Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAMALAYIKA​—DDALA GYEBALI? LWAKI KIKULU OKUMANYA EBIBAKWATAKO?

Bayibuli Eyogera Ki ku Bamalayika?

Bayibuli Eyogera Ki ku Bamalayika?

Wandyagadde okumanya ebikwata ku bamalayika​—gye baava, era ne bye bakola? Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okumanya ebikwata ku bamalayika. (2 Timoseewo 3:16) Bayibuli eyogera ki ku bamalayika?

  • Bamalayika bitonde bya mwoyo, era okufaananako Katonda, tebalina mibiri gya nnyama. Bamalayika babeera mu ggulu ne Katonda.​—Lukka 24:39; Matayo 18:10; Yokaana 4:24.

  • Bamalayika oluusi bajjanga ku nsi nga balabika ng’abantu ne bakola Katonda kye yabanga abatumye, oluvannyuma ne baddayo mu ggulu.​—Ekyabalamuzi 6:11-23; 13:15-20.

  • Wadde nga mu Bayibuli bamalayika boogerwako ng’abasajja, era nga n’abo abajjako ku nsi baalabika ng’abasajja, bamalayika si basajja era si bakazi. Tebawasa era tebazaala. Ate era tebaasooka kubeera bantu ku nsi, wabula baatondebwa butondebwa, era eyo ye nsonga lwaki Bayibuli ebayita “abaana ba Katonda.”​—Yobu 1:6; Zabbuli 148:2, 5.

  • Bayibuli egamba nti waliwo ‘ennimi z’abantu n’eza bamalayika,’ era ekyo kiraga nti bamalayika nabo balina olulimi lwabwe. Wadde nga Katonda yatumanga bamalayika okwogera n’abantu, tatukkirizza kubasinza wadde okubasaba.​—1 Abakkolinso 13:1; Okubikkulirwa 22:8, 9.

  • Bayibuli eraga nti eriyo bamalayika buwumbi na buwumbi.​—Danyeri 7:10; Okubikkulirwa 5:11.

  • Bamalayika ‘ba maanyi nnyo’ era bagezi nnyo okusinga abantu. Ate era kirabika batambulira ku sipiidi ya maanyi nnyo okusinga ekintu kyonna ffe abantu kye tumanyi.​—Zabbuli 103:20; Danyeri 9:20-23.

  • Wadde nga bamalayika batusinga amagezi n’amaanyi, obusobozi bwabwe buliko ekkomo, era waliwo ebintu nabo bye batamanyi.​—Matayo 24:36; 1 Peetero 1:12.

  • Bamalayika nabo baatondebwa nga balina eddembe ery’okwesalirawo. Okufaananako abantu, nabo basobola okusalawo okukola ebirungi oba ebibi. Eky’ennaku, bamalayika abamu baasalawo okujeemera Katonda.​—Yuda 6.