Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tendereza Kristo—Kabaka Ow’Ekitiibwa!

Tendereza Kristo—Kabaka Ow’Ekitiibwa!

“Mu bukulu bwo weebagale owangule.”Zab. 45:4.

1, 2. Lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo ku ebyo ebiri mu Zabbuli 45?

KABAKA ow’ekitiibwa yeebagala embalaasi asobole okulwanirira amazima n’obutuukirivu era awangule abalabe be. Oluvannyuma lw’okuwangula abalabe be, awasa omugole alabika obulungi. Kabaka oyo ajjukirwa era atenderezebwa emirembe n’emirembe. Ebyo bye bimu ku bintu ebyogerwako mu Zabbuli 45.

2 Ng’oggyeko okuba nti ebintu ebiri mu Zabbuli 45 bisanyusa, ebintu ebyo bikulu nnyo gye tuli kubanga bitukwatako leero era bikwata ne ku biseera byaffe eby’omu maaso. Kati ka twetegereze ebyo ebyogerwako mu Zabbuli 45.

‘OMUTIMA GWANGE GUJJUDDE MUSERA OLW’EKIGAMBO EKIRUNGI.’

3, 4. (a) “Ekigambo ekirungi” omuwandiisi wa Zabbuli kye yayogerako kye kiruwa, era kitukwatako kitya? (b) Bigambo ki ebikwata ku ‘kabaka’ bye tubuulira, era mu ngeri ki olulimi lwaffe gye luba ng’ekkalaamu y’omuwandiisi?

3 Soma Zabbuli 45:1. “Ekigambo ekirungi” ekyaleetera omutima gw’omuwandiisi wa Zabbuli ‘okujjula omusera’ kikwata ku kabaka. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “gujjudde musera” kisobola okutegeeza “okutokota,” oba “okwesera.” Ekigambo ekikwata ku kabaka kyabuguumiriza omutima gw’omuwandiisi wa zabbuli ne guba ng’ogwali gutokota oba ogwesera. Era ekigambo ekyo kyaleetera olulimi lwe okuba ‘ng’ekkalaamu y’omuwandiisi omwangu.’

4 Naffe ekigambo ekirungi, nga gano ge mawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Masiya, kibuguumiriza omutima gwaffe. Amawulire g’Obwakabaka gafuuka ekigambo “ekirungi” ennyo naddala mu 1914. Lwaki? Kubanga okuva mu mwaka ogwo amawulire ago gaali tegakyakwata ku Bwakabaka obwali bujja mu biseera eby’omu maaso, wabula gaali gakwata ku gavumenti eya ddala eyali etandise okufuga mu ggulu. Ago ge ‘mawulire amalungi ag’Obwakabaka’ ge tubuulira “mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna.” (Mat. 24:14) Amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuguumiriza omutima gwaffe? Tufuba okubuulira amawulire ago n’obunyiikivu? Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, ‘ebigambo byaffe bikwata ku kabaka.’ Kabaka oyo ye Yesu Kristo. Tubuulira abantu nti Yesu kati afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya. Tukubiriza abantu bonna nga mw’otwalidde n’abafuzi b’amawanga okukkiriza obufuzi bwa Kristo. (Zab. 2:1, 2, 4-12) Ate era olulimi lwaffe luba ‘ng’ekkalaamu y’omuwandiisi omwangu’ bwe tukozesa Ebyawandiikibwa nga tubuulira.

Okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kabaka waffe, Yesu Kristo, kitusanyusa nnyo

‘EBIGAMBO EBY’EKISA BIVA MU KAMWA KA KABAKA’

5. (a) Mu ngeri ki Yesu gye yali asinga abaana b’abantu “obulungi”? (b) Yesu yayoleka atya ekisa ng’abuulira, era tuyinza tutya okumukoppa?

5 Soma Zabbuli 45:2. Ebyawandiikibwa tebyogera bingi ku ngeri Yesu gye yali alabikamu. Naye olw’okuba yali atuukiridde, ateekwa okuba nga yali alabika ‘bulungi.’ Kyokka obulungi bwe okusingira ddala bwava ku kuba nti yali mwesigwa eri Yakuwa. Okugatta ku ekyo, Yesu yabuulira abantu ebikwata ku Bwakabaka mu ngeri ‘ey’ekisa’ ng’akozesa ebigambo ebirungi era ebituuka ku mitima gy’abantu. (Luk. 4:22; Yok. 7:46) Tufuba okukoppa Yesu nga tubuulira?Bak. 4:6.

6. Katonda yawa atya Yesu emikisa “emirembe gyonna”?

6 Olw’okuba Yesu yali mwesigwa eri Yakuwa era ng’amwagala nnyo, Yakuwa yamuwa emikisa mu buweereza bwe ku nsi era yamuwa n’emikisa oluvannyuma lw’okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Omutume Pawulo yawandiika nti: “[Yesu] bwe yeesanga ng’alinga omuntu, yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa, yee, okufiira ku muti ogw’okubonaabona. N’olw’ensonga eyo, Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna, buli vviivi ly’abo abali mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka lifukamire olw’erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatule mu lujjudde nti Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.” (Baf. 2:8-11) Yakuwa yawa Yesu emikisa “emirembe gyonna” ng’amuzuukiza mu bafu era n’amuwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa.Bar. 6:9.

KABAKA AGULUMIZIBWA OKUSINGA ‘BANNE’

7. Mu ngeri ki Yesu gye yafukibwako amafuta ‘ag’essanyu okusinga banne’?

7 Soma Zabbuli 45:6, 7Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo obutuukirivu era ng’akyawa ekintu kyonna ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Kitaawe, Yakuwa Katonda yamulonda okuba Kabaka mu Bwakabaka bwe. Yesu yafukibwako “amafuta ag’essanyu” okusinga ‘banne,’ nga bano be bakabaka ba Yuda abaali mu lunyiriri lwa Dawudi. Mu ngeri ki? Okusookera ddala, Yakuwa bwe yali amulonda, talina gwe yayitiramu. Eky’okubiri, Yakuwa yamulonda okuba Kabaka era Kabona Asinga Obukulu. (Zab. 2:2; Beb. 5:5, 6) Ate era Yesu bwe yali alondebwa teyafukibwako mafuta, wabula yafukibwako omwoyo omutukuvu. N’ekisembayo, Obwakabaka bwe si bwa mu nsi, wabula bwa mu ggulu.

8. Lwaki Yesu agwanidde okufuga nga Kabaka, era lwaki tuli bakakafu nti obufuzi bwe bwa butuukirivu?

8 Yakuwa yatuuza Omwana we ku ntebe y’Obwakabaka bwa Masiya mu ggulu mu 1914. “Omuggo” ogw’Obwakabaka bwa Yesu gwa ‘butuukirivu.’ Ekyo kiraga nti obufuzi bwe bwa butuukirivu era bwa bwenkanya. Yesu agwanidde okufuga nga Kabaka kubanga Yakuwa ye yamulonda okuba Kabaka. Ate era obufuzi bwa Yesu bwa kubaawo “emirembe gyonna.” Nga tulina enkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa nga tufugibwa Kabaka oyo gw’alonze!

KABAKA ‘YEESIBA EKITALA KYE’

9, 10. (a) Kristo yeesiba ddi ekitala kye, era yakikozesa atya? (b) Yesu anaakozesa atya ekitala kye mu biseera eby’omu maaso?

9 Soma Zabbuli 45:3. Yakuwa yagamba Kabaka Yesu ‘okwesiba ekitala kye mu kiwato,’ bw’atyo n’amuwa obuyinza okulwanyisa abo abawakanya obufuzi bwa Yakuwa era abazikirize. (Zab. 110:2) Kristo ayitibwa “ow’amaanyi” olw’okuba Mulwanyi era Kabaka atasobola kuwangulwa. Yesu yeesiba ekitala kye mu 1914 n’alwanyisa Sitaani ne badayimooni n’abagoba mu ggulu era n’abasuula ku nsi.Kub. 12:7-9.

10 Eyo yali ntandikwa butandikwa ey’obuwanguzi bwa Yesu. Yesu alina okugenda ng’awangula asobole “okumaliriza okuwangula kwe.” (Kub. 6:2) Yakuwa ayagala enteekateeka ya Sitaani yonna ezikirizibwe era Sitaani ne badayimooni nabo bazikirizibwe. Okusookera ddala Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba gajja kuzikirizibwa. Yakuwa ajja kukozesa abafuzi b’ensi okuzikiriza “malaaya” oyo. (Kub. 17:16, 17) Oluvannyuma lw’ekyo, Kristo ajja kuzikiriza enteekateeka ya Sitaani yonna ey’eby’obufuzi. N’ekinaddirira, Kristo, “malayika ow’obunnya,” ajja kumaliriza okuwangula kwe ng’asuula Sitaani ne badayimooni mu bunnya. (Kub. 9:1, 11; 20:1-3) Kati ka tulabe engeri Zabbuli 45 gy’eyogera ku bintu ebyo.

KABAKA YEEBAGALA EMBALAASI “OLW’AMAZIMA”

11. Kristo yeebagala atya embalaasi “olw’amazima”?

11 Soma Zabbuli 45:4. Kabaka Yesu Kristo talwana lutalo lwa kwagala kwefunira matwale oba okufuula abantu abaddu. Alina ensonga ennungi lwaki alwana olutalo. Bayibuli egamba nti yeebagala “olw’amazima n’obuwombeefu n’obutuukirivu.” Amazima agasingirayo ddala obukulu Yesu g’alwanirira geego agakwata ku ky’okuba nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Sitaani bwe yajeemera Yakuwa, yali ng’agamba nti Yakuwa si y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Okuva olwo wabaddewo bamalayika n’abantu bangi abasazeewo okujeemera Yakuwa. Kati ekiseera kituuse Kabaka, Katonda gwe yalonda, okulwana olutalo akirage nti Yakuwa yekka y’agwanidde okufuga obutonde bwonna.

12. Kabaka yeebagala atya embalaasi ‘olw’obuwombeefu’?

12 Kabaka era yeebagala embalaasi ‘olw’obuwombeefu.’ Yesu yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obuwombeefu ne mu kugondera Kitaawe. (Is. 50:4, 5; Yok. 5:19) Abo bonna abaagala okufugibwa Kabaka oyo balina okumukoppa nga baba bawombeefu era nga bakiraga nti bagondera Yakuwa ng’Omufuzi waabwe mu byonna bye bakola. Abo bokka abakola bwe batyo be bajja okuyingira mu nsi ya Katonda empya.Zek. 14:16, 17.

13. Kristo yeebagala atya embalaasi ‘olw’obutuukirivu’?

13 Kristo era yeebagala embalaasi ‘olw’obutuukirivu.’ Obutuukirivu Kristo bw’alwanirira bwe ‘butuukirivu bwa Katonda,’ kwe kugamba, emitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu. (Bar. 3:21; Ma. 32:4) Ng’ayogera ku Kabaka Yesu Kristo, nnabbi Isaaya yagamba nti: “Kabaka alifuga n’obutuukirivu.” (Is. 32:1) Obufuzi bwa Kristo bujja kuleeta ‘eggulu eriggya n’ensi empya obutuukirivu mwe bulibeera.’ (2 Peet. 3:13) Abantu bonna abanaaba mu nsi empya bajja kuba balina okukolera ku mitindo gya Yakuwa.Is. 11:1-5.

KABAKA AKOLA EBINTU “EBY’ENTIISA”

14. Omukono gwa Kristo ogwa ddyo gunaakola gutya ebintu “eby’entiisa”? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

14 Omuwandiisi wa Zabbuli alaga nti Kabaka yeebagadde embalaasi nga yeesibye ekitala. (Zab. 45:3) Asikayo ekitala ekyo n’omukono gwe ogwa ddyo n’atandika okukikozesa. Ng’ayogera ku Kabaka Yesu Kristo, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Omukono gwo ogwa ddyo [gulikola ebintu] eby’entiisa.” (Zab. 45:4) Yesu bw’aneebagala embalaasi okuzikiriza ensi ya Sitaani ku Kalumagedoni, ajja kukola ebintu “eby’entiisa” ku balabe be. Kyokka tetumanyi ngeri Yesu gy’anaazikirizaamu nteekateeka ya Sitaani. Naye kye tumanyi kiri nti ekyo kyonna Yesu ky’anaakola kijja kutiisa nnyo abo bonna abagaanye okukolera ku kulabula Katonda kw’abawa era abagaanye okukkiriza Yesu Kristo okuba Kabaka waabwe. (Soma Zabbuli 2:11, 12.) Ng’ayogera ku bintu ebyandibaddewo ku nkomerero, Yesu yagamba nti: “Abantu balizirika olw’okutya n’okweraliikirira ebintu ebigenda okutuuka ku nsi etuuliddwamu, kubanga amaanyi ag’omu ggulu galinyeenyezebwa. Awo baliraba Omwana w’omuntu ng’ajjira mu bire n’amaanyi n’ekitiibwa kingi.”Luk. 21:26, 27.

15, 16. Baani abanaabeera mu “ggye” erinaagoberera Kristo ng’alwana olutalo?

15 Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti kabaka bw’anaaba ajja okuzikiriza abalabe ba Katonda, ajja kujja “n’amaanyi n’ekitiibwa kingi.” Kigamba nti: “Ne ndaba eggulu nga libikkuddwa, era laba! embalaasi enjeru. Era oyo eyali agyebaggaddeko ayitibwa Mwesigwa era wa Mazima, era asala emisango mu butuukirivu era alwana olutalo mu butuukirivu. Era eggye ery’omu ggulu lyali limugoberera nga lyebagadde embalaasi enjeru era nga lyambadde engoye enjeru, eziweweera, era ennyonjo. Mu kamwa ke mwali muvaamu ekitala ekiwanvu era ekyogi, alyoke akitemese amawanga era aligalunda n’omuggo ogw’ekyuma. Era alinnyirira essogolero ly’omwenge gw’obusungu obungi obwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.”Kub. 19:11, 14, 15.

16 Baani abanaabeera mu “ggye” ery’omu ggulu erinaagoberera Kristo ng’alwana olutalo? Yesu bwe yeesiba ekitala kye okugoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu, yali ne “bamalayika be.” (Kub. 12:7-9) N’olwekyo kyeyoleka lwatu nti ku Kalumagedoni, eggye lya Kristo lijja kubaamu bamalayika abatukuvu. Naye waliwo abalala abanaabeera mu ggye eryo? Yesu yagamba baganda be abaafukibwako amafuta nti: “Oyo awangula n’anywerera ku bikolwa byange okutuukira ddala ku nkomerero, ndimuwa obuyinza ku mawanga, nga nange bwe nnabufuna okuva eri Kitange, era alirunda abantu n’omuggo ogw’ekyuma baatikeyatike ng’ebibya eby’ebbumba.” (Kub. 2:26, 27) N’olwekyo, eggye lya Kristo eryo lijja kubaamu ne baganda be abaafukibwako amafuta, mu kiseera ekyo abajja okuba nga bamaze okufuna empeera yaabwe mu ggulu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kubeera wamu ne Kristo ng’akola ebintu “eby’entiisa” bw’anaaba azikiriza amawanga n’omuggo ogw’ekyuma.

KABAKA AMALIRIZA OKUWANGULA KWE

17. (a) Embalaasi enjeru Kristo kw’atudde ekiikirira ki? (b) Ekitala n’omutego bikiikirira ki?

17 Soma Zabbuli 45:5. Okubikkulirwa 6:2 wagamba nti: “Ne ndaba era laba! embalaasi enjeru; era eyali agituddeko yalina omutego gw’akasaale; n’aweebwa engule, n’agenda ng’awangula asobole okumaliriza okuwangula kwe.” Embalaasi enjeru Kabaka kw’atudde ekiikirira olutalo olw’obutuukirivu mu maaso ga Yakuwa. (Kub. 19:11) Ng’oggyeko okuba nti Kabaka alina ekitala, alina n’omutego. Ekitala n’omutego bikiikirira ebintu Kristo by’anaakozesa okuzikiriza abalabe be.

Ebinyonyi bijja kukozesebwa mu kulongoosa ensi (Laba akatundu 18)

18. Mu ngeri ki “obusaale” bwa Kristo gye bujja okuba ‘obwogi’?

18 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti ‘obusaale bwa Kabaka bwogi,’ era nti bufumita mu ‘mitima gy’abalabe ba Kabaka’ ne ‘buleetera amawanga okugwa mu maaso ge.’ Ekyo kiraga nti okuzikiriza okunaabaawo kujja kuba ku kigero kya nsi yonna. Nnabbi Yeremiya yagamba nti: “Abo Mukama b’alitta baliva ku nkomerero y’ensi balituuka ku nkomerero yaayo.” (Yer. 25:33) Obunnabbi obulala obwogera ku kuzikiriza okwo bugamba nti: “Era ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba, n’akowoola n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga nti: ‘Mujje wano, mukuŋŋaane wamu ku kijjulo kya Katonda ekinene, mulye ennyama ya bakabaka, n’ey’abaduumizi b’amagye, n’ey’abasajja ab’amaanyi, n’ey’embalaasi, n’ey’abo abazeebagaddeko, n’ennyama y’abo bonna ab’eddembe, abaddu, abato n’abakulu.’”Kub. 19:17, 18.

19. Kristo anaamaliriza atya ‘okuwangula’ kwe?

19 Oluvannyuma lw’okuzikiriza ensi ya Sitaani, Kabaka ow’ekitiibwa Yesu Kristo ajja kumaliriza ‘okuwangula’ kwe. (Zab. 45:4) Ajja kumaliriza okuwangula kwe ng’asuula Sitaani ne badayimooni mu bunnya. Sitaani ne badayimooni bajja kubeera eyo okumala ekiseera kyonna eky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. (Kub. 20:2, 3) Mu kiseera ekyo, Omulyolyomi ne bamalayika be bajja kuba ng’abafudde, nga tebakyalina kabi konna ke basobola kukola ku bantu, era abantu bonna bajja kuba basobola bulungi okugondera Kabaka waabwe omuwanguzi era ow’ekitiibwa. Naye ensi yonna bw’eneeba tennafuulibwa lusuku lwa Katonda, waliwo ekintu ekirala ekijja okuleetera abantu okusanyukira awamu ne Kabaka waabwe awamu n’abo abanaafugira awamu naye. Ekintu ekyo kijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.