Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 6

Nnyinza Ntya Okwewala Okutwalirizibwa Okupikirizibwa?

Nnyinza Ntya Okwewala Okutwalirizibwa Okupikirizibwa?

LWAKI KIKULU?

Bw’onywerera ku ekyo ky’omanyi nti kituufu, oba weesalirawo engeri ey’okutambuzaamu obulamu bwo mu kifo ky’okuleka abalala okukusalirawo.

KIKI KYE WANDIKOZE?

Lowooza ku mbeera eno: Brian alaba bayizi banne babiri nga bajja gy’ali era omutima gumutyemuka. Mu wiiki eno, bayizi banne abo bagezezzaako enfunda bbiri okumusendasenda okunywa ssigala. Guno gugenda kuba mulundi gwa kusatu nga bakikola.

Omulenzi asooka amugamba nti:

“Ne leero oli wekka? Ka nkwanjulire mukwano gwange ono.”

Omulenzi asooka atemya ku oyo gw’ayise “mukwano” gwe era n’abaako ekintu ky’aggya mu nsawo okukiwa Brian.

Brian akiraba nti omulenzi oyo aggyeyo pakiti ya ssigala. Omutima gweyongera okumukuba.

Brian agamba nti: “Nedda, nnakugamba nti sinywa ssigala . . .”

Omulenzi ow’okubiri amugamba nti: “Leka naawe kwezza mabega!”

Brian agamba nti: “Si kwezza mabega!”

Omulenzi ow’okubiri ateeka omukono ku kibegabega kya Brian n’amugamba mu ddoboozi ery’empolampola nti: “Ggyako omunwe.”

Omulenzi asooka asembeza pakiti ya ssigala okumpi ne Brian n’amukuba akaama nti: “Tetujja kukibuulirako muntu yenna. Tewali n’omu ajja kukimanyaako.”

Singa ggwe obadde Brian, kiki kye wandikoze?

LOWOOZA KU KINO!

Olowooza abalenzi abo abasendasenda Brian baafumiitiriza ku ekyo kye bakola? Be beesalirawo okutandika okunywa ssigala? Kirabika nedda. Bayinza okuba nga baapikirizibwa abalala okutandika okumunywa. Baayagala okusiimibwa bannaabwe, bwe kityo ne bakkiriza abalala okubasalirawo kye balina okukola.

Singa weesanga mu mbeera ng’eyo, oyinza otya okwewala okutwalirizibwa okupikirizibwa?

  1. LENGERA AKABI

    Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka, naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.”Engero 22:3.

    Emirundi mingi osobola okulaba akabi nga bukyali. Ng’ekyokulabirako, watya singa olaba bayizi banno mu maaso gy’ogenda nga bafuuwa ssigala. Bw’olowooza ku buzibu obuyinza okubaawo kisobola okukuyamba okubwetegekera.

  2. FUMIITIRIZA

    Bayibuli egamba nti: “Mubeerenga n’omuntu ow’omunda omulungi.” 1 Peetero 3:16.

    Weebuuze, ‘Singa nkola abangi kye baagala, nnaawulira ntya oluvannyuma?’ Kyo kituufu nti oyinza okusanyusa banno. Naye onoowulira otya oluvannyuma? Oli mwetegefu okuleka bayizi banno okukulemesa okunywerera ku kituufu olw’okwagala okubasanyusa?Okuva 23:2.

  3. SALAWO

    Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi yeegendereza.”Engero 14:16.

    Ffenna tubaako ebintu bye tusalawo era twolekagana n’ebyo ebivaamu. Bayibuli eyogera ku bantu nga Yusufu, Yobu, ne Yesu, abaasalawo mu ngeri ey’amagezi. Ate era eyogera ne ku bantu nga Kayini, Esawu, ne Yuda abaasalawo mu ngeri etaali ya magezi. Ggwe onoosalawo otya?

Bayibuli egamba nti: “Beeranga mwesigwa mu by’okola.” (Zabbuli 37:3) Bw’osooka n’olowooza ku ebyo ebiyinza okuva mu ebyo by’oyagala okusalawo era n’omalirira mu mutima gwo okukola ekituufu, tojja kutendewalirwa ng’okupikirizibwa.

Tekikwetaagisa kwogera bigambo bingi okusobola okumatiza banno nti tojja kukola kye bakugamba. Okubagamba obugambi nti NEDDA kiyinza okumala. Oba oyinza okubagamba nti:

  • “Temunnyingiza mu bintu byammwe!”

  • “Nze ekyo sikikola!”

  • “Ekyo siyinza kukikola!”

Ekikulu kwe kubategeerezaawo ennyimirira yo era ng’oyogera weekakasa. Ekyo bw’okikola, bajja kukuvaako!

KY’OYINZA OKUKOLA NGA BAKUJEREGA

Singa omala gakola buli kimu banno kye bakugamba, oba ng’akagologoosi ke bazannyisa

Watya singa banno bakujerega? Watya singa bakugamba nti, “Obadde ki? Simanyi oli mutiitiizi?” Osaanidde okukimanya nti awo baba bakupikiriza okukola ekikyamu. Kiki ky’oyinza okukola? Oyinza okukola ekimu ku bino ebibiri wammanga.

  • Oyinza okubaddamu nti: “Muli batuufu, ekyo kye muŋŋamba ntya okukikola!” Awo oluvannyuma babuulire ensonga lwaki toyinza kukikola.

  • Naawe osobola okubasoomooza. Babuulire ensonga lwaki togenda kukola kye bakugamba, era obagambe nti: “Mbadde sisuubira nti musobola okukola ekintu ng’ekyo!”

Singa banno beeyongera okukusendasenda, baviire! Kijjukire nti gy’okoma okulwawo ng’oli awo gye kijja okweyongera okuba ekizibu gy’oli okusigala ng’onyweredde ku kituufu. Bw’obaviira, kiba kiraga nti tokkiriza balala kukyusa ekyo ky’oli.

Ekituufu kiri nti tosobola kwewala kupikirizibwa. Naye osobola okusalawo ekyo ky’oyagala okukola, osobola okubuulira abalala ennyimirira yo, era osobola okunywerera ku ekyo ky’oli. Okusalawo kuli gy’oli!Yoswa 24:15.