Buuka ogende ku bubaka obulimu

Baani Abagenda mu Ggulu?

Baani Abagenda mu Ggulu?

Bayibuli ky’egamba

 Katonda alonda omuwendo omugereke ogw’Abakristaayo abeesigwa, era Abakristaayo abo bwe bamala okufa, bazuukizibwa ne bagenda mu ggulu. (1 Peetero 1:3, 4) Bwe balondebwa, balina okukuuma okukkiriza kwabwe nga kunywevu era nga beeyisa mu ngeri Katonda gy’ayagala, baleme kufiirwa mpeera yaabwe ey’okugenda mu ggulu.​—Abeefeso 5:5; Abafiripi 3:12-14.

Abo abagenda mu ggulu bagenda kukolayo ki?

 Bajja kuweereza ne Yesu nga bakabaka era bakabona okumala emyaka 1,000. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 20:6) Bajja kuba “eggulu eriggya,” oba gavumenti ey’omu ggulu, ejja okufuga “ensi empya,” oba abantu abanaabeera ku nsi. Abafuzi abo abanaafugira mu ggulu bajja kuyamba abantu abanaabeera ku nsi okufuuka abatuukiridde, nga Katonda bwe yali ayagala ku lubereberye.​—Isaaya 65:17; 2 Peetero 3:13.

Bantu bameka abanaagenda mu ggulu?

 Bayibuli eraga nti abantu 144,000 be bajja okuzuukizibwa bagende mu ggulu. (Okubikkulirwa 7:4) Mu kwolesebwa okuli mu Okubikkulirwa 14:1-3, omutume Yokaana yalaba “Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku Lusozi Sayuuni, ng’ali wamu ne 144,000.” Mu kwolesebwa okwo, “Omwana gw’Endiga” ye Yesu. (Yokaana 1:29; 1 Peetero 1:19) “Olusozi Sayuuni” lukiikirira ekifo ekya waggulu ennyo, Yesu n’abantu 144,000 abajja okufugira awamu naye kye bajja okubaamu nga bakabaka mu ggulu.​—Zabbuli 2:6; Abebbulaniya 12:22.

 Abo ‘abaayitibwa, era abaalondebwa,’ okufugira awamu ne Yesu bayitibwa “ekisibo ekitono.” (Okubikkulirwa 17:14; Lukka 12:32) Ekyo kiraga nti omuwendo gwabwe mutono bw’ogugeraageranya ku ndiga za Yesu zonna.​—Yokaana 10:16.

Endowooza enkyamu ku abo abagenda mu ggulu

 Endowooza enkyamu: Abantu bonna abalungi bagenda mu ggulu.

 Ekituufu: Abantu abasinga obungi abalungi, Katonda abasuubiza okubawa obulamu obutaggwaawo ku nsi.​—Zabbuli 37:11, 29, 34.

  •   Yesu yagamba nti: “Tewali muntu yali alinnye mu ggulu.” (Yokaana 3:13) Bwe kityo yalaga nti abantu abalungi abaafa nga tannajja ku nsi, gamba nga Ibulayimu, Musa, Yobu, ne Dawudi, tebaagenda mu ggulu. (Ebikolwa 2:29, 34) Abantu abo bajja kuzuukizibwa babeere ku nsi.​—Yobu 14:13-15.

  •   Okuzuukira ku abo abagenda mu ggulu kuyitibwa ‘okuzuukira okusooka.’ (Okubikkulirwa 20:6) Ekyo kiraga nti waliyo okuzuukira okulala, nga kwe kuzuukira kw’abo abajja okubeera ku nsi.

  •   Bayibuli egamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe buliba bufuga, “okufa tekulibaawo nate.” (Okubikkulirwa 21:3, 4) Ekisuubizo ekyo kijja kutuukirizibwa ku nsi, okuva bwe kiri nti okufa tekubeerangako mu ggulu.

 Endowooza enkyamu: Buli muntu yeesalirawo obanga anaagenda mu ggulu oba anaasigala ku nsi.

 Ekituufu: Katonda y’asalawo ani ku Bakristaayo abeesigwa anaafuna “empeera ey’okuyitibwa okw’omu ggulu,” kwe kugamba, essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu. (Abafiripi 3:14) Okuba nti omuntu ayagala nnyo okugenda mu ggulu, Katonda si ky’asinziirako okumulonda.​—Matayo 20:20-23.

 Endowooza enkyamu: Obulamu obutaggwaawo ku nsi Katonda ajja kubuwa abo bokka abatali batuukirivu nnyo, era batasaana kugenda mu ggulu.

 Ekituufu: Abo abanaafuna obulamu obutaggwaawo ku nsi Katonda abayita ‘bantu bange,’ “abalonde bange,” era “abo Yakuwa be yawa omukisa.” (Isaaya 65:21-23) Bajja kufuna enkizo ey’okuyambako mu kutuukiriza ekigendererwa Katonda kye yalina ng’atonda abantu, kwe kugamba, okuba n’obulamu obutaggwaawo era obutuukiridde, ku nsi erabika obulungi.​—Olubereberye 1:28; Zabbuli 115:16; Isaaya 45:18.

 Endowooza enkyamu: Omuwendo gw’abantu 144,000 ogwogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa gwa kabonero, si gwa ddala.

 Ekituufu: Wadde ng’ekitabo ky’Okubikkulirwa kirimu emiwendo egy’akabonero, emiwendo egimu gya ddala. Ng’ekyokulabirako, kyogera ku ‘mannya 12 ag’abatume 12 ab’Omwana gw’Endiga.’ (Okubikkulirwa 21:14) Ka tulabe kye tusinziirako okugamba nti omuwendo gw’abantu 144,000 gwa ddala.

 Okubikkulirwa 7:4 wagamba nti “abo abaateekebwako akabonero [abaakakasibwa okugenda mu ggulu]; baali 144,000.” Ennyiriri eziddirira zoogera ku muwendo ogw’okubiri: nga kye ‘kibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala.’ Abo abali mu ‘kibiina ekinene’ nabo bafuna obulokozi okuva eri Katonda. (Okubikkulirwa 7:9, 10) Singa omuwendo gw’abantu 144,000 gwa kabonero, era nga nagwo muwendo ogutali mugere, tekyandikoze makulu kulaga nti ebyo bibinja bibiri eby’enjawulo. *

 Okugatta ku ekyo, abantu 144,000 boogerwako ‘ng’abaagulibwa mu bantu okuba ebibala ebibereberye.’ (Okubikkulirwa 14:4) Abantu abo abalonde era abatonotono be bayitibwa “ebibala ebibereberye.” Abo be bajja okugenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu, era bajja kufuga abantu abatamanyiddwa muwendo abajja okubeera ku nsi.​—Okubikkulirwa 5:10.

^ lup. 16 Mu ngeri y’emu, Profesa Robert L. Thomas yawandiika bw’ati ku bantu 144,000 aboogerwako mu Okubikkulirwa 7:4. Yagamba nti: “Omuwendo ogwo mugere, okwawukana ku muwendo ogutali mugere ogwogerwako mu Okubikkulirwa 7:9. Omuwendo ogwo bwe guba ogw’akabonero, kiba kitegeeza nti tewali muwendo gwonna mu kitabo ekyo oguyinza okuba ogwa ddala.”​—Okubikkulirwa 1-7: An Exegetical Commentary, olupapula 474.