIKULU?

Bayibuli egamba nti “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Ekyo bwe kiba ekituufu, Bayibuli esobola okukuwa obulagirizi bwe weetaaga.

KIKI KYE WANDIKOZE?

Lowooza ku mbeera eno: David avuga emmotoka ng’ayita mu kitundu ky’atamanyi. Bw’atunuulira obupande obuli ku luguudo, akiraba nti abuze. Ateekwa okuba nga yakutte ekkubo ekkyamu.

Singa ggwe David, kiki kye wandikoze?

LOWOOZA KU KINO!

Osobola okukola ekimu ku bintu bino ebisatu:

  1. Okubaako gw’obuuza akulagirire.

  2. Okutunula ku mmaapu.

  3. Okweyongera okuvuga ng’olowooza nti oboolyawo ojja kutuuka gy’olaga.

Singa okola ekintu C, oyinza n’okubulira ddala.

Okutunula ku mmaapu kisingako okubuuza abalala bakulagirire. Kubanga yo mmaapu oba nayo ekiseera kyonna era esobola okukuyamba okumanya ekkubo lyennyini ly’osaanidde okukwata.

Bayibuli eyinza okugeraageranyizibwa ku mmaapu!

Bayibuli esobola okukuyamba

  • okwaŋŋanga ebizibu by’oyolekagana nabyo

  • okutegeera ekyo ddala ky’oli, ne kikuyamba okumanya ky’olina okukola okusobola okufuuka omuntu omulungi

  • okumanya engeri esingayo obulungi gy’oyinza okukozesaamu obulamu bwo

EDDAMU EBIBUUZO EBIKULU ABANTU BYE BEEBUUZA

Okuva lwe tutandika okwogera, tubuuza ebibuuzo nga bino:

  • Ani yakola eggulu?

  • Lwaki emmunyeenye zimyansamyansa?

Bwe tugenda tukula tutandika okwebuuza ebibuuzo ebikwata ku bintu ebiriwo mu nsi.

Obadde okimanyi nti Bayibuli eddamu ebibuuzo ebyo?

Abantu bangi bagamba nti Bayibuli by’eyogera si bituufu, nti yava dda ku mulembe, oba nti ebigirimu bizibu okutegeera. Naye ddala obuzibu buli ku Bayibuli, oba ebyo abantu bye bagyogerako bye bitali bituufu?

Ng’ekyokulabirako, abantu bangi balowooza nti Katonda y’afuga ensi. Naye ddala bwe kiri? Ebiriwo mu nsi bibi nnyo! Waliwo obulumi n’okubonaabona, obulwadde n’okufa, obwavu n’obutyabaga. Ddala Katonda alina okwagala ayinza okuba nga y’aleeta ebintu bino ebibi?

Wandyagadde okumanya ani aviirako ebizibu ebiriwo mu nsi? Ekyo Bayibuli ky’egamba kiyinza okukwewuunyisa!

Oteekwa okuba ng’okirabye nti amagezi agaweereddwa mu katabo kano gaggiddwa mu Bayibuli. Abajulirwa ba Yakuwa bakakafu nti Bayibuli erimu amagezi ageesigika. Ekyo kiri kityo kubanga Bayibuli ‘yaluŋŋamizibwa Katonda, era egasa mu kuyigiriza, mu kunenya, ne mu kutereeza ebintu.’ (2 Timoseewo 3:16, 17) Tukukubiriza okusoma ekitabo ekyo ekirimu amagezi ag’omuganyulo ennyo!