Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bwe mukolera awamu mu bufumbo muba ng’abavuzi b’ennyonyi ababiri abakolera awamu

ABAFUMBO

2: Okukolera Awamu

2: Okukolera Awamu

KYE KITEGEEZA

Omwami n’omukyala bwe baba nga bakolera wamu, baba ng’omuvuzi w’enyonyi akolera awamu ne muvuzi munne, nga bavuga ennyonyi. Ne bwe wajjawo ebizibu, buli omu ku bafumbo alowooza ku ngeri bombi gye banaakolera awamu okubigonjoola so si ku ngeri ye gy’anaabigonjoolamu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Tebakyali babiri, wabula bali omubiri gumu.’​—Matayo 19:6.

“Okusobola okuba abasanyufu mu bufumbo bwabwe, omwami n’omukyala basaanidde okukolera awamu.”​—Christopher.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Omwami n’omukyala abatakolera wamu bwe bafuna ebizibu buli omu aba alumiriza munne mu kifo ky’okulaba engeri gye balina okubigonjoolamu. N’obusonga obutonotono buzimbulukuka.

“Okukolera awamu kintu kikulu nnyo mu bufumbo. Singa nze n’omwami wange twali tetukolera wamu, twandibadde ng’abantu ababiri abatali bafumbo ababeera mu nju emu, era twandibadde tukaluubirirwa okusalawo ku bintu ebikulu.”​—Alexandra.

KY’OYINZA OKUKOLA

WEEKEBERE

  • Ssente ze nfuna nzitwala ng’ezange nzekka?

  • Okusobola okuwummula obulungi, kiba kinneetaagisa okuba nga ssiri na mukyala wange oba na mwami wange?

  • Sseewa baŋŋanda za mwami wange oba mukyala wange wadde nga ye alina enkolagana ey’oku lusegere nabo?

KUBAGANYA EBIROWOOZO N’OMWAMI WO OBA NE MUKYALA WO KU BIBUUZO BINO

  • Bintu ki bye tukolera awamu ng’abafumbo?

  • Wa we twetaaga okulongoosaamu?

  • Biki bye tusaanidde okukola okwongera okukolera awamu?

AMAGEZI

  • Kuba akafaananyi nga muzannya omuzannyo gwa ttena nga buli omu ali ku luuyi lulala. Kati mwebuuze, biki bye tusobola okukola okuba nga ffembi tuli mu ttiimu emu era nga tuli ku luuyi lwe lumu?

  • Mu kifo ky’okulowooza ku ngeri ggwe gy’oyinza okuwangulamu lowooza ku ngeri mwembi gye muyinza okuwangulamu?

Weewale okulumiriza munno nti ye mukyamu, ggwe mutuufu. Ekyo tekisinga kuba na mirembe na bumu mu bufumbo bwammwe.​—Ethan.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Nga temufaayo ku byammwe byokka naye nga mufaayo ne ku by’abalala.”​—Abafiripi 2:3, 4.