Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Alhazen

Alhazen

OYINZA okuba nga towulirangako ku musajja ayitibwa Abū ‘Alī al-Ḥasan ibn al-Haytham. Mu nsi za Bulaaya omusajja oyo amanyiddwa nga Alhazen, nga lino lye linnya al-Hasan mu Lulattini. Naye ebintu bye yakola bikuganyula leero. Kigambibwa nti omusajja oyo “y’omu ku bantu abakyasinzeeyo okuvumbula ebintu ebiganyudde ennyo bannassaayansi.”

Alhazen yazaalibwa mu Basra, kati ekisangibwa mu Iraq, awo nga mu mwaka gwa 965 E.E. Yali yettanira nnyo ebikwata ku bwengula, ku ssaayansi, ku kubala, ku by’obujjanjabi, ku kuyimba, ku nkola y’ebirawuli, ne ku bitontome. Naye kiki ky’ajjukirwako ennyo?

EBBIBIRO KU MUGGA KIYIRA

Waliwo ekintu Alhazen kye yakola ekimanyiddwa ennyo. Kikwata ku ntegeka gye yalina ey’okubibira amazzi g’Omugga Kiyira. Waayita emyaka nga 1,000 ekyo kye yali ayagala okukola ne kikolebwa, ebbibiro lye Aswân bwe lyazimbibwa mu 1902.

Kigambibwa nti Alhazen yalina enteekateeka ey’okubibira amazzi g’Omugga Kiyira kisobozese okukendeeza ku mataba n’ekyeya ebyali bitawaanya ensi ya Misiri. Omufuzi w’ekibuga Cairo eyali ayitibwa Caliph al-Hakim, bwe yawulira ku nteekateeka Alhazen gye yalina, yamuyita ajje e Misiri azimbe ebbibiro. Naye Alhazen bwe yatuuka e Misiri n’alaba omugga ogwo, yakirabirawo nti omulimu ogwo yali tajja kugusobola. Olw’okuba yali atya okuttibwa omufuzi oyo eyali ow’omutawaana ennyo, Alhazen yeefuula ng’omulalu okutuusa omufuzi oyo lwe yafa mu 1021, nga wayise emyaka 11. Ekiseera kye yamala nga yeefudde ng’omulalu, yali akuumibwa mu kifo ekimu. Era ekiseera ekyo yakikozesa okuvumbula ebintu ebirala.

EKITABO EKIKWATA KU KUKOLA EBIRAWULI

Alhazen we yaviira mu ddwaliro, yali amaze okuwandiika mingi ku mizingo omusanvu egy’ekitabo kye ekikwata ku nkola y’ebirawuli, era ekitabo ekyo kitwalibwa okuba ekimu ku bitabo ebisingayo okuba eby’omugaso mu byafaayo bya ssaayansi. Mu kitabo ekyo yawandiika ku bintu ebitali bimu ebikwata ku kitangaala, nga muno mwe muli engeri ekitangaala gye kyegabanyaamu okukola langi ez’enjawulo, engeri gye kigwa ku ndabirwamu ne kikola ekimyanso, n’engeri gye kikyukamu nga kiyise mu kintu ekimu okudda mu kirala. Era yawandiika ku ngeri amaaso gye galabamu n’engeri gye gaakulamu.

Ekyasa ekya 13 we kyatuukira, ekitabo kya Alhazen kyali kivvuunuddwa okuva mu Luwalabu okudda mu Lulattini, era okumala ebyasa bingi Bannassaayansi ab’omu Bulaaya baakikozesanga okunoonyereza. Ebyo Alhazen bye yawandiika ebikwata ku nkola y’ebirawuli eby’enjawulo byayamba nnyo abakozi ba galubindi mu Bulaaya okuvumbula ebyuma ebirengera ewala n’ebyo ebizimbulukusa. Ekyo baakikola nga baddira ekirawuli ekimu nga bakiteeka mu maaso g’ekirawuli ekirala.

ENKOLA YA KAMERA

Alhazen yavumbula amateeka agagobererwa mu kukola kamera bwe yakola abamu kye bayita kamera eyasooka. Kamera eyo kyali kisenge ekikutte enzikiza. Ekisenge ekyo kyali kiyingiramu ekitangaala ekyali kiyita mu katuli akenkana ppini. Ekitangaala ekyo bwe kyakuba ku kimu ku bisenge by’ekisenge ekyo, ebifaananyi by’ebintu ebyali wabweru byalabika munda ku kisenge ekyo nga byesulise.

Alhazen atwalibwa okuba nga ye yakola kamera eyasooka

Mu myaka gya 1800 obubaati obw’ekika eky’enjawulo bwateekebwa mu kamera eyo nga busobola okukwata ebifaananyi ne bisigalako. Bw’etyo kamera bwe yavumbulwa. Kamera zonna eziriwo mu kiseera kino awamu n’amaaso gaffe bikozesa enkola y’emu ng’eya kamera Alhazen gye yavumbula. *

ENKOLA EGOBERERWA MU SSAAYANSI

Ekimu ku bintu ebyewuunyisa ku Alhazen kwe kuba nti yafangayo nnyo okunoonyereza n’obwegendereza ku bikwata ku nkola y’ebintu ebiri mu butonde. Ekyo tekyali kya bulijjo mu kiseera ekyo. Alhazen y’omu ku bantu abaasooka okukozesa enkola ey’okugezesa ebintu ebitali bimu okusobola okukakasa obanga bituufu. Teyatyanga na kunoonyereza ku bintu abantu bangi bye baabanga batwala nti bituufu ng’ate tewali bukakafu bulaga nti bituufu.

Mu bufunze tuyinza okugamba nti enkola egobererwa bannassaayansi leero y’eno: “Olina okuwa obukakafu ku ekyo ky’okkiriza!” Abamu batwala Alhazen okuba oyo “eyatandikawo enkola egobererwa mu ssaayansi.” Era ekyo kye kintu ky’ajjukirwako ennyo.

^ lup. 13 Okufaanagana okuliwo wakati w’enkola ya kamera n’ey’eriiso kwali tekumanyiddwa bulungi mu Bulaaya okutuusa mu kyasa ekya 17 munnassaayansi ayitibwa Johannes Kepler bwe yakunnyonnyola.