Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’EMU

Lwaki Waliwo Okubonaabona Kungi mu Nsi?

Lwaki Waliwo Okubonaabona Kungi mu Nsi?

1, 2. Bibuuzo ki abantu bangi bye beebuuza?

SSUNAMI asaanyaawo ekyalo. Omusajja akuba amasasi mu ssinzizo n’atta abantu bangi era abalala ne bafuna ebisago. Omukazi afa obulwadde bwa kkansa n’aleka abaana be bataano nga babonaabona.

2 Ebintu ng’ebyo bwe bibaawo, abantu bangi beebuuza ensonga lwaki weebiri. Abantu bangi beebuuza ensonga lwaki ensi ejjudde obukyayi n’okubonaabona. Naawe wali weebuuzizzaako ebibuuzo ng’ebyo?

3, 4. (a) Bibuuzo ki Kaabakuuku bye yabuuza Katonda? (b) Katonda yamuddamu atya?

3 Bayibuli eyogera ku basajja abaalina okukkiriza okw’amaanyi naye nga nabo beebuuza ebibuuzo ng’ebyo. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Kaabakuuku yabuuza Yakuwa nti: “Lwaki ondeka okulaba ebikolwa ebibi? Era lwaki ogumiikiriza ebikolwa eby’okubonyaabonya abalala? Lwaki okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange? Era lwaki ennyombo n’enkaayana bingi nnyo?”—Kaabakuuku 1:3.

4 Kaabakuuku 2:2, 3, walaga nti Katonda yaddamu ebibuuzo bya Kaabakuuku era n’amusuubiza nti yali agenda kutereeza embeera. Yakuwa ayagala nnyo abantu. Bayibuli egamba nti: “Abafaako.” (1 Peetero 5:7) Mu butuufu, abantu bwe baba babonaabona, Yakuwa awulira bubi nnyo n’okusinga ffe bwe tuwulira. (Isaaya 55:8, 9) Kati ka tuddemu ekibuuzo kino: Lwaki waliwo okubonaabona kungi mu nsi?

LWAKI WALIWO OKUBONAABONA KUNGI MU NSI?

5. Abakulu b’amadiini bangi boogera ki ku kubonaabona okuliwo mu nsi, naye kiki Bayibuli ky’eyigiriza?

5 Abantu bwe bafuna ebizibu, abakulu b’amadiini batera okugamba nti Katonda bw’atyo bw’ayagadde. Abamu bagamba nti buli ekituuka ku muntu, nga mw’otwalidde n’obutyabaga, Katonda aba yakiteekateeka dda era nti tetusobola kutegeera nsonga lwaki akola bw’atyo. Abalala bagamba nti abantu, nga mw’otwalidde n’abaana abato, bafa basobole okugenda okubeera ne Katonda mu ggulu. Naye ekyo si kituufu. Ebintu ebibi ebibaawo mu nsi Katonda si y’abireeta. Bayibuli egamba nti: ‘Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, era tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!’—Yobu 34:10.

6. Lwaki abantu bangi bagamba nti Katonda y’aleeta okubonaabona okuliwo mu nsi?

6 Abantu bangi bagamba nti Katonda y’aleeta okubonaabona okuliwo mu nsi olw’okuba balowooza nti Katonda y’afuga ensi. Naye nga bwe twalaba mu Ssuula ey’okusatu, omufuzi w’ensi eno ye Sitaani Omulyolyomi.

7, 8. Lwaki waliwo okubonaabona kungi mu nsi?

7 Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) Omufuzi w’ensi eno, Sitaani, mukambwe nnyo, era “alimbalimba ensi yonna.” (Okubikkulirwa 12:9) Abantu bangi beeyisa nga ye, era eyo ye nsonga lwaki ensi ejjudde obulimba, obukyayi, n’ebikolwa eby’obukambwe.

8 Waliwo n’ensonga endala lwaki waliwo okubonaabona kungi mu nsi. Abantu bonna baasikira ekibi okuva ku Adamu ne Kaawa ne bafuuka boonoonyi. Olw’okuba abantu boonoonyi, baleetera abalala okubonaabona. Emirundi mingi baagala okwetwala nga ba waggulu ku balala, era ekyo kivaamu entalo n’okunyigiriza abalala. (Omubuulizi 4:1; 8:9) Ate era ‘n’ebintu ebitasuubirwa’ ebigwawo obugwi bireetera abantu okubonaabona. (Omubuulizi 9:11) Abantu bwe baba mu kifo ekikyamu mu kiseera ekikyamu, obubenje n’ebintu ebirala ebibi bisobola okubatuukako.

9. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa alina ensonga ennungi lwaki akyaleseewo okubonaabona?

9 Yakuwa si y’aleetera abantu okubonaabona. Si y’avunaanyizibwa ku ntalo, obumenyi bw’amateeka, n’okunyigiriza abalala. Katonda si y’aleeta obutyabaga gamba nga musisi, emiyaga egy’amaanyi, oba amataba. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Bwe kiba nti Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi, lwaki taziyiza bintu ng’ebyo okubaawo?’ Tumanyi nti Katonda atwagala nnyo, n’olwekyo ateekwa okuba ng’alina ensonga ennungi lwaki akyaleseewo okubonaabona.—1 Yokaana 4:8.

ENSONGA LWAKI KATONDA AKYALESEEWO OKUBONAABONA

10. Bya bulimba ki Sitaani bye yayogera ku Yakuwa?

10 Sitaani Omulyolyomi yalimbalimba Adamu ne Kaawa mu lusuku Edeni. Sitaani yagamba nti Katonda mufuzi mubi. Yagamba nti waliwo ekintu ekirungi Katonda kye yali tayagaliza Adamu ne Kaawa. Sitaani yali ayagala balowooze nti ye yandibadde mufuzi mulungi okusinga Yakuwa era nti baali tebeetaaga Katonda.—Olubereberye 3:2-5; laba Ekyongerezeddwako Na. 27.

11. Kibuuzo ki ekyetaaga okuddibwamu?

11 Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa. Baalowooza nti be baalina obuyinza okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. Yakuwa yandikoze ki okulaga nti abajeemu abo baali bakyamu era nti ye y’asobola okufuga obulungi abantu?

12, 13. (a) Lwaki Yakuwa teyazikiririzaawo Adamu ne Kaawa? (b) Lwaki Yakuwa yakkiriza Sitaani okuba omufuzi w’ensi eno era n’abantu okwefuga bokka?

12 Yakuwa teyazikiririzaawo Adamu ne Kaawa. Mu kifo ky’ekyo, yabaleka ne bazaala abaana. Ate era Yakuwa yaleka abaana ba Adamu ne Kaawa okulondawo ani gwe bandyagadde okuba omufuzi waabwe. Yakuwa yali ayagala ensi yonna ejjule abantu abatuukiridde, era ekyo kyalina okutuukirira; Sitaani yali tasobola kukiremesa kubaawo.—Olubereberye 1:28; Isaaya 55:10, 11.

13 Sitaani yayogera eby’obulimba ku Yakuwa nga bamalayika bukadde na bukadde balaba. (Yobu 38:7; Danyeri 7:10) Bwe kityo, Yakuwa yawa Sitaani ekiseera akakase obanga bye yayogera byali bituufu. Ate era yawa n’abantu ekiseera beeteerewo gavumenti eziri wansi w’obuyinza bwa Sitaani, kisobole okweyoleka obulungi nti abantu tebasobola kuba bulungi awatali bulagirizi bwe.

14. Yakuwa okuleka abantu okwefuga bokka okumala ekiseera kikakasizza ki?

14 Okumala emyaka mingi nnyo, abantu bagezezzaako okwefuga, naye balemereddwa okwefuga obulungi. Kino kikakasizza nti Sitaani mulimba. Abantu beetaaga obulagirizi bwa Katonda. Nnabbi Yeremiya yali mutuufu okugamba nti: “Nkimanyi bulungi, Ai Yakuwa, nti omuntu talina buyinza kweruŋŋamya. Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.”—Yeremiya 10:23.

LWAKI YAKUWA ALESEEWO OKUBONAABONA OKUMALA EKISEERA KIWANVU?

15, 16. (a) Lwaki Yakuwa aleseewo okubonaabona okumala ekiseera kiwanvu nnyo? (b) Lwaki Yakuwa tagonjodde bizibu Sitaani by’aleeseewo?

15 Lwaki Yakuwa aleseewo okubonaabona okumala ekiseera kiwanvu nnyo? Lwaki taziyiza bintu bibi kubaawo? Kibadde kyetaagisa ekiseera kiwanvu okuyitawo okusobola okulaga nti obufuzi bwa Sitaani bulemereddwa. Abantu bagezezzaako obufuzi obw’enjawulo, naye balemereddwa okwefuga obulungi. Wadde nga wabaddewo okukulaakulana mu bya sayansi ne tekinologiya, obutali bwenkanya, obwavu, obumenyi bw’amateeka, n’entalo, byo byeyongedde bweyongezi. Tetusobola kwefuga ffekka ne tuba bulungi; twetaaga obulagirizi bwa Katonda.

16 Kyokka, Yakuwa tagonjodde bizibu Sitaani by’aleeseewo. Singa ebizibu ebyo Yakuwa abaddenga ajja abigonjoola, ekyo kyandibadde kitegeeza nti awagira obufuzi bwa Sitaani, ate ng’ekyo tasobola kukikola. Ate era n’abantu bandirowoozezza nti basobola okwefuga bokka ne baba bulungi. Naye ekyo kya bulimba, era Yakuwa tasobola kukiwagira, kubanga talimba.—Abebbulaniya 6:18.

17, 18. Yakuwa anaakolera ki ebizibu byonna Sitaani by’aleeseewo?

17 Yakuwa asobola okumalawo ebizibu byonna ebizzeewo olw’obujeemu bwa Sitaani n’obw’abantu? Yee. Asobola. Tewali kiyinza kumulema. Yakuwa amanyi ekiseera ekituufu eky’okugonjooleramu ebizibu ebyo. Ajja kufuula ensi yonna ekifo ekirabika obulungi ennyo nga bwe yali ayagala ebeere mu kusooka. Abo “bonna abali mu ntaana” bajja kuzuukizibwa. (Yokaana 5:28, 29) Abantu tebaliddamu kulwala wadde okufa. Yesu ajja kumalawo ebizibu byonna Sitaani by’aleeseewo. Yakuwa ajja kukozesa Yesu “okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.” (1 Yokaana 3:8) Twebaza nnyo Yakuwa olw’okuba atugumiikirizza ne tusobola okumumanya era n’okusalawo nti ye gwe twagala abeere omufuzi waffe. (Soma 2 Peetero 3:9, 10.) Ne bwe tufuna ebizibu atuyamba okubigumira.—Yokaana 4:23; Soma 1 Abakkolinso 10:13.

18 Yakuwa tatukaka kusalawo nti y’aba abeera omufuzi waffe. Yawa abantu ekirabo eky’omuwendo ennyo, nga lino lye ddembe ery’okwesalirawo. Ka tulabe ensonga lwaki ekirabo ekyo kya muganyulo gye tuli.

ONOOKOZESA OTYA EDDEMBE ERY’OKWESALIRAWO?

19. Kirabo ki eky’omuwendo ennyo Yakuwa kye yatuwa, era lwaki twandisiimye ekirabo ekyo?

19 Ekirabo eky’omuwendo eky’eddembe ery’okwesalirawo Yakuwa kye yatuwa kitufuula ba njawulo nnyo ku bisolo. Ebisolo tebirina busobozi bwa kusooka kufumiitiriza ku ebyo bye biba bigenda okukola bisobole okusalawo obulungi, naye ffe tusobola okusalawo engeri gye twagala okutambuzaamu obulamu bwaffe era n’okusalawo okusanyusa Yakuwa oba obutamusanyusa. Ate era tetulinga byuma ebikola ekyo kyokka kye byakolebwa okukola. Tulina eddembe ery’okwesalirawo ekyo kye twagala okubeera, okwerondera emikwano, era na biki bye twagala okukola mu bulamu bwaffe. Yakuwa ayagala tube basanyufu.

20, 21. Oyinza otya okukozesa eddembe lyo ery’okwesalirawo mu ngeri esingayo obulungi?

20 Yakuwa ayagala tumwagale. (Matayo 22:37, 38) Alinga omuzadde asanyuka okuwulira omwana we ng’amugamba nti “nkwagala nnyo taata,” era nga kino kivudde ku mutima gw’omwana, so si lwa kuba nti waliwo amukase okukyogera. Yakuwa ayagala ffe tuba twesalirawo okumuweereza oba obutamuweereza. Sitaani, Adamu, ne Kaawa baasalawo obutaweereza Yakuwa. Ggwe onookozesa otya eddembe lyo ery’okwesalirawo?

21 Eddembe lyo ery’okwesalirawo likozese bulungi ng’osalawo okuweereza Yakuwa. Eriyo abantu abalala bangi nnyo abasazeewo okusanyusa Yakuwa ne beesamba Sitaani. (Engero 27:11) Kiki ky’osaanidde okukola kati osobole okubeera mu nsi ya Katonda empya omutajja kuba kubonaabona? Essuula eddako ejja kuddamu ekibuuzo ekyo.