OMUNAALA GW'OMUKUUMI Apuli 2015 | Wandyagadde Okuyigirizibwa Bayibuli?
Okwetooloola ensi abantu bukadde na bukadde baganyuddwa mu nteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. Soma omanye engeri naawe gy’oyinza okuganyulwa.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?
Otera okugamba nti, ‘Sirina biseera,’ oba nti ‘Saagala kwegatta ku ddiini yammwe’?
Enteekateeka y’Okuyigirizibwa Bayibuli ya Bonna
Funa eby’okuddamu mu bibuuzo munaana ebikwata ku nteekateeka eno abantu bye basinga okubuuza.
BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU
Ebibuuzo Bisatu Byakyusa Obulamu Bwange
Omuyizi yayigiriza omusomesa we; Doris Eldred yafuna eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo bye yali yeebuuza.
Ekintu eky’Omuwendo Ekyazuulibwa mu Kasasiro
Ekiwandiiko ekiyitibwa Rylands ekirimu ezimu ku nnyiriri eziri mu njiri ya Yokaana kye kisingayo obukadde mu biwandiiko bya Bayibuli eby’Oluyonaani ebyazuulibwa.
OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO
Lwaki Tusaanidde Okujjukira Okufa kwa Yesu?
Abantu bangi bakuza amazaalibwa ga Yesu ku Ssekukkulu n’amazuukira ge ku Ppaasika. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bo bajjukira kufa kwa Yesu?
Obadde Okimanyi?
Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale yalinanga buvunaanyizibwa ki mu magye g’Abaruumi? Endabirwamu ez’edda zaawukana zitya ku za leero?
Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Ekiseera kirituuka abantu ne baba nga bafaayo ku bannaabwe?
Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa
Ddala Ebyo Ebiri mu Bayibuli Byava eri Katonda?
Abawandiisi ba Bayibuli bangi baagamba nti bye baawandiika byava eri Katonda. Lwaki?

