Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ENSI EJJUDDE EBIZIBU

1 Kuuma Obulamu Bwo

1 Kuuma Obulamu Bwo

LWAKI KIKULU?

Ekizibu eky’amaanyi oba akatyabaga, biyinza okukosa obulamu bw’abantu mu ngeri ez’enjawulo.

  • Abantu bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi oluusi bibaviirako okwennyamira, era bwe baba mu mbeera eyo okumala ekiseera, kiyinza n’okubaviirako okulwala.

  • Ebizibu eby’amaanyi, gamba ng’obutyabaga n’endwadde biyinza okuviirako n’amalwaliro okuba nga tegakyalina ddagala limala.

  • Ebizibu biyinza okukosa abantu mu by’enfuna ne baba nga tebakyalina ssente zimala okukozesa ku bintu ebikulu, gamba ng’okugula emmere ey’omugaso eri obulamu bwabwe oba okufuna obujjanjabi.

Bye Weetaaga Okumanya

  • Obulwadde obw’amaanyi n’okwennyamira biyinza okukuviirako okusalawo obubi, n’olekera awo okukola ebintu eby’omugaso eri obulamu bwo. N’ekivaamu, oyinza okweyongera okulwala.

  • Bwe baba tebakujjanjabye, obulwadde obwo buyinza okweyongera ne kikuviirako n’okufiirwa obulamu bwo.

  • Bw’oba omulamu obulungi, kijja kukuyamba okusalawo obulungi ng’ofunye ekizibu.

  • K’obe ng’oli mugagga oba ng’oli mwavu, waliwo by’osobola okukola okusobola okukuuma obulamu bwo.

By’Osobola Okukola Kati

Omuntu ow’amagezi alowooza ku bizibu ebiyinza okubaawo era bwe kiba kisoboka abaako ky’akolawo okubyewala. Ekyo kikwata ne ku bulamu bwaffe. Ebiseera ebisinga osobola okwewala okufuna endwadde ng’ofuba okuba omuyonjo. Okuziyiza kusinga okuwonya.

“Bwe twekuuma nga tuli bayonjo era ne tuyonja n’ebifo we tubeera, kituyamba obutamalira ssente mu malwaliro.”​—Andreas. *

^ Amannya agamu mu katabo kano gakyusiddwa.