Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Muleke Ekitangaala Kyammwe Kyake,’ Yakuwa Agulumizibwe

‘Muleke Ekitangaala Kyammwe Kyake,’ Yakuwa Agulumizibwe

“Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu, . . . bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.”​—MAT. 5:16.

ENNYIMBA: 77, 59

1. Kiki ekituleetera essanyu leero?

KITUSANYUSA nnyo okulaba okweyongerayongera okuliwo mu bantu ba Yakuwa leero! Omwaka oguwedde twayigiriza Bayibuli abantu abasukka mu 10,000,000. Ekyo kiraga nti abantu ba Katonda balese ekitangaala kyabwe okwaka! Ate era lowooza ne ku bukadde n’obukadde bw’abantu be twayita ne babaawo ku Kijjukizo. Okubaawo ku Kijjukizo kyabasobozesa okumanya engeri Katonda gye yalagamu abantu okwagala bwe yawaayo Omwana we nga ssaddaaka.​—1 Yok. 4:9.

2, 3. (a) Kiki ekitasobola kutulemesa ‘kwaka ng’ettaala mu nsi’? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi boogera ennimi za njawulo. Wadde kiri kityo, baweereza Yakuwa, Kitaabwe ow’omu ggulu, nga bali bumu. (Kub. 7:9) Ka tube nga twogera lulimi ki oba nga tubeera wa, tusobola ‘okwaka ng’ettaala mu nsi.’​—Baf. 2:15.

3 Omulimu gw’okubuulira gwe tukola, obumu bwe tulina, n’okuba nti tuli bulindaala mu by’omwoyo, byonna bireetera Yakuwa okugulumizibwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuleka ekitangaala kyaffe okwaka mu bintu ebyo ebisatu.​—Soma Matayo 5:14-16.

YAMBA ABALALA OKUSINZA YAKUWA

4, 5. (a) Ng’oggyeeko okubuulira, ngeri ki endala gye tuyinza okuleka ekitangaala kyaffe okwaka? (b) Bwe twoleka ekisa birungi ki ebiyinza okuvaamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 21.)

4 Magazini ya Watch Tower eya Jjuuni 1, 1925 yagamba nti: “Tewali asobola kuba mwesigwa eri Mukama waffe mu nnaku zino ezisembayo . . . okuggyako ng’akozesezza buli kakisa k’afuna okuleka ekitangaala kye okwaka.” Magazini eyo era yagamba nti: “Ekyo omuntu akikola ng’abuulira abalala amawulire amalungi era ng’atuukanya obulamu bwe n’ekitangaala.” Ekyo kiraga bulungi nti engeri emu gye tulekamu ekitangaala kyaffe okwaka kwe kubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Ate era, tugulumiza Yakuwa nga twoleka empisa ennungi. Abantu be tubuulira n’abalala abatulaba beetegereza engeri gye tweyisaamu. Akamwenyumwenyu ke tussaako n’engeri ennungi gye twogeramu n’abantu bireetera abantu okuba n’ekifaananyi ekirungi ku kibiina kya Yakuwa ne ku Katonda gwe tusinza.

5 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Bwe muba muyingidde mu nnyumba, mulamuse ab’omu nnyumba eyo.” (Mat. 10:12) Mu kitundu Yesu n’abatume be mwe baabuuliranga kyalinga kya bulijjo abantu okwaniriza abantu be batamanyi mu maka gaabwe. Naye leero mu bitundu bingi ekyo si bwe kiri. Kyokka bw’oyoleka omukwano nga weeyanjula kisobola okukkakkanya emitima gy’abantu. Ate era kikulu okussaako akamwenyumwenyu. Akamwenyumwenyu kayamba nnyo baganda baffe ne bannyinaffe nga babuulira mu bifo ebya lukale nga bakozesa akagaali. Bakizudde nti abantu batera okukwatibwako bwe babateerako akamwenyumwenyu oba bwe bababuuza mu ngeri ey’ekisa. Ekyo kisobola okuleetera abantu okujja awali akagaali ne babaako ekitabo kye batwala. Ate era bw’oyoleka ekisa, kisobola okukuyamba okutandika emboozi n’abantu.

6. Ow’oluganda omu ne mukyala we beeyongedde batya okuleka ekitangaala kyabwe okwaka?

6 Ow’oluganda omu ne mukyala we abakaddiye ababeera mu Bungereza tebakyasobola kugenda kubuulira nnyumba ku nnyumba olw’obulwadde obubatawaanya. Bwe kityo baasalawo okuleka ekitangaala kyabwe okwakira awaka waabwe. Bassa emmeeza wabweru ne bateekako ebitabo mu kiseera abazadde we banonera abaana baabwe ku ssomero eriri okumpi n’awaka waabwe. Abazadde abawerako batutte akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1 ne 2, ne brocuwa ezitali zimu. Oluusi n’oluusi waliwo payoniya mu kibiina kyabwe abeegattako. Abazadde bakiraba nti payoniya oyo afaayo ku bantu era nti muganda waffe oyo ne mukyala we baagala nnyo okuyamba abantu. Ekyo kyaleetera n’omuzadde omu okutandika okuyiga Bayibuli.

7. Oyinza otya okuyamba abanoonyi b’obubudamu abali mu kitundu kyammwe?

7 Ensi nnyingi leero zizzeemu abanoonyi b’obubudamu bangi. Oyinza otya okuyamba abantu abo okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ekigendererwa kye? Ekisooka, oyinza okuyiga engeri y’okubuuzaamu abantu abo mu lulimi lwabwe. JW Language app ejja kukuyamba mu nsonga eyo. Ate era oyinza okuyigayo ebigambo ebitonotono ebisobola okubaleetera okwagala okunyumya naawe. Oluvannyuma osobola okubatwala ku mukutu gwaffe ogwa jw.org n’obalaga vidiyo n’ebitabo ebitali bimu ebiri mu lulimi lwabwe.​—Ma. 10:19.

8, 9. (a) Olukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki lutuganyula lutya? (b) Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okwenyigira mu nkuŋŋaana?

8 Yakuwa yatuteerawo olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe okutuyamba okuba ababuulizi abalungi. Okutendekebwa kwe tufuna mu lukuŋŋaana olwo kutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okuddiŋŋanamu abantu n’okubayigiriza Bayibuli.

9 Abapya bangi bakirabye nti abaana baffe beenyigira mu nkuŋŋaana. Abazadde, muyambe abaana bammwe okuleka ekitangaala kyabwe okwaka nga mubayigiriza okuddamu mu bigambo byabwe. Eby’okuddamu abaana bye bawa nga biva ku mutima bireetedde n’abantu abamu okuyiga amazima.​—1 Kol. 14:25.

NYWEZA OBUMU

10. Okusinza kw’amaka kutuyamba kutya okuba obumu?

10 Engeri endala gy’oyinza okuleka ekitangaala kyo okwaka kwe kunyweza obumu mu maka gammwe ne mu kibiina kyo. Ekyo abazadde bayinza okukikola nga bakakasa nti baba n’okusinza kw’amaka obutayosa. Ennaku ezimu mu mwezi bangi baba n’enteekateeka ey’okulaba programu eziba ku ttivi yaffe eya JW Broadcasting mu kiseera ky’okusinza kw’amaka. Oluvannyuma, bakubaganya ebirowoozo ku bye balabye. Omuzadde bw’aba akubiriza okusinza kw’amaka asaanidde okukijjukira nti ebyetaago by’omwana omuto biyinza okwawukana ku by’omuvubuka. Kola kyonna ekisoboka okuyamba buli omu mu maka okuganyulwa mu kusinza kw’amaka.​—Zab. 148:12, 13.

Okufaayo ku bakaddiye kizimba (Laba akatundu 11)

11-13. Tuyinza tutya okunyweza obumu mu kibiina era ne tuyamba n’abalala okuleka ekitangaala kyabwe okwaka?

11 Abato bayinza batya okunyweza obumu mu kibiina mu ngeri eyo ne bayamba n’abalala okuleka ekitangaala kyabwe okwaka? Bw’oba oli muvubuka, lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo okufaayo ku b’oluganda ne bannyinaffe abakulu? Osobola okubabuuza ne bakubuulira ku birungi bye bafunye mu bbanga lye bamaze nga baweereza Yakuwa. Ekyo kijja kukuzzaamu nnyo amaanyi era nabo kijja kubakubiriza okweyongera okuleka ekitangaala kyabwe okwaka. Ate era ffenna tusobola okukifuula ekiruubirirwa kyaffe okwaniriza bonna ababa bazze mu nkuŋŋaana. Bwe tukola bwe tutyo kinyweza obumu bw’ekibiina era kireetera abapya okwagala okuleka ekitangaala kyabwe okwaka. Ekyo tuyinza okukikola nga tulamusa abapya nga tutaddeko akamwenyumwenyu era oboolyawo ne tubalaga n’aw’okutuula. Tusobola n’okubanjula eri abalala.

12 Bw’okwasibwa enkizo ey’okukubiriza olukuŋŋaana olw’okugenda okubuulira, olina kinene ky’osobola okukola okuyamba abakaddiye okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Kibanguyira okutuuka mu kitundu gye mubuulira? Mu mbeera ezimu kiyinza okukwetaagisa okubawa omubuulizi akyalina ku maanyi abuulireko nabo. Ate era kikulu okufaayo ne ku abo embeera yaabwe ey’obulamu b’etasobozesa kukola kinene mu buweereza. Bw’okiraga nti ofaayo ku balala, kisobola okuleetera abato n’abakulu, abalina obumanyirivu n’abatalina bumanyirivu, okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu.​—Leev. 19:32.

13 Abayisirayiri baanyumirwanga nnyo okusinziza awamu Yakuwa. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Nga kirungi era nga kisanyusa ab’oluganda okubeera awamu nga bali bumu!” (Soma Zabbuli 133:1, 2.) Obumu obwo yabugeraageranya ku mafuta agaweweeza olususu era agawunya akaloosa. Mu ngeri y’emu naffe tusobola okuzzaamu baganda baffe amaanyi nga tubafaako era nga tubalaga ekisa. Ekyo kiyamba ekibiina okwongera okuba obumu. Ofuba okumanya obulungi baganda bo mu kibiina?​—2 Kol. 6:11-13.

14. Oyinza otya okuleka ekitangaala kyo okwaka mu kitundu gy’obeera?

14 Ate era osobola okuleka ekitangaala kyo okwaka mu kitundu gy’obeera. Ebigambo byo eby’ekisa n’ebikolwa byo ebirungi bisobola okuleetera baliraanwa bo okwagala okuyiga amazima. Weebuuze: ‘Baliraanwa bange bantwala batya? Nfuba okukuuma awaka wange n’ebintu byange nga biyonjo? Nfuba okuyamba abalala?’ Bw’oba onyumyako ne bakkiriza banno, osobola okubabuuza bakubuulire engeri ebigambo byabwe eby’ekisa n’enneeyisa yaabwe ennungi gye bikutte ku b’eŋŋanda zaabwe, baliraanwa baabwe, bakozi bannaabwe, oba bayizi bannaabwe. Bye banaakubuulira bijja kukuzzaamu nnyo amaanyi.​—Bef. 5:9.

BEERA BULINDAALA

15. Lwaki kikulu okuba obulindaala?

15 Endowooza gye tulina erina kinene ky’ekola ku ngeri gye tulekamu ekitangaala kyaffe okwaka. Enfunda n’enfunda Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mubeere bulindaala.” (Mat. 24:42; 25:13; 26:41) Bwe tutandika okulowooza nti “ekibonyoobonyo ekinene” kikyali wala era nti tekijja kutuuka mu kiseera kyaffe, tetujja kubuulira na bunyiikivu. (Mat. 24:21) Mu kifo ky’ekitangaala kyaffe okwaka, kijja kuzimeera oboolyawo n’okuzikira kizikire.

16, 17. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okusigala ng’oli bulindaala?

16 Ng’embeera y’ensi yeeyongera okwonooneka, ffenna tulina okweyongera okuba obulindaala. Yakuwa agenda kuleeta enkomerero mu kiseera ekituufu. Ekyo tekiriiko kubuusabuusa. (Mat. 24:42-44) Nga bw’olindirira ekiseera ekyo, kikulu okuba omugumiikiriza n’okweyongera okuba obulindaala. Soma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era nyiikirira okusaba. (1 Peet. 4:7) Fumiitiriza ku byokulabirako bya baganda baffe ne bannyinaffe abakyolese nti okuba obulindaala n’okuleka ekitangaala kyaffe okwaka kivaamu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, oyinza okusoma ku byafaayo ebikwata ku b’oluganda gamba ng’oyo ayogerwako mu kitundu ekirina omutwe “Emyaka Ensanvu gye Mmaze nga Nneekutte ku Lukugiro lw’Omuyudaaya,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2012, olupapula 18-21.

17 Ba n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Yakuwa era funangayo akadde okubeerako ne bakkiriza banno. Ekyo kijja kukuyamba okuba omusanyufu, era ojja kukiraba nti ebiseera bidduka mangu. (Bef. 5:16) Emyaka kikumi emabega baganda baffe baali banyiikivu era balina bingi bye baakola mu mulimu gwa Yakuwa. Naye leero tukola ebintu bingi n’okusingawo. Omulimu gwa Yakuwa gugaziye nnyo okusinga ne bwe twali tulowooza. Ekitangaala kyaffe kyaka nnyo.

Abakadde bwe batukyalira, batuwa amagezi okuva mu Kigambo kya Katonda (Laba akatundu 18, 19)

18, 19. Abakadde mu kibiina bayinza batya okutuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo? Waayo ekyokulabirako.

18 Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri gy’asiima. Okusobola okutuyamba, Yakuwa atuwadde ebirabo mu bantu, nga bano be bakadde mu kibiina. (Soma Abeefeso 4:8, 11, 12.) N’olwekyo, abakadde bwe bakukyaliranga, ssaayo omwoyo ku magezi ge bakuwa era gakolereko.

19 Abakadde babiri mu Bungereza baagenda okukyalira ow’oluganda ne mukyala we abaalina ebizibu mu maka gaabwe. Mukyala w’ow’oluganda oyo yali awulira nti omwami we yali tabakulembera bulungi mu by’omwoyo. Ow’oluganda oyo yakkiriza nti teyali muyigiriza mulungi era nti teyakubirizanga kusinza kw’amaka butayosa. Abakadde baayamba ow’oluganda ne mukyala we okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu. Yesu yafangayo ku byetaago by’abayigirizwa be. Abakadde baakubiriza ow’oluganda okukoppa Yesu. Era baakubiriza mukyala we okuba omugumiikiriza. Abakadde era baawa abafumbo abo amagezi ku ngeri gye bayinza okukolera awamu okusobola okuba n’okusinza kw’amaka awamu n’abaana baabwe ababiri. (Bef. 5:21-29) Ow’oluganda oyo yafuba okuba omutwe gw’amaka omulungi era abakadde baamukubiriza obutaddirira mu ekyo era baamukubiriza n’okweyongera okwesiga Yakuwa. Okwagala n’ekisa abakadde abo bye baalaga ow’oluganda oyo ne mukyala we byabayamba okutereeza amaka gaabwe.

20. Biki ebinaavaamu bw’onooleka ekitangaala kyo okwaka?

20 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Alina essanyu buli atya Yakuwa, buli atambulira mu makubo ge.” (Zab. 128:1) Bw’oleka ekitangaala kyo okwaka, ng’oyamba abalala okuweereza Yakuwa, nga weeyisa mu ngeri ereetawo obumu, era ng’ofuba okuba obulindaala, ojja kufuna essanyu lingi. Abalala bajja kulaba ebikolwa byo ebirungi, bagulumize Kitaffe ali ggulu.​—Mat. 5:16.