Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebinaakuyamba Okuba Omusanyufu era Omumativu

Ebinaakuyamba Okuba Omusanyufu era Omumativu

Ffenna, ka tube bafumbo oba nga tetuli bafumbo, ka tube bato oba bakulu, twagala okuba abasanyufu era nga tuli bamativu. Ekyo Omutonzi waffe naye ky’atwagaliza. N’olwekyo atuwa amagezi agasobola okutuyamba okuba abasanyufu.

Beera Mukozi Munyiikivu

“Afube okukola emirimu, ng’akola emirimu emirungi n’emikono gye asobole okubaako ky’ayinza okuwa omuntu ali mu bwetaavu.”​—ABEEFESO 4:28.

Omutonzi Waffe atukubiriza okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kukola. Lwaki? Omuntu akola emirimu n’obunyiikivu aba musanyufu kubanga aba asobola okweyimirizaawo era n’okulabirira ab’omu maka ge. Aba asobola n’okulabirira abo abali mu bwetaavu. Ate era ne mukama we aba amwagala nnyo. N’olwekyo, omukozi omulungi ayinza obutafiirwa mulimu gwe. Bayibuli eyogera ku birungi omuntu by’afuna mu mulimu gwe ‘ng’ekirabo ekiva eri Katonda.’​—Omubuulizi 3:13.

Beera Mwesigwa

“Tumanyi nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo, era twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—ABEBBULANIYA 13:18.

Bwe tuba abeesigwa, tuba n’emirembe mu mutima era tuwoomerwa otulo. Okugatta ku ekyo, abalala baba batwesiga era nga batuwa ekitiibwa. Omuntu atali mwesigwa aba yeefiiriza ebintu ebyo ebirungi. Ate era omutima guba gumulumiriza era buli kiseera aba mu kutya nti lumu bayinza okukizuula nti si mwesigwa.

Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Ssente

“Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina.”​—ABEBBULANIYA 13:5.

Twetaaga ssente okusobola okugula emmere n’ebintu ebirala bye twetaaga mu bulamu. Kyokka, okwagala ennyo ssente kisobola okuba eky’obulabe. Kisobola okuleetera omuntu okukozesa ebiseera bye byonna n’amaanyi ge gonna okunoonya ssente. Ekyo kiyinza okuviirako obufumbo bwe okubaamu ebizibu, obutafuna budde kubeerako na baana be, era ayinza n’okulwala. (1 Timoseewo 6:9, 10) Ate era, okwagala ennyo ssente kiyinza okuviirako omuntu obutaba mwesigwa. Omusajja omu ow’amagezi yagamba nti: “Omuntu omwesigwa anaafunanga emikisa mingi, naye oyo ayagala okugaggawala amangu taaleme kubaako kya kunenyezebwa.”​—Engero 28:20.

Funa Obuyigirize Obusingayo Obulungi

“Amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi tobiganyanga kukuvaako.”​—ENGERO 3:21.

Bwe tufuna obuyigirize obulungi, kituyamba okuba abantu ab’obuvunaanyizibwa era abazadde abalungi. Naye okufuna obuyigirize obulungi ku bwakyo tekitegeeza nti tujja kuba basanyufu era bamativu mu bulamu. Okusobola okutuuka ku buwanguzi mu mbeera zonna ez’obulamu, twetaaga okuyigirizibwa Katonda. Bayibuli bw’eba eyogera ku muntu ayiga ebikwata ku Katonda era n’abikolerako, egamba nti: “Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.”​—Zabbuli 1:1-3.