OMUNAALA GW'OMUKUUMI
Okitobba 2014 | Obwakabaka bwa Katonda —Bunaakuganyula Butya?
Soma omanye esonga lwaki Yesu ne Kitaawe babutwala nga bukulu, era n’ebyo bye bunaakolera abantu abakola Katonda by’ayagala.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Lwaki Kikulu Okumanya Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?
Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bassa essira ku Bwakabaka bwa Katonda ate ng’amadiini agasinga obungi ageeyita Amakristaayo si bwe gakola?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Obwakabaka bwa Katonda —Lwaki Yesu Abutwala nga Bukulu Nnyo?
Yesu yayogera nnyo ku Bwakabaka okusinga ekintu ekirala kyonna.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Obwakabaka bwa Katonda —Bunaakuganyula Butya?
Okusingira ddala, ggwe olina okubaako ky’okolawo.
OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO
Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga? (Ekitundu 1)
Bw’oba omanyi eky’okuddamu, osobola okukinnyonnyola omulala ng’okozesa Bayibuli?
BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU
Nnali Nneerowoozaako Nnyo
Christof Bauer yasoma nnyo Bayibuli bwe yali ku lugendo lwe ku guyanja Atlantic. Biki bye yayiga?
Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Biki Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukola, gavumenti z’abantu bye zitasobola kukola?
Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa
Kikulu Okusaba? Katonda Anaddamu Essaala Zange?
Katonda okuddamu essaala zo, kisinziira nnyo ku ggwe.

