Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Katonda

 

Katonda y'Ani?

Katonda Alina Erinnya?

Enzivuunula za Bayibuli nnyingi zirimu erinnya lya Katonda. Olowooza kikulu okulikozesa?

Erinnya lya Katonda ye Yesu?

Yesu tagambangako nti ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Lwaki?

Katonda Maanyi Bwanyi?

Bayibuli egamba nti Katonda yakozesa amaanyi ge amangi ennyo okutonda ebintu byonna, naye ddala atufaako?

Katonda Alina Ekifo ky’Abeeramu?

Bayibuli egamba nti Katonda abeera wa? Ne Yesu abeera Katonda gy’abeera?

Bayibuli eyigiriza nti Katonda alimu bakatonda basatu?

Amadiini mangi gayigiriza nti Katonda alimu bakatonda basatu. Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza?

Katonda by'Ayagala

Biki Katonda by’Ayagala Nkole?

Okusobola okumanya ebyo Katonda by’ayagala nkole nnina kusooka kufuna kwolesebwa kuva gy’ali? Laba Bayibuli ky’egamba.

Bayibuli Eyogera Ki ku Ddembe ly’Okwesalirawo? Katonda y’Ategeka Buli Kimu?

Bangi balowooza nti ebyo ebibatuukako Katonda aba yabitegeka dda. Ebyo bye tusalawo biyinza okutuyamba okutuuka ku buwanguzi mu bulamu bwaffe?

Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?

Abantu bonna babonaabona, nga mw’otwalidde n’abo abasiimibwa mu maaso ga Katonda. Lwaki?