EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Mulituusa Wa Okutta Aga n’Aga?”
Eriya yagamba Abayisirayiri okusalawo Katonda ki gwe baalina okusinza (1Sk 18:21; w17.03 lup. 14 ¶6)
Bbaali yali katonda ataalina bulamu (1Sk 18:25-29; ia lup. 88 ¶15)
Yakuwa yalaga mu ngeri eyeewuunyisa nti ye Katonda ow’amazima (1Sk 18:36-38; ia lup. 90 ¶18)
Eriya yagamba abantu nti baalina okukiraga nti balina okukkiriza nga bagondera amateeka ga Yakuwa. (Ma 13:5-10; 1Sk 18:40) Leero tukiraga nti tulina okukkiriza era nti twemalidde ku Katonda, nga tugondera amateeka ga Yakuwa.