Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mugonjoole Obutakkaanya mu Ngeri ey’Okwagala

Mugonjoole Obutakkaanya mu Ngeri ey’Okwagala

“Mube n’emirembe buli omu ne munne.”​—MAK. 9:50.

ENNYIMBA: 39, 77

1, 2. Bantu ki aboogerwako mu Olubereberye abaafuna obutakkaanya oba abaalina obukuubagano, era lwaki kikulu okusoma ebibakwatako?

BANTU ki aboogerwako mu Bayibuli abaafuna obutakkaanya oba abaalina obukuubagano b’oyinza okulowoozaako? Lowooza ku bamu ku abo aboogerwako mu kitabo ky’Olubereberye. Kayini yatta Abbeeri (Lub. 4:3-8); Lameka yatta omuvubuka olw’okuba yali amukubye (Lub. 4:23); abalunzi b’ebisolo bya Ibulayimu (Ibulaamu) baayomba n’abalunzi b’ebisolo bya Lutti (Lub. 13:5-7); Agali yatandika okunyooma Saala (Salaayi), ne kiviirako Saala okuvunaana Ibulayimu (Lub. 16:3-6); Isimayiri yali takwatagana na buli muntu era buli muntu yali takwatagana naye.​—Lub. 16:12.

2 Lwaki Bayibuli eyogera ku bukuubagano obwaliwo wakati w’abantu abatali bamu? Emu ku nsonga eri nti kituyamba okumanya ensonga lwaki tulina okukuuma emirembe. Era kituyamba okumanya engeri gye tuyinza okukuumamu emirembe. Okusoma ku ngeri abantu aboogerwako mu Bayibuli gye baayolekaganamu n’okusoomooza okutali kumu kituganyula nnyo. Bwe tusoma ku ebyo ebyava mu ebyo bye baakola kisobola okutuyamba okulaba kye tusaanidde okukola oba kye tusaanidde okwewala nga twolekaganye n’embeera efaananako n’eyaabwe.​—Bar. 15:4.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Ekitundu kino kijja kulaga ensonga lwaki abaweereza ba Yakuwa basaanidde okugonjoola obutakkaanya era n’engeri gye bayinza okubugonjoolamu. Ate era kijja kulaga emisingi egitali gimu egiyinza okutuyamba okugonjoola obutakkaanya kituyambe okubeera n’enkolagana ennungi ne bantu bannaffe era ne Yakuwa Katonda.

ENSONGA LWAKI ABAWEEREZA BA YAKUWA BASAANIDDE OKUGONJOOLA OBUTAKKAANYA

4. Ndowooza ki ebunye mu nsi yonna, era biki ebivuddemu?

4 Sitaani ye nsibuko y’enjawukana zonna n’obukuubagano ebiriwo mu nsi. Mu Edeni, Sitaani yagamba nti buli muntu asobola era asaanidde okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu nga tagoberedde bulagirizi bwa Katonda. (Lub. 3:1-5) Naye endowooza ng’eyo tevuddeemu kalungi n’akamu. Ensi ejjudde abantu abalina omwoyo gwa kyetwala ogubaviirako okubeera ab’amalala, okwetwala nti ba kitalo, n’okuvuganya. Omuntu yenna akkiriza okutwalirizibwa omwoyo ogwo aba akkiriziganya n’ekyo Sitaani kye yayogera bwe yalaga nti kya magezi omuntu okukola kyonna ky’ayagala nga tafuddeeyo ku ngeri gye kiyinza okukwata ku balala. Endowooza ng’eyo eviirako abantu okukola ebintu ebireetawo obukuubagano. Tusaanidde okukijjukira nti “omuntu ow’obusungu asaanuula ennyombo; era omuntu ow’ekiruyi akola ebibi bingi.”​—Nge. 29:22.

5. Magezi ki Yesu ge yawa agayamba mu kugonjoola obutakkaanya?

5 Kyokka ye Yesu yakubiriza abantu okunoonya emirembe, ne bwe kiba nti okukola ekyo kiyinza okubeetaagisa okubaako kye beefiiriza. Mu kuyigiriza kwe okw’oku Lusozi, Yesu yawa amagezi amalungi agasobola okuyamba abantu okugonjoola obutategeeragana. Ng’ekyokulabirako, yakubiriza abayigirizwa be okubeera abateefu, okufuba okuleetawo emirembe, okwewala ebintu ebireetera abalala okusunguwala, okugonjoola amangu obutakkaanya, n’okwagala abalabe baabwe.​—Mat. 5:5, 9, 22, 25, 44.

6, 7. (a) Lwaki kikulu okugonjoola obutakkaanya mu bwangu? (b) Bibuuzo ki buli muweereza wa Yakuwa by’alina okwebuuza?

6 Ebyo bye tukola nga tuweereza Katonda, gamba ng’okusaba, okubeerawo mu nkuŋŋaana, okubuulira, n’ebirala, tebisobola kusanyusa Katonda singa tetuba beetegefu kubeera mu mirembe n’abalala. (Mak. 11:25) Singa tetuba beetegefu kusonyiwa balala, tetusobola kuba mikwano gya Katonda.​—Soma Lukka 11:4; Abeefeso 4:32.

7 Ensonga eno ekwata ku kusonyiwa abalala n’okubeera mu mirembe n’abalala, buli Mukristaayo asaanidde okugirowoozaako ennyo. Osonyiwa bakkiriza banno? Kikusanyusa okubeerako awamu nabo? Yakuwa ayagala abaweereza be okusonyiwagana. Bw’okizuula nti waliwo we weetaaga okulongoosaamu mu nsonga eyo, saba Yakuwa akuyambe osobole okulongoosaamu! Kitaffe ow’omu ggulu awulira essaala ng’ezo era aziddamu.​—1 Yok. 5:14, 15.

ENSOBI OSOBOLA OKUGIBUUSA AMAASO?

8, 9. Kiki kye twandikoze singa omuntu atunyiiza?

8 Okuva bwe kiri nti ffenna tetutuukiridde, tusaanidde okusuubira nti ekiseera kyonna wajja kubaawo omuntu ayogera oba akola ekintu ekitunyiiza. Ekyo tetusobola kukyewala. (Mub. 7:20; Mat. 18:7) Singa ekyo kibaawo, oneeyisa otya? Lowooza ku mbeera eno eyaliwo: Ku kabaga akamu akaaliko Abajulirwa ba Yakuwa, mwannyinaffe omu yabuuza ab’oluganda babiri mu ngeri omu ku b’oluganda abo gye yalaba nti yali tesaana. Ab’oluganda abo ababiri bwe baali bokka, ow’oluganda eyayisibwa obubi yatandika okwemulugunya ku ngeri mwannyinaffe oyo gye yali ababuuzizzaamu. Kyokka ow’oluganda omulala yamujjukiza nti mwannyinaffe oyo yali aweerezza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka 40 mu mbeera enzibu; era nti mwannyinaffe oyo okubabuuza bw’atyo, teyalina bigendererwa bikyamu. Oluvannyuma lw’okulowooza ku nsonga eyo, ow’oluganda eyali ayisiddwa obubi yagamba ow’oluganda oyo nti, “Oli mutuufu.” Era ensonga eyo yakoma awo.

9 Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako ekyo? Kiri eri ggwe okusalawo engeri gy’oneeyisaamu nga waliwo embeera eyinza okuvaako obukuubagano. Omuntu ayagala bantu banne, abuusa amaaso ensobi zaabwe entonotono. (Soma Engero 10:12; 1 Peetero 4:8.) ‘Bw’obuusa amaaso ensobi kikulungiya’ mu maaso ga Yakuwa. (Nge. 19:11; Mub. 7:9) N’olwekyo, singa omuntu akola ekintu ekikunyiiza oba ekikuleetera okuwulira nti takuwadde kitiibwa, sooka weebuuze: ‘Nsobola okukibuusa amaaso? Naye ddala kinneetaagisa okukuliriza ekintu kino?’

10. (a) Mwannyinaffe omu mu kusooka yawulira atya nga bamwogeddeko bubi? (b) Kyawandiikibwa ki ekyamuyamba okubuusa amaaso ensobi z’abalala?

10 Abalala bwe batwogerako obubi, kiyinza obutatwanguyira kukibuusa maaso. Lowooza ku mwannyinaffe aweereza nga payoniya gwe tujja okuyita Lucy. Waliwo abaamwogerako obubi ku ngeri gy’atuukirizaamu obuweereza bwe n’engeri gy’akozesaamu ebiseera bye. Ekyo Lucy kyamuyisa bubi era n’atuukirira ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo n’abategeeza ku nsonga eyo. Agamba nti: “Amagezi ge bampa okuva mu Bayibuli gannyamba okutunuulira endowooza z’abalala mu ngeri entuufu n’okukijjukira nti engeri Yakuwa gy’antunuuliramu y’esinga obukulu.” Lucy yaddamu amaanyi bwe yasoma Matayo 6:1-4. (Soma.) Ekyawandiikibwa ekyo kyamuyamba okukijjukira nti okusanyusa Yakuwa kye kirina okuba ekiruubirirwa kye. Lucy agamba nti: “Abalala ne bwe boogera obubi ku buweereza bwange, nsigala ndi musanyufu kubanga nkimanyi nti nkola kyonna ekisoboka okusanyusa Yakuwa.” Oluvannyuma lw’okulowooza ku nsonga ezo, Lucy yasalawo okubuusa amaaso ebyo bye baali bamwogeddeko.

BW’OBA NGA TOSOBOLA KUBUUSA MAASO NSOBI

11, 12. (a) Kiki Omukristaayo ky’asaanidde okukola singa alowooza nti muganda we ‘alina kyamwemulugunyaako’? (b) Kiki kye tuyigira ku ngeri Ibulayimu gye yagonjoolamu ekizibu ekyali kizzeewo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

11 “Emirundi mingi ffenna tusobya.” (Yak. 3:2) Watya singa okitegeerako nti waliwo ekintu kye wakoze oba kye wayogedde ekyanyiizizza mukkiriza munno. Kiki ky’osaanidde okukola? Yesu yagamba nti: “Bw’oba otutte ekirabo kyo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, ekirabo kyo kireke mu maaso g’ekyoto osooke ogende otabagane ne muganda wo, n’oluvannyuma oddeyo oweeyo ekirabo kyo.” (Mat. 5:23, 24) Nga Yesu bwe yagamba, yogerako ne muganda wo. Kiruubirirwa ki ky’osaanidde okuba nakyo? Tosaanidde kuba na kiruubirirwa kya kubaako ngeri gy’onenya mukkiriza munno, wabula osaanidde okukkiriza ensobi yo osobole okutabagana ne muganda wo. Kikulu nnyo okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe.

12 Ekimu ku byokulabirako ebiri mu Bayibuli ekiraga engeri abamu ku baweereza ba Katonda gye baagonjoolamu obutategeeragana ky’ekyo ekikwata ku Ibulayimu ne Lutti omwana wa muganda we. Abasajja abo bombi baalina ebisolo bingi era kirabika abalunzi b’ebisolo byabwe baatandika okuyombera ebifo mwe baali baliisiza ebisolo ebyo. Olw’okuba yali ayagala okukuuma emirembe, Ibulayimu yagamba Lutti asooke alondeko ekifo ye n’ab’ennyumba ye we bandyagadde okubeera. (Lub. 13:1, 2, 5-9) Nga Ibulayimu yateekawo ekyokulabirako ekirungi! Ibulayimu yanoonya emirembe, so si ebyo ye bye yali ayagala. Ekyo kyamufiiriza? Nedda. Oluvannyuma lwa Ibulayimu okugonjoola obuzibu obwaliwo wakati we ne Lutti, Yakuwa yamusuubiza emikisa egy’ekitalo. (Lub. 13:14-17) Abaweereza ba Katonda abafuba okukolera ku misingi gye nga bagonjoola obutategeeragana, Katonda tasobola kubeerabira era abawa emikisa. [1]

13. Omulabirizi omu yeeyisa atya ng’ow’oluganda amuzzeemu bubi, era ekyo kituyigiriza ki?

13 Kati ate lowooza ku kyokulabirako kino ekyaliwo mu kiseera kyaffe. Ow’oluganda eyali yaakalondebwa okuba omulabirizi w’ekitongole ekimu ku lukuŋŋaana olunene bwe yakubira ow’oluganda omulala essimu ng’amubuuza obanga yali mwetegefu okukola nga nnakyewa, ow’oluganda oyo yamuddamu bubi era n’aggyako essimu nga bakyayogera. Ow’oluganda oyo yali musunguwavu olw’engeri ow’oluganda eyali omulabirizi w’ekitongole ekyo mu kusooka gye yamuyisaamu. Omulabirizi w’ekitongole omupya teyanyiigira muganda we oyo olw’okwogera naye obubi, naye ate era teyabuusa nsonga eyo maaso. Oluvannyuma lw’essaawa emu, omulabirizi oyo yaddamu okukubira ow’oluganda oyo essimu n’amugamba nti yali takolangako naye, era n’amusaba basisinkane batereeze ensonga. Nga wayiseewo wiiki emu, ab’oluganda abo bombi baasisinkana ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Oluvannyuma lw’okusaba, baayogera okumala essaawa nnamba, ow’oluganda n’abuulira omulabirizi ekyali kimuviiriddeko okusunguwala. Oluvannyuma lw’okumuwuliriza obulungi, omulabirizi yakubaganya naye ebirowoozo ku Byawandiikibwa, era baavaawo nga bamaze okugonjoola ensonga eyo. Oluvannyuma ow’oluganda oyo yakkiriza okukola nga nnakyewa ku lukuŋŋaana olunene era yeebaza nnyo omulabirizi oyo olw’okukwata ensonga mu ngeri ey’obukkakkamu era ey’ekisa.

WEETAGA OKUYINGIZAAMU ABAKADDE?

14, 15. (a) Ddi lwe tusaanidde okukolera ku magezi agali mu Matayo 18:15-17? (b) Mitendera ki esatu Yesu gye yayogerako, era tusaanidde kuba na kigendererwa ki nga tugigoberera?

14 Obutakkaanya obusinga obungi busaanidde era busobola okugonjoolwa abantu ababiri abazingirwamu. Kyokka Yesu yakiraga nti oluusi kiyinza okwetaagisa ekibiina okuyingira mu nsonga. (Soma Matayo 18:15-17.) Kiki ekibaawo singa oyo akoze ensobi agaana okuwuliriza muganda we, abajulizi, n’ekibiina? Asaanidde okutwalibwa “nga munnaggwanga oba omusolooza w’omusolo.” Mu ngeri endala, asaanidde okugobebwa mu kibiina. Okuba nti omuntu oyo atuuka n’okugobebwa mu kibiina kiraga nti ekibi ekyo si kitono. Kiteekwa okuba nga (1) kibi abantu ababiri abazingirwamu kye basobola okutuula ne bakyogerako ne bagonjoola ensonga, ate era (2) kiteekwa okuba nga kya maanyi ne kiba nti singa ensonga ziba tezigonjoddwa, kiviirako omuntu okugobebwa. Emitendera essatu Yesu gye yayogerako girina kugobererwa mu mbeera ezo zokka ng’ekibi kizingiramu ebintu ebyo ebibiri ebimenyeddwa. Ekibi ekyo kiyinza okuzingiramu ebintu nga okukumpanya abalala oba okubakonjera ebigambo ebyonoona erinnya lyabwe. Ekibi ekyo tekizingiramu bintu ng’obwenzi, okulya ebisiyaga, obwakyewaggula, okusinza ebifaananyi, n’ebibi ebirala eby’amaanyi ebyetaagisa okutegeeza abakadde mu kibiina.

Kiyinza okukwetaagisa okwogerako ne mukkiriza munno enfunda eziwerako okusobola okumuzza mu kkubo ettuufu (Laba akatundu 15)

15 Yesu yatuwa amagezi ago okutulaga engeri y’okuyambamu bakkiriza bannaffe mu ngeri ey’okwagala. (Mat. 18:12-14) Okusookera ddala, Omukristaayo alina okufuba okugonjoola obutategeeragana bw’alina ne mukkiriza munne nga tayingizzaamu balala. Kiyinza okwetaagisa okwogerako n’oyo ali mu nsobi enfunda eziwerako. Ekyo bwe kigaana, yogerako naye nga waliwo abalala abasobola okuwa obujulizi ku kibi ekyo oba abo abayinza okubayamba okuzuula obanga ddala ekibi ekyo kyakolebwa. Bwe bakuyamba okugonjoola ensonga eyo, oba “okomezzaawo muganda wo mu kkubo ettuufu.” Ensonga esaanidde okutwalibwa mu bakadde ng’osoose kugezaako enfunda eziwerako okuyamba oyo ali mu nsobi.

16. Lwaki kya muganyulo nnyo okugoberera emitendera Yesu gye yayogerako?

16 Embeera ezeetaagisa ab’oluganda okuyita mu mitendera egyo esatu egyogerwako mu Matayo 18:15-17 tezitera kubaawo. Ekyo kizzaamu amaanyi kubanga kiraga nti ensonga zitera okugonjoolwa nga tezinnatuuka ku kigero ekiyinza okwetaagisa oyo ateenenya okugobebwa mu kibiina. Emirundi mingi oyo abeera mu nsobi alaba ensobi ye n’abaako ky’akolawo okutereeza ensonga. Oyo eyayisibwa obubi ayinza okukiraba nti tekikyamwetaagisa kutwala nsonga eyo mu maaso era n’asalawo okusonyiwa muganda we. Ebigambo bya Yesu biraga nti obutategeeragana bwe tuba ne bakkiriza bannaffe tetusaanidde kwanguwa kubuyingizaamu kibiina. Abakadde tebasaanidde kuyingira mu nsonga okuggyako ng’abantu ababiri abazingirwamu bamaze okuyita mu mitendera ebiri egisooka era nga waliwo obukakafu obw’amaanyi obulaga nti ekibi kyakolebwa.

17. Mikisa ki gye tujja okufuna singa tufuba okukuuma emirembe?

17 Ng’enteekateeka y’ebintu eno ekyagenda mu maaso, abantu bajja kweyongera okukola ebintu ebinyiiza abalala. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba tasobya mu kigambo, aba yatuukirira, ng’asobola okufuga omubiri gwe gwonna.” (Yak. 3:2) Okusobola okugonjoola obutakkaanya, tulina okufuba ‘okunoonyanga emirembe n’okugigoberera.’ (Zab. 34:14) Bwe tunoonya emirembe, tujja kuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe era tujja kukuuma obumu bw’ekibiina. (Zab. 133:1-3) N’okusinga byonna, tujja kuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, “Katonda awa emirembe.” (Bar. 15:33) Abo abafuba okugonjoola obutakkaanya nga booleka okwagala bafuna emikisa egyo.

^ [1] (akatundu 12) Abantu abalala abaagonjoola obulungi obutategeeragana be bano: Yakobo ne Esawu (Lub. 27:41-45; 33:1-11); Yusufu ne baganda be (Lub. 45:1-15); Gidiyoni n’Abefulayimu. (Balam. 8:1-3) Waliwo n’ebyokulabirako ebirala bingi mu Bayibuli by’oyinza okulowoozaako.