Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | WANDYAGADDE OKUYIGIRIZIBWA BAYIBULI?

Enteekateeka y’Okuyigirizibwa Bayibuli ya Bonna

Enteekateeka y’Okuyigirizibwa Bayibuli ya Bonna

Abajulirwa ba Yakuwa tumanyiddwa nnyo olw’omulimu gw’okubuulira abantu buli wamu. Naye obadde okimanyi nti tulina n’enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna?

Mu 2014, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 8,000,000 mu nsi 240, baayigirizanga Bayibuli abantu abakunukkiriza 9,500,000 buli mwezi. * Mu butuufu, omuwendo gw’abantu be tuyigiriza Bayibuli gusinga omuwendo gw’abantu abali mu nsi ez’enjawulo 140!

Okusobola okukola obulungi omulimu guno, buli mwaka Abajulirwa ba Yakuwa bakuba mu kyapa Bayibuli, ebitabo, magazini, n’ebintu ebirala ebyetaagisa ebiwerera ddala kumpi akawumbi kamu n’ekitundu mu nnimi nga 700! Ebitabo bino biyamba abantu okuyigirizibwa Bayibuli mu lulimi lwe baba baagadde.

EBIBUUZO EBIKWATA KU NTEEKATEEKA EY’OKUYIGIRIZIBWA BAYIBULI ABANTU BYE BATERA OKUBUUZA

Omuntu ayigirizibwa atya Bayibuli?

Tufunayo ensonga ezitali zimu ezikwata ku Bayibuli, ne twekenneenya ebyawandiikibwa ebizoogerako. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eddamu ebibuuzo nga bino: Katonda y’ani? Alina ngeri ki? Alina erinnya? Abeera wa? Tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye? Ekitera okuba ekizibu kwe kumanya wa ebyawandiikibwa ebiddamu ebibuuzo ng’ebyo we biri mu Bayibuli.

Okusobola okuyamba bantu okufuna eby’okuddamu, tutera okukozesa akatabo ak’empapula 224, akalina omutwe Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? * Akatabo kano kaategekebwa okuyamba abantu okutegeera enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Kalimu essuula ezoogera ku Katonda, ku Yesu Kristo, ku kubonaabona, ku kuzuukira, ku kusaba, ne ku nsonga endala nnyingi.

Omuntu ayigirizibwa ddi era wa?

Tuyigiriza abantu mu kiseera n’ekifo kye baagala.

Mumala essaawa mmeka nga muyigiriza omuntu?

Abantu bangi basalawo okuyigirizibwa okumala essaawa ng’emu buli wiiki. Naye ebiseera bye tumala nga tuyigiriza abantu byawukana. Tusobola okukyusakyusaamu okusinziira ku nteekateeka yo. Abamu bayigirizibwa okumala eddakiika 10 oba 15 buli wiiki.

Omuntu asasula ssente mmeka okuyigirizibwa Bayibuli?

Okuyigirizibwa Bayibuli kwa bwereere, n’ebitabo bye tukozesa bya bwereere. Kino kikwatagana n’ekiragiro Yesu kye yawa abayigirizwa be ekigamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.”—Matayo 10:8.

Omuntu amala bbanga lyenkana wa ng’ayigirizibwa Bayibuli?

Tusobola okuyigiriza omuntu okumala ebbanga lyonna ly’ayagala. Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? kalimu essuula 19. Osobola okuyigirizibwa essuula zonna oba ezimu ku zo okusinziira ku biseera by’oba nabyo.

Bwe mmala okuyigirizibwa mba nnina okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa?

Nedda. Buli muntu wa ddembe okwesalirawo ky’anaakkiririzaamu. Naye omuntu bw’ayigirizibwa Bayibuli aba asobola okusalawo obulungi.

Nnyinza ntya okumanya ebisingawo?

Omukutu gwaffe ogwa Intaneeti jw.org guliko obubaka obukwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa n’ebyo bye bakola.

Nnyinza ntya okusaba okuyigirizibwa Bayibuli?

  • Jjuzaamu akakonge akali ku mukutu gwaffe www.jw.org/lg.

  •  
  • Genda Abajulirwa ba Yakuwa we bakuŋŋaanira.

^ lup. 4 Tuyigiriza abantu kinnoomu oba abantu abatonotono nga bali wamu.

^ lup. 9 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Kopi z’akatabo kano ezikubiddwa zisukka mu bukadde 230 mu nnimi ezisukka 260.