EBIBUUZO BAYIBULI BY’EDDAMU

Empisa

Luganda
Empisa
https://cms-imgp.jw-cdn.org/img/p/1011202/univ/art/1011202_univ_sqr_xl.jpg

Empisa

Obufumbo n'Amaka

Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba Okuba n’Amaka Agalimu Essanyu?

Amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli gayambye abasajja n’abakazi bukadde na bukadde okufuna essanyu mu maka gaabwe.

Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?

Emisingi gya Bayibuli gisobola okuyamba abafumbo okwewala ebizibu n’okubigonjoola.

Bayibuli Eyogera ki ku Musajja n’Omukazi Okubeera Bombi nga si Bafumbo?

Obulagirizi bwa Katonda butuyamba okuba n’amaka amanywevu, era emitindo gye bulijjo kuganyula abo abagigoberera.

Ddala Bayibuli Erina ky’Eyogera ku Kugattibwa kw’Abantu Abafaanaganya Ekikula?

Oyo eyatandikawo obufumbo amanyi ekisobola okuyamba obufumbo okuwangaala n’okubaamu essanyu.

Ddala Bayibuli Ekkiriza Okugattululwa?

Laba ekyo Katonda ky’akkiriza ne kyatakkiriza.

Ddala Kikkirizibwa Okuba n’Abakazi oba Abasajja Abasukka mu Omu?

Katonda ye yatandikawo enkola ey’okuwasa abakazi oba abasajja abasukka mu omu? Laba ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ky’okuwasa abakazi abasukka mu omu.

Bayibuli Eyogera Ki ku ky’Abantu aba Langi ez’Enjawulo Okufumbiriganwa?

Laba ebyawandiikibwa ebituyamba okumanya endowooza Katonda gy’alina ku ky’abantu aba langi ez’enjawulo okufumbiriganwa.

Bayibuli Eyogera ki ku Kulabirira Abazadde Abakaddiye?

Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi abaalina okukkiriza abaalabirira bazadde baabwe. Ate era erimu amagezi agasobola okuyamba abo ababalabirira.

Okwegatta

Bayibuli Eyogera Ki ku Kulya Ebisiyaga?

Katonda alina ndowooza ki ku kulya ebisiyaga? Ddala omuntu eyeegomba okwegatta n’abo b’afaanaya nabo ekikula asobola okusanyusa Katonda?

Bayibuli Eyogera Ki ku Bifaananyi eby’Obuseegu? Kikyamu Okuweerezeganya Mesegi oba Ebifaananyi Ebikwata ku Kwegatta ku Intaneeti?

Eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’okwegatta bicaase nnyo. Ekyo kitegeeza nti eby’okwesanyusaamu ebyo bikkirizibwa?

Ddala Bayibuli Egaana Abantu Okwegatta?

Omuntu bwe yeegatta aba akoze kibi?

Ddala Abakristaayo Basaanidde Okukozesa Enkola Ezigema Okuzaala?

Bwe kituuka ku kukozesa enkola ezigema okuzaala, waliwo amateeka mu Bayibuli abafumbo ge balina okulowoozaako?

Nnyinza Ntya Okwekuuma Abo Abakabasanya Abalala?

Amagezi ga mirundi musanvu ageesigamiziddwa ku Bayibuli gasobola okukuyamba okwewala okukabasanyizibwa.

Abazadde Bayinza Batya Okuyigiriza Abaana Baabwe Ebikwata ku by’Okwegatta?

Bayibuli erimu amagezi agasobola okukuyamba okwogera n’abaana bo ku by’okwegatta era n’engeri gy’oyinza okubayambamu okwewala abo abayinza okubakabasanya.

Okusalawo

Kiba Kikyamu Omukristaayo Okufuna Obujjanjabi?

Obujjanjabi bwe tulondawo bulina kye bukola ku nkolagana yaffe ne Katonda?

Bayibuli Eyogera ki ku Kuteekebwako Omusaayi?

Okusinziira ku Bayibuli, Katonda yalagira abantu ‘okwewala omusaayi.’ Ekiragiro ekyo kitukwatako kitya leero?

Bayibuli Eyogera ki ku Kuggyamu Embuto?

Obulamu bw’omuntu butandika ddi? Katonda asobola okusonyiwa omuntu eyaggyamu olubuto?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kwekuba Ttatu?

Owulira ng’oyagala okwekuba ttatu? Magezi ki agali mu Bayibuli g’osaanidde okulowoozaako?

Okunywa Sigala Kibi mu Maaso ga Katonda?

Bwe kiba nti okunywa sigala tekyogerwako mu Bayibuli, kisoboka okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo?

Bayibuli Eyogera Ki ku Ddembe ly’Okwesalirawo? Ddala Katonda y’Ategeka Buli Ekikutuukako?

Bangi balowooza nti ebyo ebibatuukako Katonda aba yabitegeka dda. Ebyo bye tusalawo biyinza okutuyamba okutuuka ku buwanguzi mu bulamu bwaffe?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kugaba?

Kugaba kwa ngeri ki okusanyusa Katonda?