Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Kikulu Okusaba? Katonda Anaddamu Essaala Zange?

Kikulu Okusaba? Katonda Anaddamu Essaala Zange?

Bayibuli ky’egamba

Yee, ajja kuziddamu. Ebyo bye tusoma mu Bayibuli n’ebyo abantu abatali bamu bye bayiseemu biraga nti ddala Katonda addamu okusaba. Bayibuli egamba nti: “[Katonda] awa abo abamutya bye baagala; awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.” (Zabbuli 145:19) Naye Katonda okuddamu essaala zo, kisinziira nnyo ku ggwe.

Katonda bye yeetaagisa abo abamusaba

  • Balina okusaba Katonda yekka, so si Yesu, Maliyamu, abatuukirivu, bamalayika, oba ebifaananyi. Yakuwa Katonda yekka ‘y’awulira okusaba.Zabbuli 65:2.

  • Bye basaba birina okuba nga bituukana n’ebyo Katondaby’ayagala, ebiri mu Bayibuli.1 Yokaana 5:14.

  • Basaanidde okusaba mu linnya lya Yesu. Mu ngeri eyo baba balaga nti bassa ekitiibwa mu Yesu. Yesu yagamba nti: “Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.Yokaana 14:6.

  • Bwe basaba tebalina kuba na kubuusabuusa kwonna, era bwe kiba kyetaagisa bayinza okusaba Katonda abongere okukkiriza.Matayo 21:22; Lukka 17:5.

  • Balina okuba abeetoowaze era nga beesimbu. Bayibuli egamba nti: “Wadde nga Yakuwa wa waggulu nnyo, alowooza ku beetoowaze.Zabbuli 138:6.

  • Tebalina kukoowa kusaba. Yesu yagamba nti: “Musabenga, muliweebwa.Lukka 11:9.

Katonda by’atatunuulira okusobola okuwulira essaala y’omuntu

  • Eggwanga lyo oba langi yo. “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.Ebikolwa 10:34, 35.

  • Engeri gy’olina okubeeramu ng’osaba. Osobola okusaba Katonda ng’otudde, ng’okutamizza ku mutwe, ng’ofukamidde, oba ng’oyimiridde.1 Ebyomumirembe 17:16; Nekkemiya 8:6; Danyeri 6:10; Makko 11:25.

  • Okusaba mu ddoboozi eriwulikika oba mu kasirise. Katonda addamu n’essaala ze tusaba mu kasirise wadde ng’abalala bayinza n’obutamanya nti tusaba.Nekkemiya 2:1-6.

  • Ensonga zo ka zibe nnene oba ntono. Katonda akukubiriza ‘okumukwasa byonna ebikweraliikiriza kubanga akufaako.1 Peetero 5:7.