Ennyimba Endala
Ennyimba ezooleka essanyu n’okusiima bye tulina olw’okuba Abakristaayo.
‘Osinga Enkazaluggya Ennyingi’
Gwe oyinza okuwulira toli wa mugasa, naye Yakuwa bw’atyo si bw’akutwala. Vidiyo y’oluyimba luno etujjukiza nti ne bwe tuba tuwulira nti tetulina mugaso, Yakuwa n’abantu be batutwala nga tuli ba muwendo nnyo.
Tuyambagane
Ebizibu byaffe ka bibe nga byenkana wa, tusobola okubigumira singa tuyambagana.
Ebigambo Ebirungi era Ebizimba
Ebigambo ebirungi bye twogera bisobola okukwata ennyo ku balala.
Nja kulindirira Yakuwa
Ebirowoozo byo tobimalira ku kya kuba nti osibiddwa mu kkomera, wabula bisse ku bintu ebirungi Yakuwa by’agenda okukukolera era ebinyweza okukkiriza. Bw’okola bw’otyo, oba okiraga nti olindirira Yakuwa.
Balina Essanyu Abalaba (Oluyimba lw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2026)
Yesu bye yayigiriza bituleetera essanyu ku mutima, bituyamba obuteeraliikirira nnyo, era bituwa essuubi.
Otuwa Byonna Bye Twetaaga
Okuba nti Yakuwa mugabi, kireetedde kitya mwannyinaffe okwoleka omwoyo omugabi?
Ompuliriza
Bwe tusaba Yakuwa era ne tumweyabiza, atuwa emirembe mingi.
Obwetaavu Bwange obw’eby’Omwoyo
Bwe tukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo tufuna essanyu erya nnamaddala.
Twagalana Nnyo
Mikisa ki gy’onoofuna singa ogaziya ku buweereza bwo eri Yakuwa?
Bagambe nti Obaagala
Laba engeri gy’oyinza okulagamu abalala okwagala okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa.
Tukwagala Nnyo Muganda Waffe
Tusiima nnyo bannyinaffe Abakristaayo okwetooloola ensi.
Ekkubo Erituusa mu Bulamu
Bwe tunoonya ebintu ebikulu eri Yakuwa okuviira ddala mu buvubuka bwaffe, kituyamba okusigala mu kkubo erituusa mu bulamu.
Buli Kakisa
Bwe tukijjukira nti obulamu bwe tulina bumpi nnyo, tufuba okukozesa buli kakisa ke tufuna okulaga abalala okwagala.
Ekigambo Kyo Kyoleka Okwagala Kwo
Bayibuli erimu ebigambo bingi ebisikiriza ebyoleka okwagala kwa Katonda gye tuli. Laba engeri abawereeza ba Katonda okuva edda gye bazziddwamu amaanyi okuyitira mu bigambo ebyo.
Okukola by’Oyagala Kindeetera Essanyu (Oluyimba lw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2025)
Nga Yesu bwe kyamusanyusanga ennyo okukola Yakuwa by’ayagala, naffe kituleetera essanyu lingi okukola Yakuwa by’ayagala.
Ebirungi Tebijja Kulwa
Emikisa gye twesunga okufuna mu nsi empya ginaatera okutuuka.
Ndi mu Mikono Gyo
Obulamu bwo bujja kukyukira ddala bw’okkirirza Yakuwa okukubumba.
Okubeera mu Mirembe n’Abantu
Bwe tubeera mu mirembe n’abantu tuweesa Yakuwa ekitiibwa.
Muwe Yakuwa Ekitiibwa
Twagala nnyo Yakuwa era tusiima by’atukolera. Ekyo kituleetera okumuwa ekitiibwa.
Amaanyi Agasinga Agange
Laba engeri Yakuwa gy’awaniriramu abo abali mu mbeera enzibu.
Tube Bamativu
Tujja kuba basanyufu singa tubeera bamativu ne’byo Yakuwa by’atuwa.
By’Olaba Bisiime
Okufumiitiriza ku butonde bwa Yakuwa kituyamba kitya okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo?
“Obulamu Obwa Nnamaddala”
Okufumiitiriza ku ssubi lyaffe ery’omu biseera eby’omu maaso kituyamba okugumiikiriza ebizibu bye tufuna.
“Amawulire Amalungi”! (Oluyimba lw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2024)
Okuviira ddala mu kyasa ekyasooka, abantu babadde bakola omulimu ogusingayo obukulu ogw’okulangirira amawulire amalungi; Yesu kennyini y’awoma omutwe mu mulimu ogwo era bamalayika kinnoomu baguwagira.
Emirembe egy’Olubeerera
Emirembe egiva eri Yakuwa giba gya lubeerera.
Okunyweza Okukkiriza Kwange
Fuba okunyweza okukkiriza kwo.
Ntuuse Eka
Okyasobola okukomawo eka.
Tweyongere Okubuulira
Weesige Yakuwa, era weeyongere okubuulira wadde ng’otidde.
Atumanyi
Yakuwa amanyi buli omu ku ffe, era ategeera byonna bye tuyitamu.
Bwe Mmusemberera
Katonda asanyukira bonna abaagala okumusemberera ka babe nga bava mu mbeera ki.
‘Terujja Kulwa’ (Oluyimba lw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2023)
Koppa abeesigwa nga bw’olindirira Yakuwa.
Yigira ku Nsobi
Bwoyigira ku nsobi obeera munyweevu.
Tuzeewo Omukwano
Sonyiwa eyakunyiiza, muzeewo emirembe
Yakuwa Ali Wamu Nange
Tuvuunuka ebitutiisa byonna olw’o buyambi bwa Yakuwa.
Nnaagenda Eri Ani?
Goberera obulamu bw’omuweereza wa Yakuwa omwesigwa ng’awuliriza eddoboozi ly’omusumba.
Kyaddaaki Ensi Ejja Kubaamu Emirembe (Oluyimba lw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2022)
Ekisuubizo kya Katonda eky’e mirembe egya nnamaddala kikuyambe okugumira ebigezo.
Obumu Butufuula ba maanyi
Obumu bwe tulina awamu n’obuyambi bwa Yakuwa bituyamba okwaŋŋanga ebigezo byonna.WEB:URLSegmentobumu-butufuula-ba-maanyi
Amaka ga Yakuwa
Mu nsi eno mukyalimu abantu abanoonya amazima. Vidiyo eno ejja kukukubiriza okweyongera okunoonya abo abalinga endiga.
Bye Ndaba Nawe Birabe
Sanyukira mu ssubi ly’obulamu mu Nsi Empya.
‘Sanyukanga’
Oluyimba olw’essanyu lutujjukiza bingi ebituletera okusanyuka.
Okukkiriza Kunfuula Muvumu
Lowooza ku biseera eby’Omu maaso ebirungi Yakuwa by’asuubiza olulyo lw’omuntu.
Tuli Bumu
Wadde tuyita mu kuyigganyizibwa n’okugezesebwa, tusigala tuli bumu.
Kuuma Ebirowoozo Byo
Yakuwa asobola okukuyamba okukuuma ebirowoozo byo ng’ofunye ebikweeraliikiriza.
Omu Mu Bangi
Okusiima ekirabo ky’obufumbo Yakuwa kye yatuwa.
Tunyweze Okukkiriza
Okukkiriza okunywevu kusinziira ku bintu bye tuba tukozesezza okukuzimba.
Tudduke Embiro
Salangawo mu ngeri ey’amagezi okusobola okuwangula embiro z’obulamu.
Sonyiwanga
Waliwo omuntu eyakukola ekintu ekikulumya? Okisanze nga kizibu okumusonyiwa? Laba engeri gy’oyinza okumusonyiwa.
Essanyu Lyaffe Ery’Olubeerera
Yakuwa ye Nsibuko ye ssanyu lyaffe erya nnamaddala bulijjo era n’emirembe n’emirembe.
Ggwe Kimanye
Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala, ka tube nga twolekagana na kigezo ki.
Tube ng’Abaana Abato
Tuyinza tutya okuba ng’abaana mu ngeri gye tulagamu okwagala?
Bimukwase
Bw’oba nga wennyamidde, weeyongere okwesigama ku Yakuwa okukuwa amaanyi n’okukubudaabuda.
Nze Nneewaayo gy’Oli
Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okwewaayo gy’ali n’okubatizibwa.
Okwagala Tekulemererwa
Okwagala okuva eri Yakuwa tekulemererwa. Kutuwa essanyu era kutubudaabuda.
Mu Nsi Empya Ejja
Akafaananyi ke tukuba ku bintu eby’omu maaso kalina kye kakola ku ndowooza yaffe. Oluyimba luno lutuyamba okulowooza ku nsi empya.
Yakuwa tatwabulira
Yakuwa mwetegefu okutuyamba.
“Lwananga Olutalo Olulungi olw’Okukkiriza”
Wadde nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu, tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.
Tuli Baganda Bammwe
Buli we tubeeera tuba ba mu maka ga Yakuwa.
Nneebaza Yakuwa olw’Ebitonde Bye
Waayo ebiseera okufumiitiriza ku bitonde bya Yakuwa era omwebaze mu kusaba.
Beera Muvumu era wa Maanyi
Oluyimba olulungi olutuyamba okugumiikiriza.
Buli Lunaku Luba n’Ebyeraliikiriza Ebyalwo
Tusobola okuba n’emirembe n’essanyu wadde nga twolekagana n’ebizibu
Njagala Okukuwa Ekisingayo Obulungi
Yakuwa gwe tulina okwemalirako n’okuweereza n’omutima gwaffe gwonna.
Mu Maaso ga Yakuwa Tuli Omuntu Omu
Wadde nga tuli mu nsi embi, tuli bumu era tuli mu mirembe.
Nja Kukuyambanga mu Mbeera Enzibu
Mu mbeera zonna ze tubaamu, mikwano gyaffe baba naffe.
Mpa Obuvumu
Yakuwa Katonda atuwa obuvumu okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye tufuna
Emikwano Egya Nnamaddala
Wa we tosobola okufuna emikwano egya nnamaddala?
Okunoonya Amazima
Abantu abeesimbu abaagala okumanya Katonda n’ebigendererwa bye basobola okumumanya singa bafuba okumunoonya.
Totya
Bwe tufuna ebizibu tusaanidde okukijjukira nti Katonda w’ali okutuyamba.
Okwagalana ng’Ab’Oluganda
Abantu ba Yakuwa bayambagana.
Siri Nzekka
Bwe tuba ne Yakuwa Katonda waffe, tetuba ffekka.
Nkwagala Nnyo
Yakuwa bw’abeera mu bufumbo bwaffe buba bunywevu!
Nneesiga Ggwe
Okusoma n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kituyamba okugumira ebigezo.
Ebintu Ebikulu
Tulina okufissaawo ebiseera okukola ebintu ebisinga obukulu, gamba ng’okusaba, okwesomesa, n’okubuulira.
Nkuyimbira olw’Emirimu Gyo
Ebintu Yakuwa bye yatonda bituwuniikiriza, era bwe tubifumiitirizaako kituleetera okuyimba ennyimba ezimutendereza.
Ekifo Ekinaakuleetera Ettendo
Nga nkizo yamaanyi okuwaayo ekifo kino ekinatukuza erinnya lya Yakuwa!
Buliba Buti
Obulamu obulungi bunaatera okutuuka.
Mmaliridde Obutava ku Yakuwa
Gumiikiriza, era weesige Yakuwa.
Tewaliiwo bikwatagana n'ekyo ky'olonze.

