ZUUKUKA Na. 3 2019 | Bayibuli Esobola Okukuyamba Okuba n’Obulamu Obulungi?

Okumala ebyasa bingi, Bayibuli ezze eyamba abantu okuba n’obulamu obulungi. Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okukuyamba mu bulamu obwa bulijjo.

Ekitabo eky’Edda Ekikyali eky’Omugaso ne Leero

Lowooza ku ebyo abantu abamu bye boogera ku ngeri gye baganyuddwa mu kusoma Bayibuli n’okukolera ku magezi agagirimu.

Okuba Abalamu Obulungi mu Mubiri

Bayibuli etukubiriza okufaayo ku mibiri gyaffe.

Okuba n’Enneewulira Ennungi

Kituganyula nnyo bwe tuyiga okufuga obusungu.

Okuba n’Obulamu bw’Amaka Obulungi n’Emikwano Eminywevu

Emikwano emirungi tegirowooza nnyo ku kuweebwa wabula ku kuwa.

Okukozesa Obulungi Ssente

Amagezi agali mu Bayibuli gayinza gatya okukuyamba okukozesa obulungi ssente?

Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Katonda

Emitindo gya Katonda n’amagezi agali mu Bayibuli bisobola okukuyamba okuba n’obulamu obulungi. Laba engeri ekyo gye kisobokamu.

Ekitabo Ekisingayo Okuba eky’Omugaso

Okunoonyereza kulaga nti Bayibuli kye kitabo ekikyasinzeeyo okukubibwa n’okubunyisibwa.

Ebiri mu Magazini Eno: Bayibuli Esobola Okukuyamba Okuba n’Obulamu Obulungi?

Bayibuli erimu amagezi amalungi agatuyamba mu bulamu obwa bulijjo.