Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nywerera ku Kusinza okw’Amazima

Nywerera ku Kusinza okw’Amazima

Essuula ey’Ekkumi n’Omukaaga

Nywerera ku Kusinza okw’Amazima

Kiki Baibuli ky’eyigiriza ku kukozesa ebifaananyi n’okusinza bajjajja abaafa?

Ndowooza ki Abakristaayo gye balina ku nnaku enkulu ez’eddiini?

Osobola otya okunnyonnyola abalala enzikiriza zo ne batawulira bubi?

1, 2. Kibuuzo ki ky’olina okwebuuza oluvannyuma lw’okuva mu ddiini ey’obulimba, era lwaki olowooza nti osaanidde okwebuuza ekibuuzo ekyo?

KITEEBEREZEEMU nti waliwo omuntu abadde asuula ebintu eby’obutwa mu kitundu gy’obeera era nga kati kigenda kukubeerera kya kabi singa oneeyongera okubeera mu kitundu ekyo. Kiki kye wandikoze? Awatali kubuusabuusa, bwe kiba nga kisoboka, wandivudde mu kitundu ekyo. Naye n’oluvannyuma lw’okukivaamu, wandyebuuzizza ekibuuzo kino, ‘Ebintu ebyo bikosezza obulamu bwange?’

2 Embeera efaananako eyo y’eri mu madiini ag’obulimba. Baibuli egamba nti amadiini ago goonooneddwa enjigiriza n’ebikolwa ebikyamu. (2 Abakkolinso 6:17) Eyo ye nsonga lwaki kikwetaagisa okuva mu “Babulooni Ekinene,” kwe kugamba, amadiini gonna ag’obulimba mu nsi. (Okubikkulirwa 18:2, 4) Ekyo omaze okukikola? Bwe kiba kityo, kirungi. Naye era kikwetaagisa okukola ekisingawo ku kuva obuvi mu ddiini ez’obulimba. Olina okwebuuza, ‘Waliwo ebintu ebirina akakwate n’eddiini ez’obulimba bye nkyakkiririzaamu?’ Ka twetegereze ebimu ku byo.

EBIFAANANYI N’OKUSINZA BAJJAJJA ABAAFA

3. (a) Kiki Baibuli ky’eyogera ku kukozesa ebifaananyi, era lwaki abamu kiyinza okubazibuwalira okukkiriza endowooza Katonda gy’alina ku bifaananyi? (b) Kiki kye wandikoze bw’oba ng’olina ebintu ebirina akakwate n’okusinza okw’obulimba?

3 Abamu babadde n’ebifaananyi oba amasabo mu maka gaabwe okumala emyaka mingi. Ewammwe nayo eriyo ebifaananyi oba essabo? Bwe kiba kityo, oyinza okuba ng’olowooza nti kikyamu okusaba Katonda nga tolina kintu kyonna ky’okozesa. Ate era oyinza n’okuwulira nti toyagala kubyeggyako. Naye, kijjukire nti Katonda y’alina okututegeeza engeri gye tulina okumusinzaamu, era Baibuli eyigiriza nti tayagala tukozese bifaananyi mu kusinza. (Okuva 20:4, 5; Zabbuli 115:4-8; Isaaya 42:8; 1 Yokaana 5:21) N’olwekyo, osobola okunywerera ku kusinza okw’amazima nga weggyako ebintu byonna ebirina akakwate n’okusinza okw’obulimba. Bitunuulire nga Yakuwa bw’abitunuulira, kwe kugamba, ng’ebintu ‘eby’omuzizo.’​—Ekyamateeka 27:15.

4. (a) Tuyinza tutya okumanya nti tekigasa okusinza bajjajja abaafa? (b) Lwaki Yakuwa yagaana abantu be okwenyigira mu busamize obw’engeri yonna?

4 Ate era, amadiini mangi ag’obulimba gakola ebintu ebyekuusa ku kusinza bajjajja abaafa. Nga tebannayiga mazima, abamu baali bakkiriza nti abantu bwe bafa bagenda mu twale eritalabika ne beeyongera okubeera abalamu, era nti basobola okuyamba oba okulumya abantu abalamu. Oboolyawo olina bye wakolanga ng’ogezaako okusanyusa bajjajja bo abaafa. Naye nga bwe wayiga mu Ssuula 6 ey’akatabo kano, abantu bwe bafa tebeeyongera kuba balamu awantu awalala wonna. N’olwekyo tekigasa okugezaako okwogera nabo. Mazima ddala, obubaka bwonna obuyinza okulabika ng’obuva eri abaagalwa baffe abaafa, buba buva eri badayimooni. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yagaana Abaisiraeri okugezaako okwogera n’abafu oba okwenyigira mu ngeri yonna ey’obusamize.​—Ekyamateeka 18:10-12.

5. Kiki kye wandikoze singa eddiini gye walimu yalimu okukozesa ebifaananyi n’okusinza bajjajja abaafa?

5 Bwe kiba nti eddiini gye walimu yalimu okukozesa ebifaananyi oba okusinza bajjajja abaafa, kiki ky’olina okukola? Soma Ebyawandiikibwa ebiraga endowooza Katonda gy’alina ku bintu ebyo era obifumiitirizeeko. Saba Yakuwa buli lunaku akuyambe okunywerera ku kusinza okw’amazima n’okubeera n’endowooza ng’eyiye.​—Isaaya 55:9.

SSEKUKKULU​TEYAKUZIBWANGA BAKRISTAAYO ABAASOOKA

6, 7. (a) Abakuza Ssekukkulu bagamba nti baba bakuza ki, era abagoberezi ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka baagikuzanga? (b) Okukuza amazaalibwa kwali kukwataganyizibwa naki mu kiseera ky’abayigirizwa ba Yesu abaasooka?

6 Ennaku enkulu ezikuzibwa mu madiini ag’obulimba ziyinza okwonoona okusinza kw’omuntu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Ssekukkulu. Kigambibwa nti ku lunaku olwo baba bakuza amazaalibwa ga Yesu Kristo, era kumpi amadiini gonna ageeyita ag’Ekikristaayo galukuza. Kyokka, tewaliiwo bukakafu bulaga nti abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka baakuzanga olunaku olwo. Ekitabo ekiyitibwa Sacred Origins of Profound Things kigamba nti: “Okumala ebyasa bibiri oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwa Kristo, tewali muntu n’omu eyali amanyi olunaku lwennyini Yesu lwe yazaalibwako era batono nnyo abaafaayo okulumanya.”

7 Abayigirizwa ba Yesu ne bwe bandibadde bamanyi olunaku lwennyini lwe yazaalibwako, tebandirukuzizza. Lwaki? Kubanga, ekitabo The World Book Encyclopedia kigamba, Abakristaayo abasooka, “baatwalanga okukuza amazaalibwa g’omuntu yenna ng’omukolo ogw’ekikaafiiri.” Amazaalibwa gokka agoogerwako mu Baibuli ge g’abafuzi ababiri abataali basinza ba Yakuwa. (Olubereberye 40:20; Makko 6:21) Abantu baakuzanga amazaalibwa nga bawa bakatonda baabwe ab’obulimba ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, nga Maayi 24 Abaruumi baakuzanga olunaku lw’amazaalibwa ga katonda waabwe omukazi ayitibwa Diana. Olunaku olwaddako, baakuzanga amazaalibwa ga katonda waabwe ow’enjuba ayitibwa, Apollo. N’olwekyo, okukuza amazaalibwa kwali kukwataganyizibwa na bukaafiiri, so si na Bukristaayo.

8. Nnyonnyola engeri emikolo gy’okukuza amazaalibwa gye gikwataganamu n’endowooza enkyamu.

8 Waliwo ensonga endala lwaki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka tebandikuzizza mazaalibwa ga Yesu. Kirabika baali bakimanyi nti okukuza amazaalibwa kwali kwesigamiziddwa ku ndowooza enkyamu. Ng’ekyokulabirako, Abayonaani bangi n’Abaruumi ab’edda bakkirizanga nti waliwo omwoyo ogwabeerangawo ng’omuntu azaalibwa era nti gwe gwamukuumanga obulamu bwe bwonna. Ekitabo ekiyitibwa The Lore of Birthdays kigamba nti “omwoyo ogwo gwalinanga oluganda ne katonda eyazaalibwa ku lunaku omuntu oyo kwe yabanga azaaliddwa.” Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yali tayinza kusanyukira mukolo gwonna ogwali gukwataganya Yesu n’endowooza ey’obulimba. (Isaaya 65:11, 12) Kati olwo, kyajja kitya Ssekukkulu etandike okukuzibwa abantu bangi?

ENSIBUKO YA SSEKUKKULU

9. Ddesemba 25 lwatandika lutya okukuzibwa ng’olunaku lw’amazaalibwa ga Yesu?

9 Waali wayiseewo ebikumi by’emyaka nga Yesu amaze okuva ku nsi, abantu ne baatandika okukuza amazaalibwa ge nga Ddesemba 25. Kyokka, olwo si lwe lunaku Yesu lwe yazaalibwako, wabula yazaalibwa mu Okitobba. * Kati olwo kyava ku ki okutandika okukuza olunaku olwo nga Ddesemba 25? Abantu abamu abaali beeyita Abakristaayo “baayagala okukuza olunaku olwo ku lunaku Abaruumi kwe baakwatiranga omukolo gw’ekikaafiiri ‘ogw’okuzaalibwa kw’enjuba.’” (The New Encyclopædia Britannica) Mu kiseera eky’obutiti omusana we gutaabeererangawo, abakaafiiri baabanga n’omukolo ogw’okukomyawo enjuba okuva gye yalaga, basobole okuddamu okufuna ekitangaala n’ebbugumu. Baalowoozanga nti Ddesemba 25 lwe lunaku enjuba lwe yatandikirangako okudda. Olw’okuba baali baagala okukyusa abakaafiiri, abakulembeze b’amadiini baatandika okukuza olunaku olwo, era ne bagezaako okulufuula “olw’Ekikristaayo.” *

10. Lwaki edda abantu abamu tebaakuzanga Ssekukkulu?

10 Okumala ekiseera kiwanvu, kibadde kimanyiddwa nti Ssekukkulu yasibuka mu bakaafiiri. Olw’okuba Ssekukkulu teyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, yawerebwa mu Bungereza ne mu matwale agamu ag’Amerika mu kyasa ekya 17. Omuntu yenna ataagendanga ku mulimu ku lunaku lwa Ssekukkulu, yatanzibwanga. Kyokka, waayitawo ekiseera kitono Ssekukkulu n’eddamu okukuzibwa, era n’eyongerwamu n’obulombolombo obulala. Ssekukkulu yaddamu okutwalibwa ng’olunaku olukulu, era bwe kityo bwe kiri ne mu nsi nnyingi leero. Kyokka, olw’okuba erina akakwate n’okusinza okw’obulimba, abo abaagala okusanyusa Katonda tebagikuza oba okukuza olunaku lwonna olwasibuka mu kusinza okw’ekikaafiiri. *

DDALA KIKULU OKUMANYA ENSIBUKO Y’ENNAKU ENKULU?

11. Lwaki abantu abamu bakuza ennaku enkulu, naye kiki kye tusaanidde okutwala ng’ekikulu ennyo?

11 Wadde abamu bakkiriza nti ennaku enkulu, gamba nga Ssekukkulu, zaasibuka mu bakaafiiri, bawulira nti si kikyamu okuzikuza. Mu butuufu, abantu abasinga obungi bwe baba bakuza ennaku ezo tebakirowooza nti zaasibuka mu kusinza okw’obulimba. Ate era ku nnaku ezo ab’omu maka kwe bafunira akakisa ak’okubeerako awamu. Bwe kityo bwe kiri gy’oli? Bwe kiba kityo, kirabika okwagala kw’olina eri ab’omu maka go, so si eddiini ey’obulimba kwe kukuleetera okuwulira nti kizibu okunywerera ku kusinza okw’amazima. Beera mukakafu nti Yakuwa eyatandikawo amaka ayagala obeere n’enkolagana ennungi n’ab’eŋŋanda zo. (Abeefeso 3:14, 15) Osobola okulaga ab’omu maka go okwagala mu ngeri Katonda gy’asiima. Omutume Pawulo yagamba bw’ati ku ekyo kye tusaanidde okutwala ng’ekikulu ennyo: ‘Mufubenga okumanya Mukama waffe ky’ayagala bwe kiri.’​—Abeefeso 5:10.

12. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki tulina okwewala obulombolombo n’okukuza ennaku ezaasibuka mu bifo ebitali birungi.

12 Oboolyawo, oyinza okuba ng’owulira nti ensibuko y’ennaku ezo terina kakwate konna na ngeri gye zikuzibwamu. Naye, ddala kikulu okumanya ensibuko y’ennaku ezo? Yee, kikulu! Ng’ekyokulabirako: Kuba akafaananyi ng’osanze swiiti mu mufulejje. Wandironze swiiti oyo n’omulya? N’akatono! Swiiti oyo si muyonjo. Mu ngeri y’emu, ennaku enkulu ziyinza okulabika ng’ennungi, naye zaasibuka mu bifo ebitali birungi. Okusobola okunywerera ku mazima, tulina okubeera n’endowooza ng’eya nnabbi Isaaya, eyagamba abasinza ab’amazima nti: “Temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu.”​—Isaaya 52:11.

OKUKOZESA AMAGEZI NGA TUKOLAGANA N’ABANTU ABALALA

13. Kusoomooza ki kw’oyinza okwolekagana nakwo singa ogaana okukuza ennaku enkulu?

13 Kuyinza okuba okusoomooza okw’amaanyi ennyo singa osalawo obutakuza nnaku enkulu. Ng’ekyokulabirako, bakozi banno bayinza okwewuunya lwaki tokuza nnaku ezo. Kiba kitya singa oweebwa ekirabo kya Ssekukkulu? Kyandibadde kibi okukikkiriza? Ate kiba kitya singa temuli bumu mu nzikiriza ne munno mu bufumbo? Kiki kye wandikoze okukakasa nti abaana bo tebawulira nti balina kye basubwa olw’obutakuza nnaku ezo?

14, 15. Kiki kye wandikoze singa wabaawo akwagaliza olunaku olukulu olulungi oba singa wabaawo ayagala okukuwa ekirabo?

14 Kikwetaagisa okukozesa amagezi okusobola okwaŋŋanga buli mbeera ebaawo. Singa omuntu akwagaliza olunaku olukulu olulungi, oyinza okumwebaza obwebaza. Naye, kiba kitya singa omuntu oyo obeera naye oba okola naye? Oyinza okumutegeeza ebisingawo. Mu buli mbeera yonna, olina okukozesa amagezi. Baibuli egamba: “Ebigambo byammwe bibeerenga n’ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.” (Abakkolosaayi 4:6) Weegendereze oleme kuyisaamu balala maaso. Wabula, bannyonnyole bulungi enzikiriza yo. Bakakase nti togaanye bugaanyi kubawa birabo oba okukuŋŋaanako nabo, naye nti wandyagadde okukikola mu biseera ebirala.

15 Kiba kitya singa wabaawo omuntu ayagala okukuwa ekirabo? Ekyo kisinziira ku kigendererwa ky’aba nakyo. Oyo akuwa ekirabo ayinza okukugamba nti: “Nkimanyi nti tokuza lunaku luno. Naye era njagala otwale ekirabo kino.” Oyinza okusalawo nti okukkiriza ekirabo ekyo si kye kimu n’okukuza olunaku olwo. Kya lwatu, singa oyo akuwa ekirabo aba tamanyi nzikiriza zo, wandimutegeezezza nti tokuza lunaku olwo. Kino kiyinza okuyamba omuntu oyo okutegeera ensonga lwaki okkirizza ekirabo ky’akuwadde kyokka gwe n’otamuwa. Ku luuyi olulala, kyandibadde kya magezi obutakkiriza kirabo singa oyo akikuwa aba n’ekigendererwa eky’okulaga nti tonywerera ku nzikiriza zo oba nti osobola okwekkiriranya olw’okwagala okufuna ebintu.

WANDIKOLAGANYE OTYA N’AB’EŊŊANDA ZO ABATALI BAKKIRIZA?

16. Osobola otya okukozesa amagezi bw’oyolekagana n’ensonga ezikwata ku kukuza ennaku enkulu?

16 Kiba kitya singa gwe n’ab’eŋŋanda zo temuli bumu mu nzikiriza? Ne mu mbeera ng’eyo, kikwetaagisa okukozesa amagezi. Tekikwetaagisa kuwakana nabo ku buli kalombolombo oba emikolo gye bakuza. Mu kifo ky’ekyo, ssa ekitiibwa ku ndowooza zaabwe, era nga naawe bw’oyagala basse ekitiibwa mu zizo. (Matayo 7:12) Weewale okwenyigira mu kikolwa kyonna ekiyinza okukuleetera okukuza olunaku olukulu. Ate era olina obutaba mukakanyavu bwe kituuka ku nsonga ezitalina kakwate na kukuza nnaku nkulu. Kya lwatu, bulijjo olina okweyisa mu ngeri etajja kulumya muntu wo ow’omunda.​—1 Timoseewo 1:18, 19.

17. Osobola otya okuyamba abaana bo baleme kuwulira nti balina kye basubwa bwe balaba ng’abalala bakuza ennaku enkulu?

17 Kiki ky’oyinza okukola abaana bo baleme kuwulira nti balina kye basubwa olw’obutakuza nnaku eziteesigamiziddwa ku byawandiikibwa? Kino kisinziira ku ebyo by’okola mu biseera ebirala mu mwaka. Abazadde abamu bafunayo akaseera ne bawa abaana baabwe ebirabo. Ekimu ku birabo ebisingayo obulungi ky’oyinza okuwa abaana bo, kye kiseera ky’omala ng’oli nabo n’okubafaako.

BEERA MU KUSINZA OKW’AMAZIMA

18. Okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo kikusobozesa kitya okunywerera ku kusinza okw’amazima?

18 Okusobola okusanyusa Katonda, oteekwa okwesamba okusinza okw’obulimba era onywerere ku kusinza okw’amazima. Kino kizingiramu ki? Baibuli egamba: “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.” (Abebbulaniya 10:24, 25) Enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo zikusobozesa okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima. (Zabbuli 22:22; 122:1) Mu nkuŋŋaana ng’ezo, Abakristaayo ‘baziŋŋanamu amaanyi.’​—Abaruumi 1:12.

19. Lwaki kikulu okutegeeza abalala ebintu by’oyize mu Baibuli?

19 Ekintu ekirala ky’osobola okukola okunywerera mu kusinza okw’amazima kwe kutegeeza abalala ebintu by’oyize ng’osoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Abantu bangi ‘bassa ebikkowe era bakaaba’ olw’obubi obuli mu nsi leero. (Ezeekyeri 9:4) Oboolyawo waliwo abantu b’omanyi abali mu mbeera ng’eyo. Lwaki tobategeeza ku ebyo by’oyize mu Baibuli ebikwata ku ssuubi ery’omu biseera eby’omu maaso? Bwe weeyongera okubeera n’Abakristaayo ab’amazima era n’otegeeza abalala ebintu eby’ekitalo by’oyize mu Baibuli, mpolampola okwagala kw’obadde nakwo okw’okukuza ennaku ezikwataganyizibwa n’okusinza okw’obulimba, kujja kuggwaawo. Beera mukakafu nti ojja kufuna essanyu lingi n’emikisa mingi singa onywerera ku kusinza okw’amazima.​—Malaki 3:10.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 9 Laba ebiri ku lupapula 222-3.

^ lup. 9 Omukolo gw’okwebaza katonda w’Abaruumi ow’eby’obulimi [Saturnalia] nagwo gulina kinene kye gwakola mu kutandika okukuza olunaku lwa 25 Ddesemba. Omukolo gw’Abaruumi ogwo gwabangawo okuva nga Ddesemba 17 okutuuka nga 24. Gwabangako okulya, okusanyuka, n’okugaba ebirabo.

^ lup. 10 Okumanya ebisingawo ku ngeri Abakristaayo ab’amazima gye batunuuliramu ennaku z’eddiini enkulu endala, laba ebiri ku lupapula 221-2.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Okukozesa ebifaananyi mu kusinza oba okusinza bajjajja abaafa, tebirina kubeera mu kusinza okw’amazima.​—Okuva 20:4, 5; Ekyamateeka 18:10-12.

▪ Kikyamu okwenyigira mu mikolo egyasibuka mu bakaafiiri.​— Abeefeso 5:10.

▪ Abakristaayo ab’amazima balina okukozesa amagezi nga bannyonnyola abalala enzikiriza zaabwe.​—Abakkolosaayi 4:6.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 158]

Wandiridde ka swiiti akalondeddwa mu mufulejje?

[Ebifaanany ebiri ku empapula 163]

Kisanyusa nnyo okubeera mu kusinza okw’amazima