‘Okusuubira Kye Tutalabako’
Yobu, omusajja ayogerwako mu Bayibuli, yafuna ebizibu eby’amaanyi ennyo ebyagezesa obwesigwa bwe eri Yakuwa. Laba amaka agamu ag’omu kiseera kyaffe ge tujja okuyita amaka ga Bannister, nga bayita mu bizibu eby’amaanyi ebiringa ebyo Yobu ye yayitamu. Weetegereze ekyabayamba okusigala nga beesigwa eri Yakuwa n’obutaggwaamu suubi.

