Isaaya 21:1-17
21 Obubaka obukwata ku ddungu ery’ennyanja:*+
Akabi kajja ng’embuyaga ekunta mu bukiikaddyo,Kava mu ddungu, kava mu nsi ey’entiisa.+
2 Ntegeezeddwa okwolesebwa okw’entiisa:
Omukuusa akola eby’obukuusa,N’omuzikiriza azikiriza.
Yambuka ggwe Eramu! Zingiza ggwe Bumeedi!+
Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleetawo.+
3 Olw’okwolesebwa kuno, nnina obulumi bungi.*+
NjugumiraNg’omukazi azaala.
Nnina ennaku nnyingi sisobola na kuwulira;Nsobeddwa nnyo sisobola na kulaba.
4 Omutima gwange guweddemu amaanyi; ntintima olw’entiisa.
Akawungeezi ke mbaddenga nneesunga kandeetera kukankana.
5 Mutegeke emmeeza n’aw’okutuula!
Mulye era munywe!+
Mmwe abaami, musituke mufuke amafuta ku ngabo!
6 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’aŋŋambye:
“Genda osseewo omukuumi era omugambe ayogere by’alaba.”
7 Awo n’alaba amagaali g’olutalo nga gasikibwa embalaasi,Amagaali g’olutalo nga gasikibwa endogoyi,Amagaali g’olutalo nga gasikibwa eŋŋamira.
Ne yeetegereza era ne yeekaliriza.
8 Awo n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’empologoma ewuluguma, n’agamba nti:
“Ai Yakuwa, emisana nnyimirira ku munaala gw’omukuumi okuzibya obudde,Era buli kiro mbeera mu kifo we nkuumira.+
9 Tunula olabe ekijja:
Waliwo abasajja abali ku magaali ag’olutalo agasikibwa embalaasi!”+
Awo n’agamba nti:
“Kigudde! Babulooni kigudde!+
Ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo abisudde wansi n’abimenyaamenya!”+
10 Mmwe abantu bange abawuuliddwa ng’emmere ey’empeke,Abavudde mu* gguuliro lyange,+Mbabuulidde ebyo bye mpulidde okuva eri Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri.
11 Obubaka obukwata ku Duma:*
Waliwo ankoowoola ng’ayima e Seyiri ng’agamba nti:+
“Omukuumi, ekiro okyogerako ki?
Omukuumi, ekiro okyogerako ki?”
12 Omukuumi n’agamba nti:
“Bugenda kukya, era buzibe.
Bwe muba mwagala okubuuza mubuuze.
Mukomewo nate!”
13 Obubaka obukwata ku lusenyi:
Mujja kusula mu kibira, mu lusenyi,Mmwe abatambuze b’e Dedani abatambulira ku ŋŋamira.+
14 Muleete amazzi muwe abo abalumwa ennyonta,Mmwe ababeera mu nsi ya Tema,+Muleete n’emigaati muwe abo abadduka.
15 Kubanga badduse ekitala, badduse ekitala ekisowoddwa,Badduse omutego oguweteddwa, era badduse ekibambulira ky’olutalo.
16 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’aŋŋambye: “Mu mwaka gumu, ng’emyaka omukozi akolera empeera gy’amala ng’akola bwe giba,* ekitiibwa kya Kedali+ kyonna kiriggwaawo.
17 Abalwanyi ba Kedali abakwata omutego abalisigalawo baliba batono nnyo, kubanga bw’atyo Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agambye.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Kirabika kino kyali kitundu ekyali mu bukiikaddyo bwa Babulooni eky’edda ekyayanjalangamu amazzi g’Omugga Fulaati n’ag’Omugga Tiguliisi buli mwaka.
^ Obut., “bbunwe wange ajjudde obulumi.”
^ Obut., “Omwana ow’omu.”
^ Litegeeza, “Okusirika.”
^ Oba, “emyaka egibaliddwa n’obwegendereza, ng’omukozi akolera empeera bw’akola”; kwe kugamba, mu mwaka gumu gwennyini.

