Buuka ogende ku bubaka obulimu

Katonda Alina Amannya Ameka?

Katonda Alina Amannya Ameka?

Bayibuli ky’egamba

 Katonda alina erinnya limu lyokka. Mu lulimi Olwebbulaniya liwandiikibwa bwe liti: יהוה era mu luganda lyavvuunulwa nti, “Yakuwa.” * Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Katonda yagamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.” (Isaaya 42:8) Erinnya lino lirabika emirundi nga 7,000 mu biwandiiko bya Bayibuli eby’edda, era emirundi egyo gisingira wala ebitiibwa bya Katonda oba erinnya ly’omuntu omulala yenna ayogerwako mu Bayibuli. *

Yakuwa alina amannya amalala?

 Wadde nga Bayibuli eraga nti Katonda alina erinnya limu lyokka, era eraga nti alina ebitiibwa bingi. Bino wammanga bye bimu ku bitiibwa bya Katonda era nga buli kimu ku bitiibwa ebyo kirina kye kituyigiriza ku Katonda.

Ekitiibwa

We Kisangibwa

Amakulu

Allah

(Tewali)

“Allah” kigambo kya Luwalabu era si linnya lya Katonda, wabula kitiibwa ekitegeeza “Katonda.” Enkyusa za Bayibuli mu Luwalabu ne mu nnimi endala zikozesa ekigambo “Allah” okutegeeza “Katonda.”

Omuyinza w’Ebintu Byonna

Olubereberye 17:1

Alina amaanyi agatenkanika. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ʼEl Shad·daiʹ, ekitegeeza “Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,” kikozesebwa emirundi musanvu mu Bayibuli.

Alufa era Omega

Okubikkulirwa 1:8; 21:6; 22:13

“Olubereberye era enkomerero,” oba “asooka era asembayo,” ekitegeeza nti tewaaliwo Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna eyasooka Yakuwa era tewalibaawo alimuddirira. (Isaaya 43:10) Alufa ye nnukuta esooka mu walifu y’Oluyonaani, ate omega ye nnukuta esembayo.

Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda

Danyeri 7:9, 13, 22

Talina ntandikwa; abaddewo okuva edda n’edda nga tewali muntu yenna eyali abaddewo oba kintu kyonna kyali kibaddewo.​—Zabbuli 90:2.

Omutonzi

Isaaya 40:28

Ye yatonda ebintu byonna.

Kitaffe

Matayo 6:9

Ye yatuwa obulamu.

Katonda

Olubereberye 1:1

Oyo asinzibwa; ow’Amaanyi. Ekigambo ʼElo·himʹ eky’Olwebbulaniya, kyoleka nti Yakuwa Katonda asukkulumye mu buyinza n’ekitiibwa.

Katonda wa bakatonda

Ekyamateeka 10:17

Katonda asukkulumye ku “bakatonda abatalina mugaso” abamu be basinza.​—Isaaya 2:8.

Omuyigiriza Asingiridde

Isaaya 30:20, 21

Atuwa amagezi n’obulagirizi ebituganyula.​—Isaaya 48:17, 18.

Oyo eyatukola

Zabbuli 149:2

Ye yasobozesa ebintu byonna okubaawo.​—Okubikkulirwa 4:11.

Katonda omusanyufu

1 Timoseewo 1:11

Asanyukira ebyo byonna by’akola.​—Zabbuli 104:31.

Oyo awulira awulira okusaba

Zabbuli 65:2

Awulira okusaba kwa buli muntu amusaba ng’alina okukkiriza.

Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera

Okuva 3:14

Afuuka ekyo kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Ebigambo ebyo era bivvuunulwa nti “Nja Kubeera ekyo kyonna kye njagala.” (The Emphasised Bible, eyavvuunulwa J. B. Rotherham) Ebigambo ebyo binnyonnyola amakulu g’erinnya Yakuwa, eriri mu lunyiriri oluddako.​—Okuva 3:15.

Wa buggya

Okuva 34:14, Bayibuli y’Oluganda eya 1968

Tayagala kumugattika na bakatonda balala. Ekigambo ekyo era kyavvuunulwa nti “tayagala kumuvuganya” ne “ayagala abantu okumwemalirako.”​—God’s Word Bible; Enkyusa ey’Ensi Empya.

Kabaka ow’emirembe n’emirembe

Okubikkulirwa 15:3

Obufuzi bwe tebulina ntandikwa wadde enkomerero.

Mukama

Zabbuli 135:5

Nnannyini; mu Lwebbulaniya, ʼA·dhohnʹ ne ʼAdho·nimʹ.

Mukama ow’eggye

Isaaya 1:9; Abaruumi 9:29 Bayibuli y’Oluganda eya 1968

Omuduumizi w’eggye ery’omu ggulu erya bamalayika.

Oyo Asingayo Okuba Waggulu

Zabbuli 47:2

Ali mu kifo ekisingayo okuba ekya waggulu.

Oyo Asingayo Okuba Omutukuvu

Engero 9:10

Y’asingayo okuba omutukuvu era omuyonjo.

Mubumbi

Isaaya 64:8

Alina obuyinza ku bantu ne ku mawanga, ng’omubumbi bw’aba n’obuyinza ku bbumba.​—Abaruumi 9:20, 21.

Omununuzi

Isaaya 41:14

Yanunula abantu okuva mu kibi n’okufa okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu Kristo.​—Yokaana 3:16.

Olwazi

Zabbuli 18:2, 46

Kiddukiro era bulokozi.

Omulokozi

Isaaya 45:21

Atununula okuva mu kabi era atuwonya okuzikirira.

Omusumba

Zabbuli 23:1

Afaayo ku abo abamusinza.

Mukama Afuga Byonna

Olubereberye 15:2

Obuyinza bwe tebuliiko kkomo; mu Lwebbulaniya, ʼAdho·naiʹ.

Oyo Ali Waggulu wa Byonna

Danyeri 7:18, 27

Ye mufuzi asingayo okuba waggulu.

Amannya g’ebifo mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya

 Amannya g’ebifo ebimu mu Bayibuli galimu erinnya lya Katonda. Naye ago si mannya ga Katonda amalala.

Erinnya ly’Ekifo

We Liri

Amakulu

Yakuwa-yire

Olubereberye 22:13, 14

“Yakuwa y’Anaawa.”

Yakuwa-nisi

Okuva 17:15

“Yakuwa kye kikondo kyange.” Yakuwa ye Katonda abantu be gwe basobola okwesiga okubawa obukuumi n’okubayamba.​—Okuva 17:13-16.

Yakuwa-salumu

Ekyabalamuzi 6:23, 24

“Yakuwa Mirembe.”

Yakuwa-samma

Ezeekyeri 48:35, obugambo obuli wansi, American Standard Version

“Yakuwa Ali Omwo.”

Ensonga lwaki tusaanidde okumanya n’okukozesa erinnya lya Katonda

  •   Katonda atwala erinnya lye, Yakuwa, nga kkulu nnyo kubanga yaliwandiisa emirundi nkumi na nkumi mu Bayibuli.​—Malaki 1:11.

  •   Emirundi egiwera, Omwana wa Katonda, Yesu, yalaga obukulu bw’erinnya lya Katonda. Ng’ekyokulabirako, yasaba Yakuwa nti: “Erinnya lyo litukuzibwe.”​—Matayo 6:9; Yokaana 17:6.

  •   Omuntu bw’amanya erinnya lya Katonda era n’atandika okulikozesa, aba atandise okuzimba enkolagana ennungi ne Katonda. (Zabbuli 9:10; Malaki 3:16) Enkolagana eyo emusobozesa okuganyulwa mu kisuubizo kya Katonda kino: “Olw’okuba anjagala, ndimununula. Ndimukuuma kubanga amanyi erinnya lyange.”​—Zabbuli 91:14.

  •   Bayibuli egamba nti: “Waliwo abo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba ku nsi, nga bwe waliwo ‘bakatonda’ abangi ne ‘bamukama’ bangi.” (1 Abakkolinso 8:5, 6) Naye Bayibuli ekyoleka lwatu nti waliwo Katonda omu yekka ow’amazima era nga ye Yakuwa.​—Zabbuli 83:18.

^ lup. 1 Abeekenneenya b’Ebyawandiikibwa abamu Abayudaaya basinga kukozesa “Yahweh.”

^ lup. 1 Ekigambo “Ya,” nga lye linnya Yakuwa mu bufunze, kikozesebwa emirundi nga 50 mu Bayibuli era ng’emirundi egyo gizingiramu n’ekigambo “Aleruuya,” ekitegeeza, “Mutendereze Ya.”​—Okubikkulirwa 19:1.