Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Akulembera Atya Entegeka Ye?

Yakuwa Akulembera Atya Entegeka Ye?

Essuula Ey’ekkumi N’ennya

Yakuwa Akulembera Atya Entegeka Ye?

1. Baibuli eyogera ki ku ntegeka ya Yakuwa, era lwaki by’etutegeeza bikulu gye tuli?

YAKUWA alina entegeka? Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bitutegeeza nti agirina. Mu Kigambo kye, atutegezaako katono ku ntegeka ye ennene ennyo ey’omu ggulu. (Ezeekyeri 1:1, 4-14; Danyeri 7:9, 10, 13, 14) Wadde ng’entegeka eno tetuyinza kugiraba n’amaaso, erina kinene nnyo ky’ekola ku basinza ab’amazima leero. (2 Bassekabaka 6:15-17) Era entegeka ya Yakuwa erina ekitundu ekirabika ku nsi. Baibuli etuyamba okukitegeera era n’engeri Yakuwa gy’akiwaamu obulagirizi.

Okwawulawo Ekitundu Ekirabika

2. Kibiina ki ekippya Katonda kye yatondawo?

2 Okumala emyaka 1,545, eggwanga lya Isiraeri lye lyali ekibiina kya Katonda. (Ebikolwa 7:38, NW) Naye Isiraeri yalemererwa okukuuma Amateeka ge era n’egaana n’okukkiriza Omwana we. N’ekyavaamu, Yakuwa yeesamba ekibiina ekyo era n’akyabulira. Yesu yagamba bw’ati Abayudaaya: “Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.” (Matayo 23:38) Oluvannyuma lw’ekyo, Katonda yatondawo ekibiina ekippya, kye yakola nakyo endagaano empya. Ekibiina ekyo kyali kya kubeeramu abantu 144,000 abalondeddwa Katonda okubeera awamu n’Omwana we mu ggulu.​—Okubikkulirwa 14:1-4.

3. Kiki ekyaliwo ku Pentekoote 33 C.E., ekyalaga nti Katonda yali akozesa ekibiina kippya?

3 Abaasooka mu kibiina ekyo ekippya baafukibwako omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu ku Pentekoote 33 C.E. Ku bikwata ku kyaliwo ekyo ekikulu, tusoma: “Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka, bonna baali wamu mu kifo kimu. Amangu ago okuwuuma ne kuba mu ggulu ng’empewo ewuuma n’amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde. Ne kulabika ku bo ennimi ng’ez’omuliro nga zeeyawuddemu: buli lulimi ne lutuula ku muntu. Bonna ne bajjula [o]mwoyo [o]mutukuvu.” (Ebikolwa 2:1-4) Bwe kityo, omwoyo gwa Katonda gwalaga bulungi nti ekyo kye kyali ekibiina ky’abantu Katonda kye yali agenda okukozesa okutuukiriza ebigendererwa bye wansi w’obulagirizi bwa Yesu Kristo mu ggulu.

4. Baani leero abali mu ntegeka ya Yakuwa erabika?

4 Leero, ensigalira ya 144,000 be bakyali ku nsi. Naye mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli, obukadde n’obukadde ‘bw’ab’ekibiina ekinene’ ekya ‘endiga endala,’ bagattiddwa ku nsigalira y’abaafukibwako amafuta. Yesu, Omusumba Omulungi, agasse wamu ab’endiga endala n’ensigalira, ne kiba nti bali ekisibo kimu wansi we ng’Omusumba waabwe. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:11, 16) Bano bonna bakola ekibiina kimu ekiri obumu, entegeka ya Yakuwa erabika.

Entegeka Ekulemberwa Katonda

5. Ani akulembera entegeka ya Katonda, era atya?

5 Ebigambo ‘ekibiina kya Katonda omulamu’ biraga bulungi ani akiwa obulagirizi. Entegeka eno ekulemberwa Katonda kennyini. Yakuwa awa abantu be obulagirizi okuyitira mu Yesu, gwe yalonda okuba Omutwe gw’ekibiina, era n’okuyitira mu Baibuli, Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa.​—1 Timoseewo 3:14, 15; Abeefeso 1:22, 23; 2 Timoseewo 3:16, 17.

6. (a) Obulagirizi okuva mu ggulu bweyoleka butya mu kyasa ekyasooka? (b) Kiki ekiraga nti Yesu y’akyali Omutwe gw’ekibiina?

6 Obulagirizi obwo bweyoleka bulungi ku lunaku lwa Pentekoote. (Ebikolwa 2:14-18, 32, 33) Bweyoleka malayika wa Yakuwa bwe yawa obulagirizi obwasobozesa amawulire amalungi okubunyisibwa mu Afirika, eddoboozi lya Yesu bwe lyawa obulagirizi ku kukyusibwa kwa Sawulo ow’e Taluso, era ne Peetero bwe yatandika okubuulira mu b’Amawanga. (Ebikolwa 8:26, 27; 9:3-7; 10:9-16, 19-22) Naye, ekiseera bwe kyayitawo, amaloboozi gaalekera awo okuwulirwa okuva mu ggulu, bamalayika baalekera awo okulabibwa, era n’ebirabo eby’omwoyo byalekera awo okugabibwa. Kyokka, Yesu yali asuubizza: “Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Matayo 28:20; 1 Abakkolinso 13:8) Leero, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza obulagirizi bwa Yesu. Awatali bulagirizi obwo, tebandisobodde kulangirira bubaka bw’Obwakabaka mu kuziyizibwa okw’amaanyi ennyo.

7. (a) Baani abakola ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ era lwaki? (b) Mulimu ki ogwaweebwa “omuddu”?

7 Ng’ebulayo akaseera katono attibwe, Yesu yategeeza abayigirizwa be ku ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ gwe yandiwadde obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. “Omuddu” oyo yandibaddewo nga Mukama waffe agenda mu ggulu, era yandibadde akyali munyiikivu ku kudda kwa Mukama waffe okutalabika ng’ali mu buyinza bw’Obwakabaka. Okusinziira ku nnyinnyonnyola eyo, omuddu tayinza kuba muntu omu, wabula kye kibiina kya Kristo eky’abaafukibwako amafuta. Oluvannyuma lw’okukigula n’omusaayi gwe, Yesu yakyogerako nga “omuddu” we. Yawa abakirimu omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa n’okubawa ‘emmere yaabwe ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo.’​—Matayo 24:45-47; 28:19; Isaaya 43:10; Lukka 12:42; 1 Peetero 4:10.

8. (a) Ab’ekibiina ky’omuddu balina buvunaanyizibwa ki kati? (b) Lwaki kikulu okukkiriza Katonda by’atuyigiriza okuyitira mu mukutu guno?

8 Okuva ab’ekibiina ky’omuddu bwe baali bakyakola omulimu gwa Mukama waabwe mu kiseera we yakomerawo mu 1914, waliwo obujulizi obulaga nti baaweebwa obuvunaanyizibwa obusingawo mu 1919. Okuva mu mwaka ogwo n’okweyongerayo kibadde kiseera kya kuwa bujulirwa ku Bwakabaka mu nsi yonna, era ekibiina ekinene eky’abasinza ba Yakuwa kikuŋŋaanyizibwa kisobole okuwonyezebwawo mu kibonyoobonyo ekinene. (Matayo 24:14, 21, 22; Okubikkulirwa 7:9, 10) Bano nabo beetaaga emmere ey’eby’omwoyo, era ebatuusibwako ekibiina ky’omuddu. N’olwekyo, okusobola okusanyusa Yakuwa, tulina okukkiriza by’atuyigiriza okuyitira mu mukutu guno era ne tubigoberera.

9, 10. (a) Mu kyasa ekyasooka, nteekateeka ki eyaliwo ey’okugonjoola ensonga ezikwata ku njigiriza n’okuwa obulagirizi ku kubuulira amawulire amalungi? (b) Nteekateeka ki eriwo leero ey’okukubiriza omulimu gw’abantu ba Yakuwa?

9 Emirundi egimu, wajjawo ebibuuzo ebikwata ku njigiriza n’enkola esaanidde okugobererwa. Kiki ekyandikoleddwa? Ebikolwa by’Abatume essuula 15 etutegeeza ku ngeri ensonga eyali ekwata ku b’Amawanga abakyufu gye yagonjoolwamu. Ensonga eyo yatwalibwa eri abatume n’abakadde mu Yerusaalemi, abaali ku kakiiko akafuzi. Abasajja bano baali tebatuukiridde, naye Katonda yabakozesa. Beekenneenya ebyawandiikibwa ebikwata ku nsonga eyo awamu n’obujulizi obulaga engeri omwoyo gwa Katonda gye gwawaamu obulagirizi mu kubuulira ab’Amawanga. Oluvannyuma ne balyoka basalawo. Katonda yawa omukisa enteekateeka eyo. (Ebikolwa 15:1-29; 16:4, 5) Akakiiko ako akafuzi, kaatumanga abantu okubuulira abalala Obwakabaka.

10 Mu kiseera kyaffe, Akakiiko Akafuzi ak’entegeka ya Yakuwa erabika kalimu ab’oluganda abaafukibwako amafuta okuva mu mawanga ag’enjawulo. Akakiiko ako kasangibwa ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa. Wansi w’obukulembeze bwa Yesu Kristo, Akakiiko Akafuzi katumbula okusinza okulongoofu mu buli nsi, nga kakubiriza omulimu gw’okubuulira ogw’Abajulirwa ba Yakuwa mu nkumi n’enkumi z’ebibiina. Abo abali ku Kakiiko Akafuzi balina endowooza y’emu ng’omutume Pawulo, eyawandiika bw’ati eri Bakristaayo banne: “Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab’essanyu lyammwe: kubanga okukkiriza [kwammwe] kwe kubayimiriza.”​—2 Abakkolinso 1:24.

11. (a) Abakadde n’abaweereza mu kibiina balondebwa batya? (b) Lwaki twandikoledde wamu n’abo abalondeddwa?

11 Akakiiko Akafuzi kalonda ab’oluganda abalina ebisaanyizo. Ate ab’oluganda abo nabo baweebwa obuyinza okulonda abakadde n’abaweereza okulabirira ebibiina. Ebisaanyizo by’abo abalondebwa biri mu Baibuli era tebibeetaaza kubeera bantu abatuukiridde abatakola nsobi. Abakadde abasemba abalala okulondebwa n’abo abalonda abasembeddwa baba n’obuvunaanyizibwa bwa maanyi mu maaso ga Katonda. (1 Timoseewo 3:1-10, 12, 13; Tito 1:5-9) N’olwekyo, basaba omwoyo gwa Katonda, era banoonya obulagirizi okuva mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. (Ebikolwa 6:2-4, 6; 14:23) Tusiimenga ‘ebirabo ebyo mu bantu,’ abatuyamba okutuuka ku ‘bumu mu kukkiriza.’​—Abeefeso 4:8, 11-16.

12. Yakuwa akozesa atya abakazi mu nteekateeka ye?

12 Ebyawandiikibwa biraga nti abasajja bokka be balina okuba mu bifo eby’obulabirizi mu kibiina. Kino tekifeebya bakazi, kubanga abamu ku bo basika mu Bwakabaka obw’omu ggulu, era nga bakola nnyo mu kubuulira. (Zabbuli 68:11) Ate era, bwe batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka, abakazi baleetera ekibiina okwogerwako obulungi. (Tito 2:3-5) Naye okuyigiriza mu kibiina buvunaanyizibwa bwa basajja bokka abalondeddwa okukola ekyo.​—1 Timoseewo 2:12, 13.

13. (a) Baibuli ekubiriza abakadde kuba na ndowooza ki ku buvunaanyizibwa bwabwe? (b) Ffenna tulina nkizo ki?

13 Mu nsi, omuntu ali mu kifo eky’obuvunaanyizibwa atwalibwa nga wa waggulu nnyo, naye mu ntegeka ya Katonda ekigobererwa kiri nti: “Eyeetoowaza ennyo mu mmwe ye mukulu okubasinga.” (Lukka 9:46-48; 22:24-26, NW) Ebyawandiikibwa bikubiriza abakadde obutakajjala ku abo Katonda be yabakwasa okulabirira, naye okufuuka ekyokulabirako gye bali. (1 Peetero 5:2, 3) Si bamu na bamu bokka, wabula Abajulirwa ba Yakuwa bonna, abasajja n’abakazi, balina enkizo ey’okukiikirira Omufuzi w’obutonde bwonna, nga boogerera mu linnya lye era nga babuulira abantu mu buli kifo ku Bwakabaka bwe.

14. Nga mukozesa ebyawandiikibwa ebiweereddwa, mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo ebiri ku nkomerero y’akatundu.

14 Tusaanidde okwebuuza kinnoomu: ‘Ddala nsiima engeri Yakuwa gy’akulemberamu entegeka ye erabika? Nkyoleka mu ndowooza yange, enjogera n’ebikolwa?’ Okufumiitiriza ku nsonga zino eziddirira kiyinza okuyamba buli omu ku ffe okwekebera.

Bwe mba nga ddala ŋŋondera Kristo ng’Omutwe gw’ekibiina, olwo nnandibadde nkola ki nga bwe kiragibwa mu byawandiikibwa ebiddirira? (Matayo 24:14; 28:19, 20; Yokaana 13:34, 35)

Bwe mba nsiima enteekateeka ez’eby’omwoyo ezitukolerwa okuyitira mu kibiina ky’omuddu n’Akakiiko kaakyo Akafuzi, ani gwe mba nzisaamu ekitiibwa? (Lukka 10:16)

Buli omu mu kibiina, naddala abakadde, yandiyisizza atya munne? (Abaruumi 12:10)

15. (a) Endowooza gye tulina eri entegeka ya Yakuwa, eyoleka ki? (b) Tuyinza tutya okulaga nti Omulyolyomi mulimba, era ne tusanyusa omutima gwa Yakuwa?

15 Leero, Yakuwa atuwa obulagirizi okuyitira mu ntegeka ye erabika ekulemberwa Kristo. Endowooza gye tulina eri enteekateeka eno eraga endowooza gye tulina ku nsonga y’obufuzi. (Abaebbulaniya 13:17) Setaani agamba nti kye tusinga okufaako by’ebyo ebitukwatako ffe ffennyini. Naye singa tuweereza mu ngeri yonna eyeetaagisa ne twewala ebintu ebituleetera okwefaako ffekka, tuba tulaga nti Omulyolyomi mulimba. Singa twagala era ne tussa ekitiibwa mu abo abatwala obukulembeze mu ffe, era ne twewala ‘okuwaanawaana abalala olw’okwenoonyeza ebyaffe,’ tusanyusa Yakuwa. (Yuda 16; Abaebbulaniya 13:7) Bwe tunywerera ku ntegeka ya Yakuwa, tulaga nti ye Katonda waffe era nti tuli bumu mu kumusinza.​—1 Abakkolinso 15:58.

Eby’Okwejjukanya

• Entegeka ya Yakuwa erabika y’eruwa era erina kigendererwa ki?

• Ani yalondebwa okuba Omutwe gw’ekibiina, era nteekateeka ki ezirabika z’ayitiramu okutuwa obulagirizi?

• Twanditutte tutya abali mu ntegeka ya Yakuwa?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 133]

Yakuwa atuwa obulagirizi okuyitira  mu ntegeka ye erabika ekulemberwa Kristo