Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA AKUFAAKO?

Katonda Alaba Buli Ekikutuukako

Katonda Alaba Buli Ekikutuukako

“Kubanga amaaso ge gatunuulira amakubo ag’omuntu, Era alaba okutambula kwe kwonna.”YOBU 34:21.

Omwana gy’akoma okuba omuto gy’akoma okwetaaga muzadde we okumufaako

ENSONGA LWAKI ABAMU BAKIBUUSABUUSA: Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko kulaga nti ekibinja kya zisseŋŋendo ensi mw’eri kirimu pulaneti buwumbi na buwumbi. N’olwekyo abamu bwe balowooza ku bwaguuga bw’obwengula beebuuza nti, ‘Ddala Katonda omuyinza w’ebintu byonna ayinza okufaayo okulaba ebituuka ku bantu abali ku nsi entono ennyo bw’ogigeraageranya ne pulaneti endala?

BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Katonda teyatuwa buwi Bayibuli n’atuleka awo. Mu kifo ky’ekyo, atukakasa nti: “N[n]aakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.”Zabbuli 32:8.

Lowooza ku mukyala Omumisiri eyali ayitibwa Agali, eyaliwo mu kyasa ekya 20 ng’embala eno tennatandika. Agali yanyooma Salaayi, mukama we, n’ekyavaamu Salaayi yamujolonga n’addukira mu ddungu. Agali bwe yakola ensobi, Katonda yalekera awo okumufaako? Bayibuli egamba nti: ‘Malayika wa Mukama n’amusanga.’ Malayika oyo yagamba Agali nti: “Mukama awulidde okubonyabonyezebwa kwo.” Agali n’agamba Katonda nti: “Ggwe Katonda alaba.”Olubereberye 16:4-13.

Naawe Katonda alaba buli kimu ekikutuukako. Lowooza ku kyokulabirako kino: Maama afaayo nnyo ku baana be abato, kubanga omwana gy’akoma okuba omuto gy’akoma okwetaaga muzadde we okumufaako. Mu ngeri y’emu, Katonda atufaako naddala nga tufunye ebizibu oba nga tuli bennyamivu. Yakuwa agamba nti: “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw’abakkakkamu, n’okulamya omutima gw’abo ababoneredde.”Isaaya 57:15.

Naye oyinza okwebuuza nti: ‘Katonda akoma ku kulaba ebyo ebintuukako oba alaba n’ebyo ebiri mu mutima gwange n’amanyira ddala ekyo kye ndi?’