Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 2 2020 | Ebibuuzo 5 Ebikwata ku Kubonaabona Biddibwamu

Ffenna oluusi n’oluusi tukosebwa ebizibu gamba ng’obulwadde, obubenje, obutyabaga, oba ebikolwa eby’obukambwe.

Abantu banoonya eby’okuddamu.

  • Abamu balowooza nti okubonaabona okututuukako kwatugerekerwa dda, ate abalala balowooza nti tetulina kye tuyinza kukolawo kwewala kubonaabona.

  • Abamu bagamba nti tubonaabona olw’ebintu ebibi bye tuba twakola emabega oba bye twakola nga tuli mu bulamu obulala.

Ebizibu ebigwawo bitera okuleetera abantu ebibuuzo bingi.

Abamu Bye Bakkiriza

Laba endowooza ez’enjawulo amadiini ze galina ku kubonaabona.

1 Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?

Abantu babuzaabuziddwa ebintu eby’obulimba ebyogerwa ku Katonda. Amazima agakwata ku Katonda ge galuwa?

2 Ffe Tuvunaanyizibwa ku Kubonaabona Okuliwo?

Eky’okuddamu bwe kiba nti yee, kiba kitegeeza nti tusobola okukendeeza ku kubonaabona.

3 Lwaki Abantu Abalungi Babonaabona?

Bayibuli etuyamba okumanya eky’okuddamu.

4 Twatondebwa nga Tuli ba Kubonaabona?

Katonda eyatonda ensi erabika obulungi ayinza okwagala tuboneebone? Bwe kiba nti tayagala tuboneebone, kiki ekyasoba?

5 Okubonaabona Kuliggwaawo?

Bayibuli etubuulira engeri Katonda gy’agenda okumalawo okubonaabona.

Waliwo Ekisobola Okukuyamba

Ebizibu byaffe ne bwe birabika ng’ebitasobola kugonjoolwa, waliwo obulagirizi obwesigika obusobola okutuyamba.