‘Okusuubira Kye Tutalabako’
Sitaani ayagala tulekere awo okubeera abeesigwa eri Yakuwa era ayagala tuggweemu essuubi. Tuyinza tutya okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’obutaggwaamu maanyi?
‘Okusuubira Kye Tutalabako’ —Ennyanjula
Amaka agamu gafuna ebizibu ebiringa ebyo ebyatuuka ku musajja ayogerwako mu Bayibuli ayitibwa Yobu. Okufaananako ab’omu maka gano, naffe bwe tufuna ebizibu ebigezesa okukkiriza kwaffe, Yakuwa asobola okutuyamba okubivvuunuka.
‘Okusuubira Kye Tutalabako’
Vidiyo eno ejja kukuyamba okubeera omumalirivu okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa n’okunyweza essuubi ly’olina.

