Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 3 2021 | Okkiriza nti Eriyo Omutonzi?​—Laba Obukakafu

Abantu bangi balina endowooza za njawulo ku ngeri obwengula, ensi, n’ebintu ebiramu ebigiriko gye byajjawo. Magazini eno eya Zuukuka! egenda kukuyamba okulaba obukakafu obukwata ku nsonga eyo, ggwe kennyini weesalirewo. Ensi n’obwengula byajjawo byokka, oba waliwo eyabitonda? Ojja kuganyulwa nnyo bw’onoomanya eky’okuddamu.

 

Oyinza Kusalawo Otya?

Abantu bangi beebuuza wa obwengula, ensi, n’ebintu ebiramu ebigiriko gye byava.

Bye Tuyigira ku Bintu Ebiri mu Bwengula

Engeri ensi n’obwengula gye byakulamu birabika ng’ebyateekebwawo okusobozesa ebintu ebiramu okubaawo. Kyandiba nti waliwo eyabitonda?

Bye Tuyigira ku Bintu Ebiramu

Ebintu ebiramu bifuula ensi yaffe okuba ng’erabika bulungi. Ebyo bye tuyiga ku biramu biraga nti ebiramu byava wa?

Bannassaayansi Bye Batasobola Kutubuulira

Ssaayansi asobodde okutubuulira wa ensi n’obwengula gye byava?

Bayibuli ky’Egamba

Bayibuli ky’egamba kikwatagana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde?

Kikulu Okumanya Obanga Eriyo Omutonzi

Bw’okkiriza nti Katonda gy’ali, ojja kuganyulwa kati ne mu biseera eby’omu maaso.

Funa Obukakafu

Ggwe kennyini weekakasize obanga ddala eriyo Omutonzi.