Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Siri Nzekka

Siri Nzekka

Wanula:

  1. 1. Nnina obulumi,

    Bungi ku mutima.

    Ndi munakuwavu nnyo;

    Nnina ennyiike nnyingi nnyo.

    Embeera gye ndimu,

    Si nnyangu n’akamu.

    Era kye nva nneebuuza:

    Ani ayinz’o kunnyamba?

    (CHORUS)

    Nkimanyi nti

    Siri nzekka

    Ne bwe nfuna

    Ebizibu.

    Ndi mugumu

    Era mmanyi

    Nti Yakuwa

    Talindeka.

    Buli lwe mmusaba,

    Ampuliriza.

  2. 2. Ne mu mbeer’e nzibu

    Nja kkunywererako.

    Nkimanyi bulungi nti,

    Oli Katonda mwesigwa.

    Ye ggwe ssuubi lyange;

    Oli kiddukiro.

    Ondi ku lusegere;

    Toyinza kunjabulira.

    (CHORUS)

    Nkimanyi nti

    Siri nzekka

    Ne bwe nfuna

    Ebizibu.

    Ndi mugumu

    Era mmanyi

    Nti Yakuwa

    Talindeka.

    Buli lwe mmusaba,

    Ampuliriza.

    Siri nzekka

    Ne bwe nfuna

    Ebizibu.

    Ndi mugumu

    Era mmanyi

    Nti Yakuwa

    Talindeka.

    Buli lwe mmusaba,

    Ampuliriza.