Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abazadde Bayinza Batya Okuyigiriza Abaana Baabwe Ebikwata ku by’Okwegatta?

Abazadde Bayinza Batya Okuyigiriza Abaana Baabwe Ebikwata ku by’Okwegatta?

Bayibuli ky’egamba

 Ani asaanidde okuyigiriza abaana ebikwata ku by’okwegatta? Bayibuli eraga nti abazadde be balina obuvunaanyizibwa obwo, era bangi amagezi gano wammanga gabayambye:

  •   Tokwatibwa nsonyi. Bayibuli eyogera kaati ku by’okwegatta ne ku bitundu by’omubiri eby’ekyama, era Katonda yalagira Abayisirayiri okuyigiriza “abaana” ebikwata ku kwegatta. (Ekyamateeka 31:12; Eby’Abaleevi 15:​2, 16-​19) Osobola okukozesa ebigambo ebitaleetera mwana kukwatibwa nsonyi ng’oyogera naye ku by’okwegatta oba bitundu eby’ekyama.

  •   Bayigirize okusinziira ku myaka gyabwe. Mu kifo ky’okulinda abaana bo okuvubuka n’obabuulira omulundi gumu byonna ebikwata ku by’okwegatta, bayigirizenga bitonotono okusinziira ku myaka gyabwe.​—1 Abakkolinso 13:11.

  •   Bayigirize emitindo egikwata ku mpisa. Amasomero agamu gayinza okuba nga gayigiriza abaana ebikwata ku by’okwegatta. Kyokka, Bayibuli tekoma ku kukubiriza bazadde kuyigiriza baana baabwe ebikwata ku by’okwegatta, naye era ebakubiriza n’okuyigiriza abaana okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku by’okwegatta n’okuba n’empisa ennungi.​—Engero 5:​1-​23.

  •   Wuliriza bulungi omwana wo. Omwana bw’atandika okukubuuza ebikwata ku by’okwegatta, tomukambuwalira era tolowooza nti ayonoonese. Mu kifo ky’ekyo, beera ‘mwangu okuwuliriza, era olwewo okwogera.’​—Yakobo 1:​19.

Engeri gy’oyinza okukuumamu omwana wo okuva eri abo abakasabanya abalala

Yigiriza omwana wo engeri gy’ayinza okuziyizaamu oyo akabasanya abalala bw’aba ng’ayolekaganye naye

  •   Sooka weeyigirize. Manya obukodyo abo abakabasanya abaana bwe bakozesa.​—Engero 18:15; laba essuula 32 ey’akatabo Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo 1.

  •   Faayo nnyo okumanya ebikwata ku mwana wo. Omwana wo tomala gamuwa muntu gw’oteesiga bulungi, era tokuza mwana wo nga tagambwako.​—Engero 29:15.

  •   Yamba omwana wo okumanya baani b’asaanidde okugondera. Abaana balina okuyiga okugendera bazadde baabwe. (Abakkolosaayi 3:​20) Kyokka, bw’oyigiriza omwana wo nti alina kugondera buli muntu yenna omukulu, oba omutadde mu mbeera enzibu. Abazadde Abakristaayo bayinza okuyigiriza omwana waabwe nti, “Omuntu yenna bw’akugamba okukola ekintu Katonda ky’atayagala, tokkiriza.”​—Ebikolwa 5:​29.

  •   Mwegezeemu ku bintu omwana by’ayinza okukola okwekuuma. Yamba omwana wo okumanya ky’ayinza okukola singa wabaawo omuntu ayagala okumukolako eby’ensonyi. Okwegezaamu kuyinza okuyamba omwana wo okufuna obuvumu okugamba omuntu nti “Ekyo kibi! Nja kukuloopayo!” era n’aviira omuntu oyo mu bwangu. Kiyinza okukwetaagisa ‘okunyiikiriranga’ okujjukiza abaana bo kubanga beerabira mangu.​—Ekyamateeka 6:7.