Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMUNAANA

“Yafumiitiriza mu Mutima Gwe”

“Yafumiitiriza mu Mutima Gwe”

1, 2. Maliyamu yali agenda wa, era lwaki olugendo olwo terwali lwangu?

MALIYAMU yali ku ndogoyi, nga Yusufu amukulembeddemu ng’atambuza bigere. Baali bagenda Besirekemu era baali batambudde olugendo oluwerako. Maliyamu yali muzito, era yawuliranga ng’omwana yeekyusa mu lubuto.

2 Bayibuli ekiraga nti mu kiseera ekyo Maliyamu yali “anaatera okuzaala.” (Luk. 2:5) Abantu be baayitangako oboolyawo beebuuzanga wa omukazi ow’olubuto olukulu bwe lutyo gye yali alaga. Kiki ekyaleetera Maliyamu okuva e Nazaaleesi atambule olugendo olwo lwonna?

3. Buvunaanyizibwa ki Maliyamu bwe yali aweereddwa, era kiki kye tugenda okwekenneenya?

3 Emyezi egiwerako emabega, omukazi oyo Omuyudaaya yali aweereddwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo. Yali agenda kuzaala omwana eyali ajja okuba Masiya, Omwana wa Katonda! (Luk. 1:35) Ng’ekiseera eky’okuzaala omwana oyo kisembedde, wajjawo ensonga eyali ebeetaagisa okugenda e Besirekemu. Okukkiriza kwa Maliyamu kwali kugenda kugezesebwa mu ngeri eziwerako. Ka tulabe kiki ekyamuyamba okusigala nga munywevu mu by’omwoyo.

Olugendo lw’e Besirekemu

4, 5. (a) Lwaki Yusufu ne Maliyamu baali bagenda e Besirekemu? (b) Ekiragiro Kayisaali kye yawa kyaviirako bunnabbi ki okutuukirizibwa?

4 Yusufu ne Maliyamu si be bokka abaali ku lugendo. Kayisaali Agusito yali awadde ekiragiro nti abantu bonna bagende mu bibuga gye baali basibuka beewandiise. Ye Yusufu yakola atya? Bayibuli egamba nti: “Yusufu n’ava e Ggaliraaya mu kibuga ky’e Nazaaleesi, n’agenda e Buyudaaya mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu, kubanga yali wa mu nnyumba ya Dawudi era wa mu lunyiriri lwe.”Luk. 2:1-4.

5 Kayisaali okuyisa ekiragiro mu kiseera ekyo teyakikola ku lulwe. Obunnabbi obwali bwawandiikibwa ebyasa nga musanvu emabega bwali bulaga nti Masiya yali wa kuzaalibwa mu Besirekemu. Waaliwo akabuga akayitibwa Besirekemu akaali mayiro nga musanvu okuva e Nazaaleesi. Kyokka obunnabbi bwo bwali bugamba nti Masiya yali alina kuzaalibwa mu “Besirekemu Efulasa.” (Soma Mikka 5:2.) Okuva e Nazaaleesi okutuuka mu kabuga ako ng’oyitidde e Samaliya, waaliwo mayiro nga 80, era olugendo olwo lwalimu okulinnyalinnya ensozi. Ako ke kabuga Yusufu ne Maliyamu gye baali bagenda okwewandiisa, olw’okuba bombi baali basibuka mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi, era nga naye yali yazaalibwa mu kabuga ako.

6, 7. (a) Lwaki olugendo lw’e Besirekemu Maliyamu lwali terugenda kumubeerera lwangu? (b) Njawulo ki eyaliwo mu ngeri Maliyamu gye yakolangamu ebintu nga tannafumbirwa, n’oluvannyuma lw’okufumbirwa? (Laba n’obugambo obuli wansi ku lupapula 155.)

6 Yusufu bwe yandigambye Maliyamu bagende ku butaka beewandiise, Maliyamu yandikkirizza? Olugendo olwo lwali terugenda kumubeerera lwangu n’akatono. Kirabika mu kiseera ekyo enkuba eya ddumbi yali etandise. N’ekirala, Besirekemu kyali mu kitundu kya nsozi era ng’omuntu kimutwalira ennaku eziwerako okutuukayo. Ate era oboolyawo olugendo olwo lwandibadde lubatwalira ennaku ezisingawo ku za bulijjo okuva bwe kiri nti Maliyamu yali alina okugenda ng’awummulawummulamu olw’okuba yali lubuto lukulu. Omukazi bw’aba anaatera okuzaala, aba ayagala nnyo okubeera okumpi n’ab’eŋŋanda ze oba mikwano gye abayinza okumuyamba ng’ebisa bitandise okumuluma. Awatali kubuusabuusa, Maliyamu okukkiriza okutindigga olugendo olwo kyali kyetaagisa obumalirivu obw’ekitalo.

Olugendo lw’e Besirekemu terwali lwangu

7 Lukka agamba nti Yusufu yagenda “yeewandiise wamu ne Maliyamu gwe yali awasizza mu kiseera ekyo.” (Luk. 2:4, 5) Ng’omukyala omufumbo, Maliyamu yali alina okugondera bbaawe, Yusufu, n’okumuwagira mu byonna bye yabanga asazeewo ng’omutwe gw’amaka. * Obuwulize bwe bwakyoleka nti yalina okukkiriza okw’amaanyi.

8. (a) Nsonga ki endala eyinza okuba nga ye yaviirako Maliyamu okugenda e Besirekemu ne bbaawe Yusufu? (b) Maliyamu yatuteerawo kyakulabirako ki ekirungi ennyo?

8 Nsonga ki endala eyinza okuba nga ye yaleetera Maliyamu okukkiriza okugenda ne Yusufu? Yali akimanyi nti obunnabbi bwali bulaga nti Masiya yali wa kuzaalibwa Besirekemu? Bayibuli tetubuulira. Ayinza okuba nga yali akimanyi, kubanga bakabona n’abawandiisi era n’abantu aba bulijjo abasinga baali bakimanyi. (Mat. 2:1-7; Yok. 7:40-42) Maliyamu yali amanyi nnyo Ebyawandiikibwa. (Luk. 1:46-55) Ka kibe nti yakkiriza okugenda e Besirekemu olw’okuba yali ayagala kugondera bba, oba okugondera ekiragiro kya Kayisaali, oba olw’okuba yali ayagala obunnabbi butuukirizibwe, oba olw’ensonga ezo zonna awamu, Maliyamu yateekawo ekyokulabirako ekirungi. Yakuwa ayagala nnyo abantu abawulize era abawombeefu. Maliyamu kyakulabirako kirungi nnyo gye tuli naddala mu kiseera kino ng’abantu abasinga obungi tebatwala buwulize ng’ekintu ekikulu.

Okuzaalibwa kwa Kristo

9, 10. (a) Maliyamu ne Yusufu bwe baali banaatera okutuuka e Besirekemu, biki bye bayinza okuba nga baatandika okujjukira? (b) Lwaki Yusufu ne Maliyamu baasula mu kiraalo?

9 Maliyamu alina okuba nga yassa ekikkoowe bwe yalengera akabuga Besirekemu. Maliyamu ne Yusufu bwe baali balinnyalinnya obusozi, bayinza okuba nga baatandika okujjukira ebimu ku byafaayo by’akabuga ako. Nga nnabbi Mikka bwe yagamba, akabuga ako kaali katono nnyo, nga tekabalibwa na mu bibuga bya Yuda. Kyokka nno kano ke kabuga Bowaazi, Nawomi, ne Dawudi mwe baazaalibwa.

10 Maliyamu ne Yusufu baagenda okutuuka ng’akabuga konna kakubyeko abantu. Olw’okuba abantu abalala bangi nabo baali bazze okwewandiisa, Maliyamu ne Yusufu baasanga ennyumba omwasulanga abatambuze ejjudde. * Baasalawo bagende basule mu kiraalo. Lowooza ku ngeri Yusufu gye yatunulamu ng’alaba mukazi we ali mu bulumi olw’ebisa ebyali bitandise okumusimba. Mazima ddala, kino si kye kyali ekifo ekituufu omukazi okuzaaliramu.

11. (a) Lwaki obulumi Maliyamu bwe yalimu abakazi bangi basobola bulungi okubutegeera? (b) Mu ngeri ki Yesu gye yali omwana “omubereberye”?

11 Obulumi Maliyamu bwe yalimu mu kiseera ekyo abakazi bangi basobola bulungi okubutegeera. Emyaka nga 4,000 emabega, Yakuwa yali yagamba nti abakazi bandizaaliddenga mu bulumi olw’ekibi kye twasikira. (Lub. 3:16) Bayibuli terina ky’egamba kiyinza kutuleetera kulowooza nti Maliyamu ye teyawulira bulumi ng’obwo. Lukka tatubuulira ngeri Maliyamu gye yalumwamu ng’azaala wabula agamba bugambi nti: “N’azaala omwana ow’obulenzi, omubereberye.” (Luk. 2:7) Maliyamu yazaala bulungi omwana we “omubereberye,” era Bayibuli eraga nti abaana bonna be yazaala baali nga musanvu. (Mak. 6:3) Kyokka ono ye yali wa njawulo. Ng’oggyeko eky’okuba nti ye yali omwana wa Maliyamu omubereberye, era ye yali “omubereberye w’ebitonde byonna,” Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka!Bak. 1:15.

12. Omwana Maliyamu gwe yali yaakazaala yamussa wa, naye emizannyo egikwata ku kuzaalibwa kwa Yesu n’ebifaananyi bitera kuwa kifaananyi ki ekikyamu?

12 Era tusoma mu kitabo kya Lukka nti: ‘Yamuzinga mu ngoye n’amussa mu lutiba ebisolo mwe biriira.’ (Luk. 2:7) Emizannyo egikwata ku kuzaalibwa kwa Yesu awamu n’ebifaananyi ebikubibwa bitera okulaga nti Yesu yazaalibwa mu kifo ekirungi. Naye Bayibuli egamba nti Maliyamu yateeka omwana we mu lutiba ebisolo mwe biriira. Kijjukire nti Yusufu ne Maliyamu baali mu kiraalo, ekifo kye tumanyi nti tekiba kiyonjo n’akamu. Ddala, eriyo omuzadde yenna eyandisazeewo okuzaalira omwana we mu kifo ng’ekyo singa aba alina awalala w’ayinza okuzaalira? Abazadde bangi baagaliza abaana baabwe ekyo ekisingirayo ddala obulungi. Maliyamu ne Yusufu nabo baali baagala okukolera Omwana wa Katonda ekisingayo obulungi!

13. (a) Mu ngeri ki Maliyamu ne Yusufu gye baakola kyonna ekisoboka okulabirira obulungi omwana waabwe? (b) Abazadde abafaayo ku baana baabwe bayinza batya okukoppa Yusufu ne Maliyamu?

13 Mu kifo ky’okudda mu kwekubagiza, Maliyamu ne Yusufu baakozesa ekyo kye baali balina. Ng’ekyokulabirako, Maliyamu yabikka bulungi omwana n’amuzazika mu lutiba. Teyakkiriza mbeera nzibu gye baalimu kumulemesa kulabirira bulungi mwana we. Ate era ye ne Yusufu baali bakimanyi nti baalina n’obuvunaanyizibwa obusingawo obukulu obw’okulabirira omwana oyo mu by’omwoyo. (Soma Ekyamateeka 6:6-8.) Abazadde abafaayo ku baana baabwe, bakulembeza eby’omwoyo mu nsi eno etetwala bya mwoyo ng’ekintu ekikulu.

Abasumba Baabazzaamu Amaanyi

14, 15. (a) Lwaki abasumba baayanguwa okugenda okulaba omwana? (b) Abasumba baakola ki nga bamaze okulaba omwana?

14 Yusufu ne Maliyamu baali bakyali awo ne bawulira abantu abayingira mu kiraalo. Baali basumba abaali bavudde ku ttale gye baali nga balabirira endiga zaabwe, era nga baali bazze okulaba omwana eyali azaaliddwa. * Baagamba Maliyamu ne Yusufu nti malayika yali abalabikidde ekiro ekyo nga bali ku ttale. Ekitiibwa kya Yakuwa kyali kyeyolese gye bali, era malayika yali abagambye nti Kristo oba Masiya, yali azaaliddwa mu Besirekemu, era nti bandimusanze ng’azingiddwa mu ngoye era ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira. Nga malayika amaze okubagamba ebyo, baalaba ekibinja kya bamalayika abalala nga batendereza Katonda!Luk. 2:8-14.

15 Tekyewuunyisa nti abasajja abo baayanguwa okugenda e Besirekemu! Kirina okuba nga kyabasanyusa nnyo okusanga omwana oyo omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba nga malayika bwe yali abagambye. Amawulire ago amalungi tebaagasirikira. ‘Baategeeza abalala ebikwata ku mwana oyo, era bonna abaawulira beewuunya ebintu abasumba bye baabagamba.’ (Luk. 2:17, 18) Kirabika mu biseera ebyo bakabona n’abawandiisi baali bayisaamu nnyo abasumba amaaso. Naye Yakuwa yali atwala abasajja abo nga ba muwendo. Ebigambo by’abasumba bino byakwata bitya ku Maliyamu?

Abasumba Yakuwa yabatwala nga ba muwendo

16. Maliyamu yakiraga atya nti yali muntu afumiitiriza ennyo, era ekyo kyamuyamba kitya?

16 Wadde nga Maliyamu alina okuba nga yali mukoowu nnyo olw’okuba yali yaakamala okuzaala, yawuliriza n’obwegendereza ebigambo abasumba bye baayogera. Bayibuli egamba nti: “Maliyamu ebigambo ebyo n’abikuumira ku mutima gwe.” (Luk. 2:19) Mazima ddala Maliyamu yali muntu afumiitiriza ennyo. Yakitegeera nti obubaka obwo malayika bwe yaleeta bwali bukulu nnyo. Katonda we, Yakuwa, yali ayagala akimanye era akitegeerere ddala bulungi nti omwana oyo gwe yali azadde yali Mwana wa Katonda, era nti yali wa muwendo nnyo. Kale nno ebigambo abasumba bye baayogera Maliyamu teyakoma ku kubiwuliriza buwuliriza; yabitereka mu mutima asobole okubifumiitirizaako mu biseera eby’omu maaso. Ekyo kyayamba Maliyamu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi obulamu bwe bwonna.Soma Abebbulaniya 11:1.

Maliyamu yawuliriza ebigambo by’abasumba n’obwegendereza era n’abikuumira ku mutima gwe

17. Ku bikwata ku bintu eby’omuwendo Katonda by’atuwa, tuyinza tutya okukoppa Maliyamu?

17 Onookoppa ekyokulabirako kya Maliyamu? Yakuwa atuwadde Ekigambo kye ekirimu ebintu eby’omuwendo ebingi ennyo. Kyokka, okusobola okubiganyulwamu, tulina okukisoma obutayosa. Ate tetusaanidde kukisoma ng’abasoma obusomi ekitabo ekirala kyonna, wabula tulina okukisoma ng’abasoma Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. (2 Tim. 3:16) Ate era okufaananako Maliyamu, ebyo bye tusoma tulina okubifumiitirizaako era n’okubikuumira mu mitima gyaffe. Bwe tukola bwe tutyo, era ne tulowooza ku ngeri gye tusobola okubyeyambisaamu mu bulamu bwaffe, kijja kutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe.

Ebirala Bye Yafumiitirizaako

18. (a) Maliyamu ne Yusufu baagondera batya Amateeka ga Musa oluvannyuma lwa Yesu okuzaalibwa? (b) Ebiweebwayo Maliyamu ne Yusufu bye baatwala mu yeekaalu byalaga bitya nti baali baavu?

18 Ng’omwana awezezza ennaku munaana, yakomolebwa ng’Amateeka ga Musa bwe gaali galagira, era Maliyamu ne Yusufu baamutuuma erinnya Yesu nga bwe baali balagiddwa. (Luk. 1:31) Ate bwe yaweza ennaku ana, baatambula mayiro nga mukaaga okuva e Besirekemu ne bamutwala e Yerusaalemi mu yeekaalu, ne bawaayo ebiweebwayo eby’okwetukuza. Okusinziira ku mateeka, omuntu bwe yabanga omwavu yalinga akkirizibwa okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri. Wadde ng’abazadde abeesobola baawangayo ndiga, Yusufu ne Maliyamu tebaakwatibwa nsonyi kuwaayo ekyo kye baali basobola. Era bazzibwamu nnyo amaanyi nga bali mu yeekaalu.Luk. 2:21-24.

19. (a) Bigambo ki Simyoni bye yayogera Maliyamu bye yakuumira mu mutima gwe? (b) Ana yakola ki bwe yalaba omwana Yesu?

19 Nga bali eyo mu yeekaalu, omusajja omukadde ayitibwa Simyoni yajja gye bali n’abaako ebigambo bye yagamba Maliyamu, era ebigambo ebyo Maliyamu yabikuumira ku mutima gwe. Simyoni yali yasuubizibwa nti yali tajja kufa nga talabye Masiya, era omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwamulaga nti omwana oyo, Yesu, ye yali Omulokozi eyasuubizibwa. Simyoni era yagamba Maliyamu nti lumu yali ajja kuwulira obulumi obw’amaanyi ennyo obulinga obw’omuntu gwe bafumise ekiso. (Luk. 2:25-35) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byayamba nnyo Maliyamu okuguma ekiseera ekyo bwe kyatuuka nga wayiseewo emyaka asatu mu esatu. Nga Simyoni amaze okwogera ebyo, nnabbi omukazi ayitibwa Ana naye yalaba omwana Yesu era n’atandika okumwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.Soma Lukka 2:36-38.

Maliyamu ne Yusufu bazzibwamu nnyo amaanyi bwe baagenda mu yeekaalu ya Yakuwa mu Yerusaalemi

20. Lwaki Yusufu ne Maliyamu baakola bulungi okutwala Yesu mu yeekaalu?

20 Nga kyali kirungi Yusufu ne Maliyamu okutwala omwana waabwe mu yeekaalu e Yerusaalemi! Eyo nno ye yali entandikwa y’omwana waabwe okugenda mu yeekaalu ya Yakuwa, era ng’ekyo yakikola obulamu bwe bwonna. Nga bali mu yeekaalu, baawa Yakuwa ekyo kye baali basobola, ate era baawulira ebigambo ebizzaamu amaanyi. Awatali kubuusabuusa, Maliyamu yava mu yeekaalu ku lunaku olwo ng’okukkiriza kwe kweyongedde okunywera, era ng’ayingizza mu mutima gwe ebintu eby’omuwendo bingi eby’okulowoozaako n’okubuulirako abalala.

21. Tuyinza kukola ki okukkiriza kwaffe okusobola okweyongera okunywera ng’okwa Maliyamu?

21 Kizzaamu nnyo amaanyi okulaba ng’abazadde bagoberera ekyokulabirako ekyo. Abazadde Abajulirwa ba Yakuwa batwala abaana baabwe mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Abazadde ng’abo bawaayo kye basobola, era boogera ebigambo ebizzaamu Bakristaayo bannaabwe amaanyi. Bwe bava mu nkuŋŋaana baddayo eka nga basanyufu era nga bayize bingi bye basobola okubuulirako n’abalala. Nga kiba kya ssanyu okukuŋŋaana awamu nabo! Buli lwe tukuŋŋaana nabo, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera ng’okwa Maliyamu.

^ lup. 7 Bayibuli bw’eba eyogera ku lugendo lwa Maliyamu olwasooka, egamba nti: “Maliyamu n’agenda” okukyalira Erizabeesi. (Luk. 1:39) Olw’okuba mu kiseera ekyo baali tebannafumbiriganwa, Maliyamu ayinza okuba nga tekyamwetaagisa kusooka kwebuuza ku Yusufu ng’agenda okukyalira Erizabeesi. Naye bwe baali bagenda bombi e Besirekemu nga bamaze okufumbiriganwa, Bayibuli egamba nti: “Yusufu n’ava e Ggaliraaya.” (Luk. 2:4) Ekyo ne kiba nga kiraga nti Yusufu ye yasalawo bagende e Besirekemu.

^ lup. 10 Ebibuga eby’omu biseera ebyo byabangamu ennyumba esobola okusulwamu abatambuze.

^ lup. 14 Eky’okuba nti abasumba ekiro ekyo baali ku ttale nga balabirira endiga zaabwe, kiraga bulungi nti Kristo tayinza kuba nga yazaalibwa mu Ddesemba. Ekiseera ekyo kiba kiseera kya butiti era endiga zibeera mu biyumba byazo. N’olwekyo Yesu alina kuba nga yazaalibwa awo ku ntandikwa ya Okitobba.