Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddala Katonda Akufaako

Ddala Katonda Akufaako

Ddala Katonda Akufaako

KYA mu butonde okusaba Katonda okutuyamba nga tuli mu mbeera enzibu. Tumusaba olw’okuba ‘mukulu, era alina obuyinza bungi n’okutegeera okutaliiko kkomo.’ (Zabbuli 147:5, NW) Ye yekka asobola okutuyamba okuvvuunuka ebizibu byaffe byonna. Okugatta ku ekyo, Baibuli etukubiriza ‘okumutegeeza byonna ebituli ku mutima.’ (Zabbuli 62:8) Kati olwo lwaki abantu bangi bagamba nti Katonda taddamu ssaala zaabwe? Ekyo kiba kitegeeza nti tafaayo?

Mu kifo ky’okwanguyiriza okunenya Katonda nti talina ky’akolawo, lowooza ku kiseera bwe wali ng’okyali mwana muto. Bazadde bo bwe bataakuweerangawo buli ky’osabye, wakitwalanga nti tebakwagala? Abaana bangi balowooza bwe batyo. Kyokka bwe wakula, wakitegeera nti okwagala kulagibwa mu ngeri nnyingi era n’okuwa omwana buli ky’aba asabye tekiba kikolwa kya kwagala.

Mu ngeri y’emu, singa Yakuwa taddamu ssaala zaffe nga bwe tuba tusuubira, kiba tekitegeeza nti tatufaako. Amazima gali nti, Katonda ffenna atufaako mu ngeri nnyingi.

“Mu Oyo Tuba Balamu”

Engeri esooka eri nti ‘mu ye tuba balamu, tutambula, era tubeerawo.’ (Ebikolwa 17:28) Eky’okutuwa obulamu bukakafu ddala obulaga nti atufaako!

Engeri endala eri nti, Yakuwa atuwa bye twetaaga okusobola okuba abalamu. Tusoma bwe tuti: “Amereza ente essubi, n’omuddo okuweereza abantu; balyoke baggyenga emmere mu ttaka.” (Zabbuli 104:14) Mu butuufu, Omutonzi waffe takoma ku kutuwa ebyo byokka bye twetaaga mu bulamu naye era ‘atutonnyeseza n’enkuba okuva mu ggulu, n’atuwa n’ebiro eby’okubalirangamu emmere, era n’ajjuza emitima gyaffe essanyu.’​—Ebikolwa 14:17.

Wadde kiri kityo, abamu bayinza okwebuuza, ‘Singa ddala Katonda atwagala, lwaki atuleka ne tubonaabona?’ Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo okimanyi?

Katonda y’Avunaanyizibwa?

Okubonaabona okusinga obungi abantu be bakwereetako. Ng’ekyokulabirako, akabi akava mu bikolwa ebimu kamanyiddwa bulungi. Wadde kiri kityo, abantu beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, beekamirira omwenge, banywa enjaga ne sigala, beenyigira mu mizannyo egiteeka obulamu bwabwe mu kabi, bavuga endiima, n’ebirala. Singa emize ng’egyo egy’akabi gibaviiramu okubonaabona, ani avunaanyizibwa? Katonda oba oyo eyeeyisizza mu ngeri etali ya magezi? Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa kigamba bwe kiti: “Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula.”​—Abaggalatiya 6:7.

Ng’oggyeko ekyo, abantu batera okulumya bannaabwe. Eggwanga bwe lirumba eddala, kya lwatu Katonda si y’avunaanyizibwa olw’okubonaabona okuvaamu. Omumenyi w’amateeka bw’atulugunya mutuuze munne, Katonda y’aba avunaanyizibwa singa omutuuze oyo atuusibwako ebisago oba singa afa? Kya lwatu si bwe kiri! Nnaakyemalira bw’abonyaabonya, bw’atulugunya, oba n’atemula abo b’afuga, twandivunaanye Katonda? Ekyo tekiba kya magezi.​—Omubuulizi 8:9.

Ate obukadde n’obukadde bw’abantu abaavu lunkupe oba abalumwa enjala? Katonda y’avunaanyizibwa? Nedda. Ensi yaffe ebala emmere emala okuliisa abantu bonna. (Zabbuli 10:2, 3; 145:16) Naye ekiviiriddeko enjala n’obwavu mu nsi kwe kuba nti emmere Katonda gye yatuwa mu bungi tegabanyizibwa mu ngeri ya bwenkanya. Era n’abantu okwerowoozaako bokka kye kiremesezza ekizibu ekyo okugonjoolebwa.

Ensibuko Yennyini

Naye ani avunaanyizibwa singa omuntu alwala oba singa afa olw’obukadde? Kyandikwewuunyisizza okukimanya nti Katonda si y’avunaanyizibwa olw’ebyo? Katonda teyatonda muntu kukaddiwa oba kufa.

Abafumbo ababiri abaasooka Adamu ne Kaawa bwe baatekebwa mu lusuku Adeni, Yakuwa yabawa essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna. Naye, yali ayagala ensi ebeeremu abantu abasiima ekyo kye yali abawadde. N’olwekyo, essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo lyaliko akakwakulizo. Adamu ne Kaawa bandyeyongedde okubeera mu Lusuku lwa Katonda bwe bandigondedde Omutonzi waabwe omwagazi.​—Olubereberye 2:17; 3:2, 3, 17-23.

Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baajeema. Kaawa yasalawo okuwuliriza Setaani Omulyolyomi. Yamulimba nti Katonda yalina ekirungi kye yali amukwese. Bwe kityo yeewaggula n’agezaako okuba ‘nga Katonda, ng’amanyi ekirungi n’ekibi.’ Adamu yamwegattako mu bujeemu buno.​— Olubereberye 3:5, 6

Adamu ne Kaawa bwe baajeema, baalaga nti tebagwanidde kuba balamu mirembe gyonna. Baatuukibwako ebyava mu kibi ekyo. Amaanyi gaabwe gaaseebengerera era n’ekyavaamu ne bafa. (Olubereberye 5:5) Ebyava mu bujeemu obwo tebyakoma awo. Tukyabonaabona olw’ebyo ebyava mu kibi kya Adamu ne Kaawa. Omutume Pawulo yawandiika: “Ku bw’omuntu omu [Adamu] ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Yee, olw’okuba Adamu ne Kaawa baajeema, ekibi n’okufa byasaasaana ku lulyo lw’abantu lwonna.

Obujulizi Obusingayo Okulaga nti Katonda Afaayo

Ekyo kyali kitegeeza nti abantu ba Katonda baali tebakyayinza kuyambibwa? Baali bakyasobola okuyambibwa. Era ekyo kitutuusa ku bujulizi obusingayo okulaga nti Katonda atufaako. Mu kwefiiriza okw’amaanyi, Katonda yakola enteekateeka ey’okununula abantu okuva mu kibi n’okufa. Obulamu bwa Yesu obutuukiridde bwaweebwayo kyeyagalire tusobole okununulibwa. (Abaruumi 3:24) N’olw’ensonga eyo omutume Yokaana yawandiika: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Olw’ekikolwa kino eky’okwagala okungi, twaddamu okufuna essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna. Bw’ati Pawulo bwe yawandiikira Abaruumi: “Bwe kityo ng’olw’okwonoona kw’omu omusango bwe gwasinga abantu bonna, bwe kityo n’olw’obutuukirivu bw’omu ekirabo kyali ku bantu bonna.”​—Abaruumi 5:18.

Tuyinza okuba abakakafu nti mu kiseera kya Katonda ekigereke, wajja kuba tewakyaliwo kubonaabona kwonna oba okufa ku Nsi yaffe. Wabula, embeera zijja kuba nga bwe zaalagulwa mu kitabo kya Okubikkulirwa: “Laba, eweema ya Katonda awamu n’abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.” (Okubikkulirwa 21:3, 4) Oyinza okugamba nti ‘Sijja kuba mulamu ebyo we biribeererawo?’ Kyokka, tomanya oyinza okuba ng’okyali mulamu. Naye ne bw’oliba ng’ofudde, Katonda asobola okukuzuukiza okuva mu bafu. (Yokaana 5:28, 29) Ekyo Katonda ky’atutegekedde, era kye kijja okubaawo. Nga kiba kya bulimba nnyo okugamba nti Katonda tafaayo ku lulyo lw’omuntu!

‘Semberera Katonda’

Nga kibudaabuda nnyo okumanya nti Katonda yatandika dda okukola enteekateeka ey’okugonjoolera ddala ebizibu by’abantu. Ate olwo kiri kitya kati? Kiki kye tuyinza okukola singa tufiirwa omwagalwa waffe oba singa tulwaza omwana? Tukijjukire nti ekiseera tekinnatuuka Katonda okuggyawo obulwadde n’okufa. Baibuli eraga nti ekyabulayo ekiseera kitono ensonga ezo okukolebwako. Naye Katonda tatulekeredde. Omuyigirizwa Yakobo yagamba: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga.” (Yakobo 4:8) Yee, Omutonzi waffe ayagala tufune enkolagana ey’oku lusegere naye, era abo abakola bwe batyo muli bawulira nti abafaako ne bwe baba n’ebizibu eby’amaanyi ennyo.

Naye, tusemberera tutya Katonda? Kabaka Dawudi yabuuza ekibuuzo kye kimu emyaka ng’enkumi ssatu egiyise, ng’agamba: “Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani?” (Zabbuli 15:1) Dawudi yeddamu ekibuuzo kye bw’ati: “Oyo atambulira mu bugolokofu era akola obutuukirivu, era ayogera eby’amazima mu mutima gwe. Atawaayiriza n’olulimi lwe, so mukwano gwe tamukola bubi.” (Zabbuli 15:2, 3) Mu butuufu, Yakuwa ayaniriza oyo yenna eyandyagadde okukwata ekkubo Adamu ne Kaawa lye baasuula omuguluka. Asemberera oyo yenna akola by’ayagala.​—Ekyamateeka 6:24, 25; 1 Yokaana 5:3.

Tuyinza tutya okukola Katonda by’ayagala? Twetaaga okuyiga ‘ekirungi, ekikkirizibwa mu maaso g’Omulokozi waffe Katonda.’ (1 Timoseewo 2:3) Ekyo kizingiramu okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Kigambo kya Katonda, Baibuli. (Yokaana 17:3; 2 Timoseewo 3:16, 17) Kisingawo ku kusoma obusomi Baibuli. Tuteekwa okukoppa Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka abaaberanga mu Beroya abaawuliriza ebyo Pawulo bye yali abuulira. Yabawandiikako bw’ati: “Bakkiriza ekigambo n’omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.”​—Ebikolwa 17:11.

Mu ngeri y’emu leero, okwekenneenya ebiri mu Baibuli kunyweza okukkiriza kwaffe era ne kutuleetera okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. (Abaebbulaniya 11:6) Ate era kituyamba n’okutegeera nti engeri Yakuwa gy’akolaganamu n’abo ab’emitima emyesigwa, tebaganyula kumala kaseera katono, naye emirembe gyonna.

Weetegereze abamu ku Bakristaayo abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda kye bagamba. Danielle ow’emyaka 16 agamba: “Yakuwa mwagala nnyo, era mwebaza olw’ebintu ebingi by’ankoledde. Yampa abazadde abanjagala, era abaagalira ddala Katonda era banjigirizza ng’Ekigambo kye bwe kigamba.” Omukristaayo abeera mu Uruguay yawandiika bw’ati: “Bwe ndowooza ku kisa kya Yakuwa ekitatusaanira era n’omukwano gwalina, omutima gwange gubuguumirira era ne kindeetera okumusiima.” Katonda ayaniriza n’abato. Gabriela ow’emyaka omusanvu agamba: “Katonda mwagala okusinga ekintu kyonna ekiri mu nsi! Nnina Baibuli eyange ku bwange. Njagala nnyo okuyiga ebikwata ku Katonda n’Omwana we.”

Leero, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi bakkiriziganya n’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba: “Kirungi nze nsemberere Katonda.” (Zabbuli 73:28) Bayambiddwa okugonjoola ebizibu bye boolekagana nabyo kati, era balina essuubi ekkakafu nti bajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. (1 Timoseewo 4:8) Lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo ‘okusemberera Katonda’? Tukakasibwa bwe tuti nti: “Tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Yee, ddala Katonda akufaako!

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

Engeri Yakuwa gy’atufaako yeeyolekera mu ngeri nnyingi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

N’abaana abato basobola okusemberera Katonda

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Leero, Yakuwa atuyamba okugumiikiriza. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuggyawo obulwadde n’okufa