Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebigambo Bina Ebyakyusa Ensi

Ebigambo Bina Ebyakyusa Ensi

Essuula ey’Omusanvu

Ebigambo Bina Ebyakyusa Ensi

1. Ebigambo ebina ebyawandiikibwa ku kisenge edda ennyo byakola biki eby’amaanyi?

EBIGAMBO bina ebimpimpi byawandiikibwa ku kisenge. Kyokka, ebigambo ebyo ebina byatiisa nnyo omufuzi ow’amaanyi. Byalanga okuggibwako kwa bakabaka babiri, okufa kw’omu ku bo, era n’enkomerero y’obufuzi kirimaanyi. Ebigambo ebyo byaviirako okufeebezebwa kw’ekibinja kya bannaddiini ekyali kissibwamu ekitiibwa. N’ekisinga obukulu, byagulumiza okusinza okulongoofu okwa Yakuwa awamu n’obufuzi bwe mu kiseera abantu abasinga obungi mwe baali batafaayo ku kusinza kwe n’obufuzi bwe. Weewuunye, ebigambo ebyo byatangaaza ne ku bintu ebiriwo mu nsi leero! Naye ebigambo bina buna byasobola bitya okukola ebyo byonna? Ka tulabe.

2. (a) Biki ebyaliwo mu Babulooni oluvannyuma lw’okufa kwa Nebukadduneeza? (b) Mufuzi ki kati eyali mu buyinza?

2 Waali wayiseewo amakumi g’emyaka oluvannyuma lw’ebyo ebyaliwo ebyogerwako mu ssuula 4 eya Danyeri. Obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza ow’amalala mu Babulooni obwatwala emyaka 43 bwakoma bwe yafa mu 582 B.C.E. Waliwo abajja bamuddirira abawerako okuva mu lunyiriri lwe, naye okufa ekibwatukira oba okutemulwa kwakomyanga obufuzi bwabwe. Mu nkomerero, omusajja ayitibwa Nabonidasi yatuula ku nnamulondo ng’ayitira mu keegugungo. Nga mutabani wa kabona omukulu omukazi owa katonda w’omwezi Sini, kirabika nga Nabonidasi teyalina luganda lwonna lwa musaayi n’ab’enju ya kabaka wa Babulooni. Abakugu abamu bagamba nti yawasa muwala wa Nebukadduneeza asobole okufuula obufuzi bwe obukkirizibwa mu mateeka. Ate era yafuula mutabani waabwe Berusazza okuba mufuzi munne, era n’amulekanga okufuga Babulooni yekka okumala ebiseera biwanvu. Awo nno, Berusazza aba muzzukulu wa Nebukadduneeza. Ng’asinziira ku byatuuka ku jjajjaawe, yali ayize nti Yakuwa ye Katonda ow’Oku Ntikko, asobola okufeebya kabaka yenna? N’akatono!—Danyeri 4:37.

EMBAGA EYONOONEKA

3. Embaga ya Berusazza yali ya ngeri ki?

3 Essuula eya 5 eya Danyeri etandika na mbaga. “Berusazza kabaka yafumbira embaga ennene abaami be lukumi, n’anywera omwenge mu maaso g’abo olukumi.” (Danyeri 5:1) Nga bw’oyinza okuteebereza, ekisenge kye baalimu kiteekwa okuba nga kyali kinene nnyo okusobola okutuuza abasajja abo bonna, awamu n’abakazi ba kabaka. Omunoonyereza omu agamba: “Embaga z’Abababulooni zaabanga nnene nnyo, wadde nga zaateranga okubeeramu ettamiiro. Wayini, eyalagirizibwanga emitala, era n’eby’okwejalabya ebya buli ngeri byajjulanga ku mmeeza. Obuwoowo bwasaanikiranga ekisenge ekikuŋŋaaniddwamu; abayimbi n’abakubi b’ebivuga baasanyusanga abagenyi.” Ng’atudde bonna we basobola okumulabira, Berusazza yanywa omwenge, era n’anywera ddala n’ayitiriza.

4. (a) Lwaki kyewuunyisa nti Abababulooni baali ku mbaga ekiro ekya Okitobba 5/6, 539 B.C.E.? (b) Kirabika kiki ekyawa Abababulooni obugumu nga boolekeddwa amagye amalumbi?

4 Kyewuunyisa nti Abababulooni baali ku mbaga mu kiro kino, nga Okitobba 5/6, 539 B.C.E. Eggwanga lyabwe lyali mu lutalo, ate ng’ebintu byali tebibagendera bulungi. Nabonidasi yali yaakawangulwa amagye amalumbi aga Bumeedi ne Buperusi era ng’addukidde mu Borisipa, mu maserengeta ga Babulooni ag’ebuvanjuba. Era kati amagye ga Kuulo gaali gasiisidde wabweru wa Babulooni. Kyokka, kirabika nga Berusazza n’abaami be tebaali beeraliikirivu n’akatono. Anti, baali bakitwala nti ekibuga kyabwe Babulooni tekiyinza kuwambibwa! Bbugwe omunene yali atumbidde waggulu emabbali w’amazzi amawanvu ag’Omugga Fulaati oguyita mu kibuga. Teri mulabe yenna eyali asobodde okuwaguza n’ayingira Babulooni mu bbanga erisukka mu myaka kikumi. Kati olwo lwaki bandyeraliikiridde? Oboolyawo Berusazza yalowooza nti engeri gye baali baleekaanamu nga bali mu kinyumu yandiraze abalabe baabwe abali ebweru nti bagumu era ne kibaterebula.

5, 6. Kiki Berusazza kye yakola ng’omwenge gumulinnye ku mutwe, era lwaki kino kyali kivvoola Yakuwa?

5 Mu kaseera katono, omwenge gwalinnya Berusazza ku mutwe. Nga Engero 20:1 bwe lugamba, “omwenge mukudaazi.” Ku luno, omwenge gwaleetera kabaka okukola ekikolwa eky’ekivve. Yalagira baleete ebintu ebitukuvu eby’omu yeekaalu ya Yakuwa ku mbaga. Ebintu bino, ebyali bitwaliddwa ng’omunyago Nebukadduneeza bwe yawamba Yerusaalemi, byali birina kukozesebwa mu kusinza kulongoofu kwokka. Ne bakabona Abayudaaya abaabikozesanga mu yeekaalu y’e Yerusaalemi mu biseera ebyayita baali balabuddwa okwekuumanga nga bayonjo.—Danyeri 5:2; geraageranya Isaaya 52:11.

6 Kyokka, Berusazza yakola ekikolwa ekirala eky’obunyoomi obw’ekitalo. “Kabaka n’abaami be, abakyala be n’abazaana be . . . ne banywa omwenge, ne batendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, ab’ebikomo, ab’ebyuma, ab’emiti, n’ab’amayinja.” (Danyeri 5:3, 4) Bwe kityo, Berusazza yagenderera okugulumiza bakatonda be ab’obulimba mu kifo kya Yakuwa! Kirabika nga Abababulooni baateranga okukola ebintu eby’engeri eno. Baayisangamu nnyo amaaso Abayudaaya be baali bawambye, nga bavumirira okusinza kwabwe era nga babalagira ddala nti tebaliddayo mu nsi yaabwe. (Zabbuli 137:1-3; Isaaya 14:16, 17) Oboolyawo kabaka ono atamidde yalowooza nti okufeebya abawambe bano era n’okuvvoola Katonda waabwe kyandisanyusizza bakazi be n’abakungu be, era ne kiraga nti wa maanyi. * Naye bwe kiba nga Berusazza yeewulira eryanyi, kyamala akaseera katono nnyo.

EKIWANDIIKO KU KISENGE

7, 8. Embaga ya Berusazza yatabukatabuka etya, era kino kyayisa kitya kabaka?

7 “Mu ssaawa eyo,” bwe bityo ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bwe bigamba, “ne walabika engalo z’omukono gw’omuntu, ne ziwandiika mu maaso g’ettabaaza ku ttaka ery’oku [“pulasita ow’oku,” NW] kisenge eky’olubiri: kabaka n’alaba ekitundu ky’omukono nga kiwandiika.” (Danyeri 5:5) Nga kino kyali kya ntiisa nnyo! Omukono gwalabika mu bbanga okumpi n’ekisenge, nga tewali alabye gye guvudde. Teeberezaamu akasiriikiriro akaaliwo ng’abaaliwo ku mbaga bakyuka okugutunuulira. Omukono gwatandika okuwandiika ku kisenge ebigambo ebitategeerekeka. * Kino kyali kiranga akabi, era nga tekiyinza kwerabirwa, ne kiba nti na guno gujwa abantu bakozesa ebigambo “ekiwandiiko ku kisenge” okulaga nti waliwo akabi akabindabinda.

8 Kabaka ono ow’amalala eyali agezaako okwegulumiza awamu ne bakatonda be mu kifo kya Yakuwa yayisibwa atya? “Awo amaaso ga kabaka ne gawaanyisibwa gy’ali, n’ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza: n’ennyingo ez’omu kiwato kye ne ziddirira, n’amaviivi ge ne gakubagana.” (Danyeri 5:6) Berusazza yali ayagala okulabika nga wa kitalo nnyo mu maaso g’abantu be. Mu kifo ky’ekyo yafuna entiisa ya maanyi, amaaso ge ne gapeeruuka, n’ajugumira mu kiwato, n’akankana nnyo yenna amaviivi ge ne gatuuka n’okukubagana. Mazima ddala, ebigambo bya Dawudi ng’ayimbira Yakuwa byali bya mazima: “Amaaso go gatunuulira ab’amalala obasse wansi.”—2 Samwiri 22:1, 28; geraageranya Engero 18:12.

9. (a) Lwaki okutya kwa Berusazza tekwali kutya Katonda? (b) Kiki kabaka kye yasuubiza abagezigezi ba Babulooni?

9 Kirina okumanyibwa nti okutya kwa Berusazza tekwali kutya Katonda, okuwa Yakuwa ekitiibwa, ng’eno ye ntandikwa y’amagezi gonna. (Engero 9:10) Nedda, yafuna bufunyi ntiisa, era ng’entiisa eyo teyamuleetera kufuna magezi. * Mu kifo ky’okwegayirira Katonda gwe yali atyobodde okumusonyiwa, yakoowoola “abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi.” Era yagamba bw’ati: “Buli anaasoma okuwandiika kuno, era anandaga amakulu gaakwo, alyambazibwa [olugoye] olw’effulungu, era aliba n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era aliba mukulu ow’okusatu mu bwakabaka.” (Danyeri 5:7) Omufuzi ow’okusatu mu bwakabaka yandibadde wa maanyi nnyo, ng’abandimusinze bokka be bakabaka ababiri abaali bafuga, Nabonidasi ne Berusazza kennyini. Mu mbeera eya bulijjo, ekifo ekyo kyandibadde kikuumirwa mutabani wa Berusazza omukulu. Ekyo kiraga nti Kabaka yali ayagala nnyo okunnyonnyolebwa obubaka buno obw’ekyewuunyo!

10. Abasajja abagezigezi baasobola okutaputa ekiwandiiko ekyali ku kisenge?

10 Abasajja abagezigezi beekuluumulira mu kisenge ekyo ekinene. Baali bangi, kubanga Babulooni kyali kibuga ekirimu eddiini ez’obulimba nkumu era ne yeekaalu nnyingi. Awatali kubuusabuusa, abasajja abeetwalanga okuba nga bamanyi okutaputa obubonero n’ebiwandiiko eby’ekyama baali bangi. Abasajja bano abagezigezi bateekwa okuba nga baabuguumirira nnyo olw’akakisa akaali kabaweereddwa. Kano ke kaali akakisa kaabwe okwolesa omulimu gwabwe mu maaso g’abantu ab’ekitiibwa bangi, okuganja mu maaso ga kabaka, era n’okufuna ettuttumu ery’amaanyi. Naye nga byabalema! “Ne batayinza kusoma kuwandiika okwo, newakubadde okutegeeza kabaka amakulu.” *Danyeri 5:8.

11. Lwaki abagezigezi ba Babulooni tebaasobola kusoma kiwandiiko?

11 Si kikakafu obanga abagezigezi ba Babulooni baalemwa bulemwa okutegeera ennukuta zennyini ezaali mu kiwandiiko. Bwe kiba bwe kityo, abasajja bano abataali beesimbu bandibadde basobola okuyiiya entaputa yonna, oboolyawo n’eyo eyandisanyusizza kabaka. Oba kiyinza okuba nti ennukuta zaali zisomeka. Kyokka, okuva ennimi gamba ng’Olulamayiki n’Olwebbulaniya bwe ziwandiikibwa nga temuli mpeerezi, buli kigambo kyandibadde kisobola okuba n’amakulu agawerako. N’olwekyo, abasajja bano abagezigezi bandibadde tebasobola kumanya bigambo ki ebyali bigendereddwa. Ne bwe bandisobodde okubimanya, baali tebasobola kutegeera makulu g’ebigambo ebyo okusobola okubinnyonnyola. Mu buli ngeri, ekintu kimu kikakafu: abagezigezi ba Babulooni baalemererwa ddala!

12. Okulemwa kw’abagezigezi kwakakasa ki?

12 Bwe kityo, kyeraga lwatu nti abagezigezi bano baali ba bikwangala, era n’eddiini yaabwe eyali essibwamu ekitiibwa yali ya busa. Nga baaswala nnyo! Berusazza bwe yalaba ng’obwesige bwe yali atadde mu bannaddiini bano bwali bwa bwereere, yeeyongera okutya, n’apeeruuka, era n’abaami be ne ‘basoberwa.’ *Danyeri 5:9, NW.

OMUSAJJA OW’AMAGEZI AYITIBWA

13. (a) Lwaki kaddulubaale yawa amagezi nti Danyeri ayitibwe? (b) Danyeri yali mu bulamu bwa ngeri ki mu kiseera ekyo?

13 Mu kaseera kano akazibu, kaddulubaale, oboolyawo nnamasole, yayingira mu kisenge awali embaga. Yali awulidde oluyoogaano olwali ku mbaga, era yali amanyi omuntu eyandisobodde okunnyonnyola amakulu g’ekiwandiiko ekyo. Amakumi g’emyaka emabegako, kitaawe, Nebukadduneeza, yali alonze Danyeri okuba omukulu w’abasajja be bonna abagezigezi. Kaddulubaale yali amujjukira ng’omusajja alina “omwoyo omulungi ennyo, n’okumanya, n’okutegeera.” Okuva bwe kirabika nti Berusazza yali tamanyi Danyeri, kyandiba nti nnabbi ono yali takyalina kifo kye ekya waggulu mu gavumenti oluvannyuma lw’okufa kwa Nebukadduneeza. Naye okubeera omututumufu tekyali kikulu eri Danyeri. Oboolyawo yali atemera mu myaka 90 mu kiseera kino, naye yali akyaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Wadde yali yaakamala emyaka nga 80 mu buwaŋŋanguse e Babulooni, yali akyayitibwa erinnya lye ery’Ekyebbulaniya. Ne kaddulubaale yamuyita Danyeri, n’atakozesa linnya lya Kibabulooni eryamuweebwa. Kaddulubaale yakubiriza kabaka: “Kale bayite Danyeri, naye anaalaga amakulu.”—Danyeri 1:7; 5:10-12.

14. Buzibu ki Danyeri bwe yalina oluvannyuma lw’okulaba ekiwandiiko ekyali ku kisenge?

14 Danyeri yayitibwa era n’ajja mu maaso ga Berusazza. Kyali kiswaza eri kabaka okusaba obuyambi okuva eri Omuyudaaya ono, aweereza Katonda gwe yali yaakamala okuvvoola. Kyokka, Berusazza yagezaako okuwaanawaana Danyeri, era n’amusuubiza ekirabo kye kimu, ekifo eky’okusatu mu bwakabaka, singa yandisomye era n’annyonnyola amakulu g’ebigambo ebyo ebitategeerekeka. (Danyeri 5:13-16) Danyeri yatunuulira ekiwandiiko ekyali ku kisenge, era omwoyo omutukuvu ne gumusobozesa okutegeera amakulu gaakyo. Bwali bubaka bwa musango okuva eri Yakuwa Katonda! Danyeri yandisobodde atya okulangirira obutereevu omusango ogw’amaanyi eri kabaka ono omusirusiru, mu maaso ga bakazi be n’abaami be? Teeberezaamu obuzibu Danyeri bwe yalina! Yatwalirizibwa ebigambo bya kabaka ebyali bimuwaanawaana awamu n’obugagga n’ettutumu bye yali asuubiziddwa? Nnabbi yandisaabuludde ekirangiriro kya Yakuwa?

15, 16. Ssomo ki ekkulu okuva mu byafaayo Berusazza lye yali alemeddwa okuyiga, era bangi leero balemereddwa batya bwe batyo?

15 Danyeri yayogera n’obuvumu, n’agamba: “Ebirabo byo beera nabyo ggwe, n’empeera yo ogiwe omulala: era naye n[n]aasomera kabaka ebiwandiikiddwa, ne mmutegeeza amakulu.” (Danyeri 5:17) Awo, Danyeri n’ayogera ku bukulu bwa Nebukadduneeza, kabaka eyali ow’amaanyi ennyo eyasobola okutta, okulumba, okugulumiza, oba okufeebyanga omuntu yenna nga bw’ayagala. Kyokka, Danyeri yajjukiza Berusazza nti Yakuwa, “Katonda Ali Waggulu Ennyo” ye yafuula Nebukadduneeza omukulu. Era Yakuwa ye yatoowaza kabaka oyo ow’amaanyi bwe yeekulumbaza. Yee, Nebukadduneeza yawalirizibwa okukitegeera nti “Katonda Ali waggulu ennyo ye afuga mu bwakabaka bw’abantu, era ng’akuza ku bwo buli gw’ayagala.”—Danyeri 5:18-21.

16 Berusazza ‘yali amanyi ebyo byonna.’ Naye, yali alemeddwa okuyigira ku byaliwo mu byafaayo. Mu butuufu, yali asussizzaawo ku kibi kya Nebukadduneeza eky’okwekulumbaza n’akola n’ekikolwa eky’obunyoomi obw’enkukunala eri Yakuwa. Danyeri yayanika ekibi kya kabaka. Ate era, mu maaso g’abakaafiiri abo bonna abaali bakuŋŋaanye, Danyeri yagamba Berusazza nti bakatonda ab’obulimba ‘baali tebalaba, tebawulira, era tebategeera.’ Nnabbi wa Katonda omuvumu yayongerako nti obutafaanana bakatonda abo abatagasa, Yakuwa ye Katonda “alina omukka gwo mu mukono gwe.” N’okutuusa kati, abantu bakola bakatonda okuva mu bintu ebitalina bulamu, basinza ssente, emirimu gyabwe, ettutumu, n’amasanyu. Ku bino tekuli kiyinza kuleeta bulamu. Yakuwa yekka ye nsibuko y’obulamu bwaffe, era y’atuwa omukka gwe tussa.—Danyeri 5:22, 23; Ebikolwa 17:24, 25.

EKYAMA KIBIKKULWA!

17, 18. Bigambo ki ebina ebyawandiikibwa ku kisenge, era birina makulu ki?

17 Nnabbi ono nnamukadde yakola ekintu ekyalema abagezigezi bonna ab’omu Babulooni. Yasoma era n’annyonnyola amakulu g’ekiwandiiko ekyali ku kisenge. Ebigambo byali: “MENE, MENE, TEKEL, UFARSIN.” (Danyeri 5:24, 25) Bitegeeza ki?

18 Amakulu g’ebigambo ebyo gali nti: “miina, miina, sekeri, n’ekitundu kya sekeri.” Buli kigambo kyali kipimo ky’obuzito bwa ssente, nga bwe zaali ziddiriŋŋana mu muwendo okuva waggulu okukka wansi. Nga byali bitabula nnyo! Abagezigezi ba Babulooni ne bwe bandisobodde okumanya ennukuta ezibirimu, tekyewuunyisa nti baalemwa okutegeera amakulu gaabyo.

19. Ekigambo “MENE” kyannyonnyolwa kitya?

19 Ng’akulemberwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu Danyeri yannyonnyola: “Amakulu g’ekigambo ge gano: MENE; Katonda abaze obwakabaka bwo, era abukomezza.” (Danyeri 5:26) Ennukuta ensirifu ez’ekigambo ekisooka zaali zisobola okuvaamu ekigambo “miina” awamu n’ekigambo ky’Olwalamayiki ekitegeeza “okubala omuwendo” oba “okubalibwa,” okusinziira ku nnukuta empeerezi omusomi z’aba ataddemu. Danyeri yali akimanyi nti obuwaŋŋanguse bw’Abayudaaya bwali bunaatera okuggwaako. Ku myaka 70 egyalagulwa, emyaka 68 gyali gimaze okuyitawo. (Yeremiya 29:10) Yakuwa, Omukuumi w’Ebiseera Omukulu, yali abaze ennaku za Babulooni ng’obufuzi kirimaanyi, era enkomerero yaabwo yali kumpi nnyo okusinga abo bonna abaali ku mbaga ya Berusazza bwe baali balowooza. Mu butuufu, ekiseera kyali kiweddeyo, si eri Berusazza yekka naye n’eri kitaawe, Nabonidasi. Eyo eyinza okuba ye nsonga lwaki ekigambo “MENE” kyawandiikibwa emirundi ebiri, okulangirira enkomerero y’obwakabaka buno bwombi.

20. Ekigambo “TEKEL” kyannyonnyolwa kitya, era kyakwata kitya ku Berusazza?

20 Ku luuyi olulala “TEKEL,” kyawandiikibwa mulundi gumu gwokka, ate nga kiri mu bumu. Kino kiyinza okulaga nti kyali kikwata ku Berusazza yekka. Era kino kyandibadde kituukirawo, kubanga ye kennyini yali tawadde Yakuwa kitiibwa. Ekigambo kino ku bwakyo kitegeeza “sekeri,” naye ennukuta zaakyo ensirifu era zisobola okuvaamu ekigambo “okupimwa.” Bwe kityo, Danyeri yagamba Berusazza nti: “TEKEL; ogereddwa [“opimiddwa,” NW] mu kigera, era olabise nga obulako.” (Danyeri 5:27) Eri Yakuwa, amawanga gonna galinga effuffuge eriri mu minzaani. (Isaaya 40:15) Tegasobola kulemesa bigendererwa bye. Kati olwo, kabaka omu bw’ati ow’amawaggali yenkana ki? Berusazza yali agezezzaako okwegulumiriza ku Mufuzi w’obutonde bwonna. Omuntu obuntu ono yeesowolayo okujolonga Yakuwa n’okusinza kwe okulongoofu naye yali ‘alabise ng’abulako.’ Yee, Berusazza yali agwanira ddala omusango ogwo ogwali gusembera amangu!

21. “UFARSIN” kyazingiramu kitya ebigambo bisatu, era ekigambo kino kyalaga ki ku biseera bya Babulooni eby’omu maaso ng’obufuzi kirimaanyi?

21 Ekigambo ekisembayo ku kisenge kyali “UFARSIN.” Naye Danyeri yakisoma mu bumu nga, “PERES,” oboolyawo olw’okuba yali ayogera eri kabaka omu ng’omulala taliiwo. Ekigambo kino kye kyakomererayo mu kyama ekikulu ekyava eri Yakuwa ekyalimu ebigambo bisatu. Obutereevu, “ufarsin” kitegeeza “kitundu kya sekeri.” Naye olw’ennukuta ezikirimu era kisobola okuggibwamu amakulu amalala abiri, “okwawulamu” ne “Abaperusi.” Bwe kityo, Danyeri yalagula: “PERES; obwakabaka bwo bugabiddwa [“bwawuddwamu,” NW], buweereddwa eri Abameedi n’Abaperusi.”—Danyeri 5:28.

22. Berusazza yakola atya ng’ategeezeddwa amakulu g’ekyama, era yandiba nga yasuubira ki?

22 Bwe kityo ekyama kyali kibikkuddwa. Babulooni eky’amaanyi kyali kinaatera okuwangulwa amagye ga Bumeedi ne Buperusi. Wadde yali awulira ennaku ey’amaanyi olw’ekirangiriro ekyo eky’omusango, Berusazza yatuukiriza kye yasuubiza. Yalagira abaweereza be okwambaza Danyeri olugoye olw’effulungu, okumwambika omukuufu ogwa zaabu, era n’okumulangirira ng’omufuzi ow’okusatu mu bwakabaka. (Danyeri 5:29) Danyeri teyagaana bitiibwa bino, ng’akitegeera nti byali byoleka ekitiibwa ekigwanidde eri Yakuwa. Berusazza bwe yagulumiza nnabbi wa Yakuwa yandiba nga yali asuubira okuddirwamu ku musango Yakuwa gwe yali amusalidde. Bwe kiba kityo, ekyo kyali tekikyayinza kumuyamba.

OKUGWA KWA BABULOONI

23. Bunnabbi ki obw’edda obwali butuukirizibwa ng’embaga ya Berusazza egenda mu maaso?

23 Awo nga Berusazza n’abantu be bakyanywa omwenge nga batendereza bakatonda baabwe era nga bavvoola Yakuwa, waaliwo ebintu ebikulu ebyali bigenda mu maaso wabweru w’olubiri. Obunnabbi obwayogerwa okuyitira mu Isaaya ebyasa nga bibiri emabega bwali butuukirizibwa. Ng’ayogera ku Babulooni, Yakuwa yalagula: “Okussa ebikkowe kwayo kwonna nkukomezza.” Yee, okunyigiriza kwonna ekibuga ekyo ekibi kwe kyali kireeta ku bantu ba Katonda abalonde kwali kwa kukoma. Mu ngeri ki? Obunnabbi bwe bumu bwagamba: “Yambuka ggwe Eramu: zingiza, ggwe Obumeedi.” Eramu kyafuuka kitundu kya Buperusi oluvannyuma lw’ekiseera kya nnabbi Isaaya. Mu kiseera ky’embaga ya Berusazza, eyalagulwako Isaaya mu bunnabbi bwe bumu, Buperusi ne Bumeedi byali byegasse wamu ‘okwambuka’ ‘n’okuzingiza’ Babulooni.—Isaaya 21:1, 2, 5, 6.

24. Biki ebikwata ku kugwa kwa Babulooni ebyalagulwa mu bunnabbi bwa Isaaya?

24 Mu butuufu, erinnya ly’omukulembeze w’amagye gano lyali liraguddwa, awamu n’ebikwata ku ngeri gy’alitabaalamu. Ng’ebulayo emyaka nga 200, Isaaya yalagula nti Yakuwa yali ajja kufuka amafuta ku musajja ayitibwa Kuulo alumbe Babulooni. Mu lulumba lwe, enkonge zonna zandivuddewo. Amazzi ga Babulooni ‘gandikalidde,’ era n’enzigi zaakyo ennene zandirekeddwa nga nzigule. (Isaaya 44:27–45:3) Era bwe kyali. Amagye ga Kuulo gaawunjula Omugga Fulaati, amazzi gaagwo ne gakalira ne basobola okutambulira ku ntobo y’omugga. Abakuumi abalagajjavu baaleka enzigi za bbugwe wa Babulooni nga nzigule. Nga bannabyafaayo bwe bakkiriza, ekibuga ekyo kyalumbibwa ng’abakibeeramu bali mu kinyumu. Babulooni kyawambibwa awatali nsiitaano yonna. (Yeremiya 51:30) Naye, waaliwo omuntu omututumufu eyattibwa. Danyeri yagamba: “Mu kiro ekyo Berusazza kabaka Omukaludaaya n’attibwa. Daliyo Omumeedi n’aweebwa obwakabaka, bwe yali nga yaakamaze emyaka nga nkaaga mu ebiri.”—Danyeri 5:30, 31.

OKUYIGIRA KU KIWANDIIKO EKYALI KU KISENGE

25. (a) Lwaki Babulooni eky’edda kikiikirira bulungi enteekateeka y’eddiini ez’obulimba eriwo leero mu nsi? (b) Mu ngeri ki abaweereza ba Katonda ab’ebiseera bino gye baaliko abasibe mu Babulooni?

25 Ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebiri mu Danyeri essuula 5 bya makulu nnyo gye tuli leero. Ng’ensibuko y’ebikolwa by’eddiini ez’obulimba, Babulooni eky’edda kikiikirira bulungi obwakabaka bw’eddiini ez’obulimba mu nsi yonna. Entegeka eno ey’obulimba emaamidde ensi yonna eyitibwa “Babulooni Ekinene,” ekiikirirwa omukazi omwenzi mu kitabo ky’Okubikkulirwa. (Okubikkulirwa 17:5) Nga tekifaayo ku kulabula kwonna okukiweereddwa ku njigiriza zaakyo n’ebikolwa byakyo eby’obulimba era ebitaweesa Katonda kitiibwa, kiyigganyizza ababuulira amazima g’Ekigambo kya Katonda. Okufaananako abantu b’omu Yerusaalemi ne Yuda eby’edda, ab’ensigalira y’Abakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta baali ng’abawaŋŋangusiziddwa mu “Babulooni Ekinene,” okuyigganyizibwa okwava eri abakadde b’amakanisa bwe kwayimirizaamu omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu 1918.

26. (a) “Babulooni Ekinene” kyagwa kitya mu 1919? (b) Kulabula ki ffe ffenyini kwe tusaanidde okugoberera era n’okubuulirako abalala?

26 Naye, amangu ddala “Babulooni Ekinene” kyagwa! Kyo kituufu, ekigwo ekyo kyali kya kimugunyu, era nga ne Babulooni eky’edda bwe kyagwa mu ngeri ey’ekimugunyu, mu mwaka 539 B.C.E. Naye era ekigwo ekyo eky’akabonero kyali kya kabi. Kyaliwo mu 1919 C.E., abantu ba Yakuwa bwe baasumululwa okuva mu busibe bwa Babulooni era ne basiimibwa Katonda. Kino kyakomya obuyinza bwa “Babulooni Ekinene” ku bantu ba Katonda era ne kiramba entandikwa y’okwanikibwa kwakyo ng’entegeka ey’obulimba. Ekigwo ekyo kibadde kya nkalakkalira, era okuzikirizibwa kwakyo okw’enkomeredde kubindabinda. Bwe kityo abaweereza ba Yakuwa babadde bawa okulabula kuno: “Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi [byakyo].” (Okubikkulirwa 18:4) Ogoberedde okulabula okwo? Okubuuliddeko abalala? *

27, 28. (a) Mazima ki amakulu ennyo Danyeri g’ateerabira? (b) Bujulizi ki bwe tulina obulaga nti Yakuwa anaatera okuzikiriza ensi embi eriwo leero?

27 N’olwekyo, waliwo ekiwandiiko ku kisenge leero, naye si eri “Babulooni Ekinene” kyokka. Jjukira amazima amakulu agali mu kitabo kya Danyeri: Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna. Ye yekka, y’alina obwannannyini okussaawo omufuzi ow’okufuga abantu bonna. (Danyeri 4:17, 25; 5:21) Ekintu kyonna ekigezaako okuziyiza ebigendererwa bya Yakuwa kijja kuggibwawo. Ekiseera kijja kutuuka Yakuwa abeeko ky’akola. (Kaabakuuku 2:3) Eri Danyeri, ekiseera ekyo kyatuuka ng’awezezza emyaka 100. Mu kiseera ekyo yalaba nga Yakuwa aggyawo obufuzi kirimaanyi, obufuzi obwali bunyigirizza abantu ba Katonda okuva mu buto bwa Danyeri.

28 Waliwo obukakafu obw’amaanyi obulaga nti Yakuwa Katonda atuuzizza ku ntebe ey’omu ggulu Omufuzi ow’okufuga olulyo lw’omuntu. Okuba nti ensi esudde muguluka Kabaka ono era ng’eziyiza obufuzi bwe bujulizi bwa maanyi obulaga nti Yakuwa anaatera okuzikiriza bonna abaziyiza obufuzi bw’Obwakabaka obwo. (Zabbuli 2:1-11; 2 Peetero 3:3-7) Ebikolwa byo biraga nti otegeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu era ng’otadde obwesige bwo mu Bwakabaka bwa Katonda? Bwe kiba bwe kityo, ddala olina ky’oyize okuva ku kiwandiiko ekyali ku kisenge!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 6 Mu kiwandiiko eky’edda, Kabaka Kuulo yayogera bw’ati ku Berusazza: “Omusajja omunafu alondeddwa okuba [omufuzi] w’eggwanga lye.”

^ lup. 7 Na kino ekyogerwako mu kitabo kya Danyeri kikakasiddwa okuba ekituufu. Abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bakizudde nti ebisenge by’omu lubiri lwa Babulooni eky’edda byali bya matofaali agakubiddwako pulasita.

^ lup. 9 Obulombolombo Abababulooni bwe baalina oboolyawo bwayongera eky’amagero kino okuba eky’entiisa. Ekitabo Babylonian Life and History kigamba: “Okugatta ku nnamungi wa bakatonda Abababulooni be baasinzanga, baali bakkiririza nnyo mu myoyo, ne kiba nti essaala zaabwe eri emyoyo zoogerwako nnyo mu bitabo byabwe eby’eddiini.”

^ lup. 10 Ekitabo Biblical Archaeology Review kigamba: “Abababulooni abakugu baali bawandiise mu bitabo obubonero obwoleka akabi nkumi na nkumi. . . . Berusazza bwe yabasaba okumutegeeza amakulu g’ekiwandiiko ekyali ku kisenge, awatali kubuusabuusa, abasajja abo abagezigezi ab’omu Babulooni, baakebera mu bitabo byabwe bino ebirimu obubonero obw’akabi. Naye tebyabayamba.”

^ lup. 12 Abakugu mu kunnyonnyola ebigambo bagamba nti ekigambo ekikozesebwa wano ‘okusoberwa’ kitegeeza oluyoogaano olunene, ng’olukuŋŋaana lulinga oluguddemu akakyankalano.

^ lup. 26 Laba empapula 205-71 ez’ekitabo Revelation—Its Grand Climax At Hand!, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

BIKI BY’OTEGEDDE?

• Embaga ya Berusazza yatabukatabuka etya mu kiro ekya Okitobba 5/6, 539 B.C.E.?

• Ekiwandiiko ekyali ku kisenge kyannyonnyolwa kitya?

• Bunnabbi ki obukwata ku kugwa kwa Babulooni obwatuukirizibwa ng’embaga ya Berusazza egenda mu maaso?

• Ebikwata ku kiwandiiko ekyali ku kisenge birina makulu ki gye tuli leero?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 98]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 103]