Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Kusoomoozebwa ki Kerode kwe yafuna ng’addamu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi?

Kabaka Suleemaani ye yasooka okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi, era ku luuyi olw’ebuvanjuba n’ebugwanjuba olwa yeekaalu n’azimbayo ebisenge. Kerode yatandika okuddamu okuzimba n’okugaziya yeekaalu eyaliwo, era yali ayagala ebeere matiribona okusinga eyo Sulemaani gye yazimba.

Abazimbi ba Kerode baagaziya ekifo ekiseeteevu ekyali ebukiikakkono wa yeekaalu basobole okugigaziya. Ku luuyi olw’ebukiikaddyo, ekituuti ky’ayongerwako ffuuti 105 (mita 32). Okusobola okukola ekyo, baazimba ekisenge eky’amayinja okwetooloola yeekaalu. Mu bitundu ebimu, ekisenge ekyo kyali kiweza ffuuti 165 (mita 50) obuwanvu.

Kerode yafuba obutanyiiza Bayudaaya n’obutataataaganya mirimu egyali gikolebwa mu yeekaalu. Munnabyafaayo omuyudaaya ayitibwa Josephus yagamba nti Kerode yatendeka ne bakabona Abayudaaya okutema amayinja n’okubajja basobole okukola awatukuvu abantu abalala we baali batakkirizibwa kutuuka.

Kerode yafa nga tannamaliriza mulimu gwe yali atandise. Omwaka ogwa 30 E.E. we gwatuukira, yeekaalu yali emaze emyaka nga 46 ng’ezimbibwa. (Yokaana 2:20) Yeekaalu eyo yamalirizibwa muzzukkulu wa Kerode ayitibwa Agulipa II, mu makkati g’ekyasa ekyasooka.

Lwaki abantu b’e Maluta baalowooza nti omutume Pawulo mutemu?

Katonda omukazi ow’obwenkanya (ku kkono) ng’akuba katonda omukazi atali wa bwenkanya

Kirabika abantu abamu abaali babeera ku kizinga Maluta baatwalirizibwa enjigiriza z’eddiini y’Abayonaani. Lowooza ku ebyo ebyaliwo ebyogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. Omutume Pawulo ne banne baatuuka ku kizinga Maluta oluvannyuma lw’eryato mwe baali batambulidde okumenyekamenyeka. Pawulo bwe yateeka enku ku muliro gwe baali babakumidde okwota, omusota ogw’obusagwa gwava mu nku ne gwerippa ku mukono gwe. Abantu b’okukizinga bwe baalaba ekyo, baagamba nti: “Mazima ddala omusajja ono mutemu, wadde awonyeewo mu nnyanja obwenkanya tebumukkirizza kweyongera kuba mulamu.”—Ebikolwa 28:4.

Ekigambo “obwenkanya” ekikozesebwa mu lunyiriri luno kiri “di’ke,” mu Luyonaani. Okutwalira awamu ekigambo kino kisobola okutegeeza obwenkanya. Kyokka mu nfumo z’Abayonaani, Dike yali katonda omukazi ow’obwenkanya. Baalowoozanga nti katonda oyo yalabanga abantu abaayisanga bannaabwe mu ngeri etali ya bwenkanya n’abaloopa ewa Zewu, basobole okubonerezebwa. N’olwekyo okusinziira ku kitabo ekimu, kirabika abatuuze b’e Maluta baalowooza nti: “Wadde nga Pawulo yali awonyeewo mu nnyanja yaliko omusango, era katonda omukazi Dike yali amukwasizza . . . okuyitira mu musota.” Naye abantu baakyusa endowooza yaabwe bwe baakiraba nti Pawulo tatuusiddwako kabi konna.