Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKKUBO ERIREETA ESSANYU

Ekkubo Erireeta Essanyu

Ekkubo Erireeta Essanyu

OWULIRA NG’OLI MUSANYUFU? Bwe kiba kityo, kiki ekikuleetera essanyu? Maka go, mulimu gwo, oba ddiini yo? Oboolyawo waliwo ekintu kye weesunga okufuna oba okutuukako mu kiseera ekitali kya wala, gamba ng’okumaliriza emisomo gyo, okufuna omulimu omulungi, oba okugula emmotoka empya.

Abantu bangi basanyuka bwe babaako ekintu kye batuuseeko oba bwe bafuna ekintu kye babadde baagala. Naye essanyu eryo limala bbanga ki? Emirundi mingi liba lya kaseera buseera, ekintu ekimalamu amaanyi.

Essanyu nneewulira ereetera omuntu okuwulira obulungi, okuwulira nti mumativu, n’okuwulira nti anyumirwa obulamu. Omuntu alina essanyu, aba awulira ng’ayagala asigale mu mbeera eyo.

Ate era essanyu linnyonnyolwa ng’olugendo, so si ng’ekiruubirirwa omuntu ky’atuukako n’amala. N’olwekyo, omuntu okugamba nti, “Nja kuba musanyufu singa . . . ”, aba ayongezaayo ekiseera w’anaafunira essanyu.

Okusobola okutegeera ensonga eno, geraageranya essanyu ku kuba omulamu obulungi. Kiki ekiyamba omuntu okuba omulamu obulungi? Alina okuba ng’atambuza obulamu bwe mu ngeri ennungi, kwe kugamba, nga bulijjo afuba okulya emmere ey’omugaso eri omubiri, akola dduyiro, era nga yeewala ebintu ebikosa obulamu. Bwe kityo bwe kiri ne ku ssanyu. Omuntu okuba omusanyufu bulijjo aba alina okutambuliza obulamu bwe ku magezi amalungi.

Magezi ki oba bintu ki ebisobola okuyamba omuntu okuba omusanyufu? Waliwo ebintu ebitali bimu, era bino wammanga bye bimu ku byo:

  • OKUBA OMUMATIVU N’OKUBA OMUGABI

  • OKUBA OMULAMU OBULUNGI N’OKUGUMIRA EMBEERA

  • OKWAGALA

  • OKUSONYIWA

  • OKUBA N’EKIGENDERERWA MU BULAMU

  • ESSUUBI

Ekitabo ekimu ekyesigika kigamba nti: “Balina essanyu abo abataliiko kya kunenyezebwa mu bulamu bwabwe [oba mu kkubo lyabwe].” (Zabbuli 119:1) Kati ka tulabe ebintu ebisobozesa omuntu okuba omusanyufu.