OMUNAALA GW'OMUKUUMI Noovemba 2015 | Katonda Alina Ndowooza Ki ku Ntalo?

Engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo eyinza okukwewuunyisa.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Katonda Alina Ndowooza Ki ku Ntalo?

Mu biseera by’edda, Katonda yagamba abantu be okulwana entalo. Oluvannyuma, Yesu yayigiriza abantu okwagalanga abalabe baabwe. Endowooza ya Katonda ku ntalo yakyuka?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Endowooza Katonda gye Yalina ku Ntalo mu Biseera by’Edda

Ebintu bisatu kwe tutegeerera entalo Katonda ze yawagiranga.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Endowooza Katonda gye Yalina ku Ntalo mu Kyasa Ekyasooka

Wadde ng’endowooza ya Katonda ku ntalo teyakyuka, ebyo ebyaliwo biraga nti waliwo ekyali kikyuse.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Endowooza Katonda gy’Alina ku Ntalo mu Kiseera Kino

Katonda anaatera okulwana olutalo olujja okukomya entalo zonna.

Obadde Okimanyi?

Lwaki Yusufu yamwako enviiri nga tannagenda eri Falaawo? Bayibuli bw’egamba nti taata wa Timoseewo yali “Muyonaani,” ekyo kitegeeza nti yazaalibwa mu Buyonaani?

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU

Nnali Ndowooza nti Nnyumirwa Obulamu mu Bujjuvu

Pawel Pyzara yali wa ffujjo, yakozesanga ebiragalalagala, era yali ayagala okukuguka mu by’amateeka. Ebyo byonna byakyuka bwe yalwana n’abasajja munaana.

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE

“Omwana Wange Omwagalwa era Omwesigwa mu Mukama Waffe”

Kiki ekyayamba Timoseewo okuggwaamu ensonyi n’afuka omulabirizi Omukristaayo omulungi?

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bwe kiba nti abafu bajja kuzuukizibwa, banaabeera wa?

Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa

Olutalo Amagedoni Kye Ki?

Ekigambo Amagedoni kikozesebwa omulundi gumu gwokka mu Bayibuli, naye olutalo olwo lwogerwako mu Bayibuli yonna.