Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baibuli—Kitabo Ekyava eri Katonda

Baibuli—Kitabo Ekyava eri Katonda

ESSUULA EY’OKUBIRI

Baibuli​—Kitabo Ekyava eri Katonda

Mu ngeri ki Baibuli gy’eri ey’enjawulo ku bitabo ebirala?

Baibuli eyinza etya okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu?

Lwaki wandyesize obunnabbi bwa Baibuli?

1, 2. Mu ngeri ki Baibuli gy’eri ekirabo eky’omuwendo okuva eri Katonda?

OJJUKIRA lwe wafuna ekirabo eky’omuwendo okuva eri mukwano gwo nfiirabulago? Ekyo kiteekwa okuba nga kyakuleetera essanyu lingi era ne weeyongera okumwagala. Mu butuufu, ekirabo ekyo kiba kiraga nti oyo akikuwadde omukwano gwammwe agutwala nga gwa muwendo. Awatali kubuusabuusa wasiima nnyo ekirabo ekyo mukwano gwo kye yakuwa.

2 Baibuli kirabo ekiva eri Katonda era tusaanidde okukisiima ennyo. Ekitabo kino eky’enjawulo kitutegeeza ebintu bye tutandisobodde kusanga walala wonna. Ng’ekyokulabirako, kyogera ku kutondebwa kw’obwengula, ensi, era n’okw’omusajja n’omukazi abaasooka. Baibuli erimu emisingi egyesigika egituyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu. Ennyonnyola engeri Katonda gy’anaatuukirizaamu ebigendererwa bye era n’engeri gy’anaaleetawo embeera ennungi ku nsi. Nga Baibuli kirabo kya muwendo nnyo!

3. Yakuwa okutuwa Baibuli kiraga ki, era lwaki kirabo kirungi nnyo?

3 Baibuli kirabo kirungi nnyo, kubanga eyogera ku oyo eyakituwa, Yakuwa Katonda. Eky’okuba nti atuwadde ekitabo nga kino, bukakafu obulaga nti ayagala tumumanye bulungi. Mu butuufu, Baibuli esobola okukuyamba okusemberera Yakuwa.

4. Kiki ekikwewuunyisa ku ngeri Baibuli gy’esaasaanyiziddwamu?

4 Bw’oba ng’olina Baibuli, si ggwe wekka agirina. Baibuli ekubiddwa mu nnimi ezisukka mu 2,300, era abantu abasukka mu 90 ku buli kikumi basobola okugifuna. Baibuli ezisukka mu kakadde zigabibwa buli wiiki! Baibuli buwumbi na buwumbi zikubiddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu. Mu butuufu, teri kitabo kirala kyonna ekiringa Baibuli.

5. Lwaki kigambibwa nti Baibuli ‘yaluŋŋamizibwa Katonda’?

5 Okugatta ku ekyo, Baibuli ‘yaluŋŋamizibwa Katonda.’ (2 Timoseewo 3:16) Mu ngeri ki? Baibuli yennyini eddamu: “Abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga bakwatiddwa omwoyo omutukuvu.” (2 Peetero 1:21) Ng’ekyokulabirako: Munnabizinesi ayinza okukozesa omuwandiisi okuwandiika ebbaluwa. Ebirowoozo ebiri mu bbaluwa eyo biba bya munnabizinesi. N’olwekyo, ebbaluwa eba yiye so si ya muwandiisi. Mu ngeri y’emu, obubaka obuli mu Baibuli buva eri Katonda, so si eri abantu abaagiwandiika. N’olwekyo, Baibuli “kigambo kya Katonda.”​—1 Abassessalonika 2:13.

EKWATAGANA ERA NTUUFU

6, 7. Lwaki kyewuunyisa nti ebyo ebiri mu Baibuli bikwatagana?

6 Baibuli yawandiikibwa mu bbanga erisukka mu myaka 1,600. Abo abaagiwandiika baaliwo mu biseera bya njawulo era nga baava mu mbeera za njawulo. Abamu baali balimi, abalala bavubi, ate abalala basumba. Abalala baali bannabbi, balamuzi, ate abalala bakabaka. Eyawandiika Enjiri ya Lukka yali musawo. Wadde nga abaagiwandiika baava mu mbeera za njawulo, ebiri mu Baibuli bikwatagana. *

7 Ekitabo ekisooka mu Baibuli kitutegeeza engeri ebizibu abantu bye balina gye byatandikamu. Ekitabo ekisembayo, kyo kiraga nti ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Baibuli ettottola ebintu ebyaliwo emyaka nkumi na nkumi egiyise era bikwata ku kutuukirizibwa kwe kigendererwa kya Katonda. Engeri Baibuli gy’ekwataganamu yeewuunyisa, naye ekyo kye twandisuubidde mu kitabo ekiva eri Katonda.

8. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Baibuli ntuufu ne bw’eba nga eyogera ku bya sayansi.

8 Baibuli ntuufu ne bw’eba eyogera ku bya sayansi. Yayogera ne ku bintu abantu bye baategeera oluvannyuma. Ng’ekyokulabirako, ekitabo ky’Eby’Abaleevi kirimu amateeka agaaweebwa Isiraeri ey’edda agakwata ku kwawula abalwadde okuva ku bantu abalala era ne ku buyonjo ng’ate amawanga agabeetoolodde gaali tegamanyi kintu kyonna ku nsonga ng’ezo. Ekiseera abantu we baabeerera n’endowooza enkyamu ku ngeri ensi gye yakulamu, Baibuli yo yali yayogera dda nti nneekulungirivu. (Isaaya 40:22) Ate era, Baibuli yali yakyogerako dda nti ensi ‘ewanikiddwa mu bbanga.’ (Yobu 26:7) Kyo kituufu nti Baibuli si kitabo kya sayansi. Naye, bwe kituuka ku nsonga ezikwata ku sayansi, ky’eyogera kiba kituufu. Kino si kye twandisuubidde mu kitabo ekiva eri Katonda?

9. (a) Biki ebiraga nti Baibuli erimu ebyafaayo ebituufu era ebyesigika? (b) Obwesimbu bw’abawandiisi ba Baibuli butukakasa ki?

9 Baibuli erimu ebyafaayo ebituufu era ebyesigika. Eyogera ku bintu ebikakafu. Teyogera bwogezi ku mannya g’abantu naye era eraga n’ennyiriri z’obuzaale bwabwe. * Okwawukana ku bannabyafaayo abatatera kuwandiika ku kuwangulwa kw’amawanga gaabwe, abaawandiika Baibuli baali beesimbu, ne batuuka n’okuwandiika ku nsobi zaabwe era n’ez’eggwanga lyabwe. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo kya Baibuli eky’Okubala, omuwandiisi waakyo Musa yayogera ku nsobi gye yakola eyamuweesa ekibonerezo eky’amaanyi. (Okubala 20:2-12) Obwesimbu nga buno tebusangikasangika mu bitabo birala, naye busangibwa mu Baibuli kubanga kitabo ekiva eri Katonda.

EKITABO EKIRIMU AMAGEZI AG’OMUGANYULO

10. Lwaki tekyewuunyisa nti Baibuli kitabo kya muganyulo?

10 Olw’okuba Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, ‘egasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, n’olw’okutereezanga.’ (2 Timoseewo 3:16) Yee, Baibuli kitabo kya muganyulo. Eyoleka bulungi embeera zaffe. Ekyo tekyewuunyisa, olw’okuba ensibuko yakyo, Yakuwa Katonda, ye Mutonzi waffe! Ategeera bulungi endowooza yaffe n’enneewulira yaffe okutusinga. Ate era, Yakuwa amanyi ekyo ekiyinza okutuleetera essanyu. Era amanyi ekkubo lye tusaanidde okwewala.

11, 12. (a) Bintu ki Yesu bye yayogerako mu Kubuulirira kwe okw’Oku Lusozi? (b) Bintu ki ebirala eby’omuganyulo ebiri mu Baibuli, era lwaki okubuulirira okugirimu kuganyula ekiseera kyonna?

11 Lowooza ku bigambo Yesu bye yayogera bwe yali ayigiriza ku Lusozi, ebisangibwa mu Matayo essuula 5 okutuuka ku 7. Mu kuyigiriza okwo okulungi ennyo, Yesu yayogera ku bintu bingi nga mw’otwalidde engeri y’okufuna essanyu erya nnamaddala, engeri y’okumalawo enkaayana, engeri y’okusabamu, era n’engeri y’okufunamu endowooza ennuŋŋamu ku bintu. Ebigambo bya Yesu bikyali bya makulu era bya muganyulo nga bwe byali nga yaakabyogera.

12 Emisingi gya Baibuli egimu gikwata ku bulamu bw’amaka, engeri y’okukolamu emirimu, era n’enkolagana yaffe n’abalala. Ate era gikwata ku bantu bonna, era okubuulirira kwayo kuganyula ekiseera kyonna. Okubuulirira okuli mu Baibuli kuwumbibwawumbibwako mu bigambo Katonda bye yayogera okuyitira mu nnabbi Isaaya: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza oku[ku]gasa.”​—Isaaya 48:17.

KITABO KYA BUNNABBI

13. Bintu ki ebikwata ku Babulooni Yakuwa bye yaluŋŋamya nnabbi Isaaya okuwandiika?

13 Baibuli erimu obunnabbi obuwerako era nga bungi ku bwo bumaze okutuukirira. Lowooza ku kyokulabirako kino. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, eyaliwo mu kyasa eky’omunaana B.C.E., Yakuwa yalagula nti ekibuga kya Babulooni kyandizikiriziddwa. (Isaaya 13:19; 14:22, 23) Yalaga engeri ekyo gye kyandituukiriziddwamu. Amagye agandikizinze gandiwugudde amazzi g’omugga gwa Babulooni ne gayingira mu kibuga nga tegafunye kuziyizibwa kwonna. Ate era obunnabbi bwa Isaaya bwayogera n’erinnya lya kabaka eyandikiwambye, nga ye Kuulo.​—Isaaya 44:27–45:2.

14, 15. Isaaya bye yalagula ku Babulooni byatuukirizibwa bitya?

14 Nga wayiseewo emyaka 200​—mu kiro kya Okitobba 5/6, 539 B.C.E.​—eggye lyasiisira okumpi ne Babulooni. Ani yali omudduumizi waalyo? Kabaka Omuperusi ayitibwa Kuulo. Ekiseera kyali kituuse obunnabbi obw’ekitalo okutandika okutuukirizibwa. Naye eggye lya Kuulo lyandizinze Babulooni awatali kuziyizibwa kwonna, nga bwe kyalagulwa?

15 Abababulooni baalina embaga ekiro ekyo era baali tebasuubira nti bayinza okutuukibwako akabi konna olwa bbuggwe omugulumivu eyali yeetoolodde ekibuga kyabwe. Mu kiseera ekyo, Kuulo yawugula amazzi g’omugga ogwali guyita mu kibuga. Bwe kityo amazzi ne gakendeerera ddala ne kisobozesa abasajja be okusomoka okutuusa bwe baatuuka ku bbugwe w’ekibuga. Naye, eggye lya Kuulo lyandiyingidde litya mu Babulooni ekyalina bbugwe ow’amaanyi? Ekiro ekyo enzigi z’ekibuga zaalekebwa nzigule!

16. (a) Isaaya yalagula ki ekyandituuse ku Babulooni? (b) Obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku Babulooni okufuulibwa amatongo bwatuukirizibwa butya?

16 Ku bikwata ku Babulooni, kyalagulwa nti: “Tekiisulibwengamu ennaku zonna, so tekiibeerwengamu emirembe n’emirembe. So n’Omuwalabu taasimbe[n]gayo weema, so n’abasumba tebaagalamizengayo mbuzi zaabwe.” (Isaaya 13:20) Obunnabbi buno tebwalaga bulazi nti ekibuga kyandisaanyewo naye era bwalaga nti Babulooni kyandifuuse matongo emirembe gyonna. Osobola okulaba obujulizi obulaga okutuukirizibwa kw’ebigambo bino. Ekifo awaalinga Babulooni eky’edda, ekyasigala amatongo, ekiri mayiro nga 50 mu maserengeta ga Baghdad, Iraq​—bukakafu obulaga nti ekyo Yakuwa kye yayogera okuyitira mu Isaaya nti, “ndikyera n’olweyo olw’okuzikiriza,” kyatuukirizibwa.​—Isaaya 14:22, 23. *

17. Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli kunyweza kutya okukkiriza kwaffe?

17 Tekinyweza kukkiriza kwaffe bwe tumanya nti Baibuli kitabo ekirimu obunnabbi obwesigika? Okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa Katonda mu biseera ebyayita, kutukakasa nti ekisuubizo kye eky’okufuula ensi olusuku lwe olulungi nakyo kijja kutuukirizibwa. (Okubala 23:19) Mu butuufu, tulina ‘essuubi ery’obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba lye yatuwa ebiro eby’emirembe n’emirembe nga tebinnabaawo.’​—Tito 1:2. *

“EKIGAMBO KYA KATONDA KIRAMU”

18. Omutume Pawulo yayogera ki ku “kigambo kya Katonda”?

18 Okusinziira ku ebyo bye tulabye mu ssuula eno, kya lwatu nti Baibuli ddala kitabo kya njawulo. Kyokka, ng’oggyeko okuba nti ebirimu bikwatagana, ntuufu ku by’eyogera ku byasayansi ne ku byafaayo, era erimu amagezi agakola, n’obunnabbi obwesigika. Omutume Pawulo yalaga omugaso omulala bwe yawandiika: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.”​—Abebbulaniya 4:12.

19, 20. (a) Baibuli eyinza etya okukuyamba okwekebera? (b) Oyinza otya okulaga nti osiima ekirabo kino ekyatuweebwa Katonda?

19 Okusoma “ekigambo” kya Katonda oba obubaka obuli mu Baibuli kusobola okukyusa obulamu bwaffe. Kusobola okutuyamba okwekebera. Tuyinza okugamba nti twagala Katonda, naye engeri gye tutwalamu ebyo ebiyigirizibwa mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, Baibuli, ejja kwoleka endowooza n’ebiruubirirwa byaffe.

20 Baibuli ddala kitabo ekiva eri Katonda. Tulina okukisoma, okukyekenneenya, era n’okukyagala. Kirage nti osiima ekirabo kino ekyava eri Katonda nga weeyongera okusoma ebikirimu. Bw’oneeyongera okukisoma ojja kweyongera okutegeera ekigendererwa kya Katonda eri olulyo lw’omuntu. Ekigendererwa ekyo n’engeri gye kinaatuukirizibwamu bijja kwogerwako mu ssuula eddako.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 6 Wadde ng’abantu abamu bagamba nti ebitundu ebimu ebya Baibuli tebikwatagana, ebyo bye boogera tebiriiko bukakafu. Laba essuula 7 mu katabo The Bible​God’s Word or Man’s? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 9 Ng’ekyokulabirako, weetegereze olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu oluli mu Lukka 3:23-38.

^ lup. 16 Okumanya ebisingawo ku bunnabbi bwa Baibuli, laba empapula 27-9 mu brocuwa A Book for All People, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 17 Okuzikirizibwa kwa Babulooni kyakulabirako kimu kyokka eky’obunnabbi bwa Baibuli obwatuukirizibwa. Okuzikirizibwa kwa Ttuulo ne Nineeve bye bimu ku byokulabirako ebirala. (Ezeekyeri 26:1-5; Zeffaniya 2:13-15) N’obunnabbi bwa Danyeri bwalagula ku bufuzi kirimaanyi obwandizze buddiriŋŋana oluvannyuma lw’okugwa kwa Babulooni. Obumu ku bwo ye Bumeedi ne Buperusi era ne Buyonaani. (Danyeri 8:5-7, 20-22) Laba ebiri ku mpapula 199-201 otegeere ebikwata ku bunnabbi bwa Masiya obwatuukirizibwa mu Yesu Kristo.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, n’olwekyo ntuufu era yeesigika.​—2 Timoseewo 3:16.

▪ Ebyo ebisangibwa mu Kigambo kya Katonda bituganyula mu bulamu obwa bulijjo.​—Isaaya 48:17.

▪ Ebisuubizo bya Katonda ebisangibwa mu Baibuli bijja kutuukirizibwa.​—Okubala 23:19.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

“New World Translation of the Holy Scriptures” efulumiziddwa mu nnimi nnyingi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Isaaya, omu ku bawandiisi ba Baibuli yalagula ku kugwa kwa Babulooni

[Ebifaananyi ebiri ku empapula 24, 25]

Amatongo ga Babulooni