Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KISOBOKA OKUTEGEERA BAYIBULI?

Kisoboka Okutegeera Bayibuli

Kisoboka Okutegeera Bayibuli

Bayibuli yawandiikibwa dda nnyo. Yatandika okuwandiikibwa mu Buwalabu emyaka nga 3,500 emabega. Mu kiseera ekyo, obwakabaka obuyitibwa Shang dynasty we bwabeererawo mu China, era waayitawo emyaka nga lukumi enzikiriza ya Bbuda n’eryoka etandikibwawo mu Buyindi.—Laba akasanduuko “ By’Osaanidde Okumanya ku Bayibuli.”

Bayibuli eddamu ebibuuzo abantu bangi bye batera okwebuuza

Ekitabo bwe kiba eky’okuganyula abantu, kirina okuba nga kyangu okutegeera era ng’ebikirimu bikwata ku bulamu bwabwe. Bayibuli bw’etyo bw’eri. Eddamu ebibuuzo bye tutera okwebuuza mu bulamu.

Ng’ekyokulabirako, wali weebuuzizzaako nti, ‘Lwaki twatondebwa?’ Abantu bamaze emyaka nkumi na nkumi nga beebuuza ekibuuzo ekyo. Kyokka ekibuuzo ekyo kiddibwamu mu ssuula ebbiri ezisooka mu kitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye. Mu ssuula ezo, Bayibuli eyogera ku ebyo ebyaliwo ku “lubereberye,” emyaka buwumbi na buwumbi emabega; ekiseera ebintu byonna lwe byatondebwa nga mw’otwalidde ensi, n’emmunyeenye. (Olubereberye 1:1) Ate era, Bayibuli ennyonnyola engeri Katonda gye yateekateekamu ensi esobole okubeerako ebintu ebiramu, engeri abantu gye baatondebwamu, era n’ensonga lwaki baatondebwa.

YAWANDIIKIBWA MU NGERI ETEGEEREKEKA OBULUNGI

Bayibuli erimu obulagirizi obutuyamba okugonjoola ebizibu bye tufuna, era obulagirizi obwo butegeerekeka bulungi. Ekyo kiri bwe kityo lwa nsonga bbiri.

Esooka, abaawandiika Bayibuli baakozesa ebigambo ebyangu okusoma n’okutegeera. Mu kifo ky’okukozesa ebigambo ebitategeerekeka, baakozesa ebigambo bye tutegeera obulungi. N’ebintu ebyandibadde ebizibu okutegeera baabinnyonnyola nga bakozesa ebigambo ebya bulijjo era ebyangu okutegeera.

Okugeza, Yesu yakozesa ebyokulabirako abantu bye baali bamanyi obulungi, bye yali abayigiriza bisobole okubatuuka ku mitima. Ebimu ku byokulabirako bye yakozesa bisangibwa mu Njiri ya Matayo, mu ssuula 5 okutuuka ku 7. Omuwandiisi omu yagamba nti ebigambo bya Yesu ebyo “bya muganyulo nnyo gye tuli,” era n’agamba nti ekigendererwa kyabyo “si kutubuulira bigambo bingi, wabula okutulaga engeri gye tusaanidde okweyisaamu.” Ebigambo ebyo osobola okubisoma mu ddakiika 15 oba 20 zokka, kyokka ojja kukiraba nti byangu okutegeera era birimu eby’okuyiga bingi.

Ekintu ekirala ekifuula Bayibuli okuba ennyangu bye bintu by’eyogerako. Bayibuli teri ng’ebitabo eby’enfumo. Ekitabo ekiyitibwa The World Book Encyclopedia kigamba nti, ebintu ebisinga mu Bayibuli ‘bikwata ku bantu ab’ebitiibwa n’abantu aba bulijjo, ebizibu bye baayitamu, essuubi lye baalina, obunafu bwabwe, n’ebyabaleeteranga essanyu.’ N’olwekyo, kyangu okutegeera ebikwata ku bantu abo era n’okumanya bye tuyinza okubayigirako.Abaruumi 15:4.

BULI MUNTU ASOBOLA OKUGIFUNA

Omuntu okusobola okutegeera ebiri mu kitabo, kirina okuba nga kyawandiikiddwa mu lulimi lw’amanyi. Leero kumpi buli muntu asobola okusoma Bayibuli mu lulimi lw’ategeera obulungi k’abeere mu kitundu ki eky’ensi. Ekyo kisobose kitya?

Okuvvuunula. Bayibuli yasooka kuwandiikibwa mu Lwebbulaniya, mu Lulamayiki, ne mu Luyonaani. Olw’ensonga eyo, bantu batono nnyo abaali basobola okugisoma. Abantu aboogera ennimi endala okusobola okugisoma, kyali kyetaagisa okugivvuunula. Olw’omulimu ogw’ettendo abavvuunuzi gwe bakoze, leero waliwo Bayibuli mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi nga 2,700. Kino kitegeeza nti abantu abasukka mu 90 ku buli 100 basobola okusoma Bayibuli mu lulimi lwabwe.

Okukuba mu kyapa. Bayibuli yasooka kuwandiikibwa ku bintu ebyonooneka amangu gamba nga ku maliba ne ku bitoogo. Okusobola okukakasa nti obubaka obuli mu Bayibuli bukuumibwa, Bayibuli yakoppololwanga n’obwegendereza. Ebiwandiiko ebyo byabanga bya bbeeyi era abantu abaali basobola okubigula baabanga batono. Naye Johannes Gutenberg bwe yayiiya ekyuma ekikuba ebitabo emyaka egisukka mu 550 egiyise, Bayibuli yeeyongera okubunyisibwa. Okusinziira ku kunoonyereza okumu, Bayibuli ezikubiddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu zisukka mu buwumbi butaano.

Teri kitabo kirala kya ddiini kye tuyinza kugeraageranya ku Bayibuli bwe tulowooza ku bintu ebyo. Mu butuufu, engeri Bayibuli gye yawandiikibwa etusobozesa okutegeera ebigirimu. Kyokka oluusi kiyinza okukuzibuwalira okutegeera ebiri mu Bayibuli. Naye obuyambi oyinza kubuggya wa? Onooganyulwa otya bw’onoosoma Bayibuli? Weeyongere okusoma akatabo kano ofune eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.