Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

2 Ffe Tuvunaanyizibwa ku Kubonaabona Okuliwo?

2 Ffe Tuvunaanyizibwa ku Kubonaabona Okuliwo?

Lwaki Kikulu

Eky’okuddamu bwe kiba nti yee, kiba kitegeeza nti tusobola okukendeeza ku kubonaabona.

Eky’Okulowoozaako

Abantu bavunaanyizibwa kyenkana wa ku bintu bino ebiviirako abantu okubonaabona?

  • Okukabasanyizibwa n’Okutulugunyizibwa.

    Ekitongole ky’ensi yonna eky’eby’obulamu kigamba nti omuntu 1 ku buli bantu 4 yatulugunyizibwako ng’akyali muto, era nti omukazi 1 ku buli bakazi 3 yatulugunyizibwako oba yakabasanyizibwako oba yakolebwako ebintu ebyo byombi.

  • Okufiirwa Abantu.

    Lipoota eyafulumizibwa ekitongole ky’ensi yonna eky’eby’obulamu mu 2018, yagamba nti “Abantu nga 477,000 be baatemulwa mu nsi yonna mu 2016.” Ate era abantu nga 180,000 be bagambibwa okuba nga baafiira mu ntalo oba mu bukuubagano omwaka ogwo.

  • Endwadde.

    Mu kitundu ekimu ekyafulumira mu magazini eyitibwa National Geographic, Fran Smith yagamba nti: “Abantu abasukka mu kawumbi banywa ssigala, era kigambibwa nti ssigala kye kimu ku bintu ebiviirako ebintu bino ebisinga okutta abantu: obulwadde bw’omutima, okusannyalala, obulwadde obukwatagana n’okussa, ne kookolo w’amawuggwe.”

  • Obutali Bwenkanya.

    Jay Watts, omukugu mu mbeera z’abantu, yagamba nti: “Okusosolwa olw’embeera y’eby’enfuna, olwa langi y’omuntu, oba olw’ekikula ky’omuntu awamu n’ebintu gamba ng’okugobaganya abantu n’okuvuganya okw’amaanyi okuliwo bye bimu ku bintu ebiviiriddeko abantu okwennyamira.”

    MANYA EBISINGAWO

    Laba vidiyo Lwaki Katonda Yatonda Ensi? ku jw.org/lg.

Bayibuli ky’Egamba

Okubonaabona okusinga obungi okuliwo mu nsi kuleetebwa bantu.

Okusinga obungi ku kubonaabona kuleetebwa gavumenti ezinyigiriza abantu be zifuga.

‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’​OMUBUULIZI 8:9.

Okubonaabona kusobola okukendeezebwa.

Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okuyamba abantu okuba abalamu obulungi n’okuba mu mirembe n’abalala.

“Omutima omukkakkamu guwa omubiri obulamu, naye obuggya buvunza amagumba.”​ENGERO 14:30.

“Mweggyeemu okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu na buli kikolwa kyonna ekibi.”​ABEEFESO 4:31.