Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnazuula Ekintu Ekisinga Ettutumu

Nnazuula Ekintu Ekisinga Ettutumu

Lumu mu mwaka gwa 1984 nga nkyali mutiini, nnafuna ettutumu. Nnawangula empaka z’obwannalulungi mu Hong Kong. Ekifaananyi kyange kyafulumira ku miko egisooka mu mpapula z’amawulire ne mu butabo bungi. Nnayimbanga, nnazinanga, nnayitibwanga okwogera eri abantu, nnaweerezanga programu za ttivi, nnayambalanga engoye ez’ebbeeyi, era nnatambulanga n’abakungu gamba nga gavana wa Hong Kong.

Omwaka ogwaddako, nnatandika okuzannya firimu era ng’emirundi egisinga nze eyabanga omuzannyi omukulu. Bannamawulire baayagalanga nnyo okuwandiika ebinkwatako, abakubi b’ebifaananyi bankubanga ebifaananyi, abantu baayagalanga mbeewo nga waliwo emizannyo oba firimu empya ezitongozebwa, nga baggulawo ekizimbe ekipya, oba okuliirako wamu nange ekyemisana oba ekyeggulo. Nnali mukwano gwa bangi.

Nga nzannya firimu

Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera nnakizuula nti ebintu ebyo byonna byali tebireeta ssanyu nga bwe nnali nsuubira. Nnasinganga kuzannya firimu ezaabangamu ebikolwa eby’obukambwe, era ekyo kyabanga kya bulabe nnyo. Okwawukana ku bazannyi ba firimu abalala gamba ng’ab’omu Hollywood, abazannyi ba firimu mu Hong Kong be beezannyiranga ebitundu byabwe byonna. Ng’ekyokulabirako nze eyeezannyiranga ebitundu byange gamba ng’okuvuga pikipiki ne ngibuusa emmotoka. Firimu nnyingi zennazannyanga zaabangamu ebikolwa eby’obuseegu, ate endala zaabangamu eby’obusamize.

Mu 1995, nnafumbirwa omu ku abo abaafulumyanga firimu. Wadde nga nnali ndabika ng’alina buli kimu kye nnali nneetaaga; ettutumu, obugagga, n’omwami anjagala, nnali mwennyamivu. N’ekyavaamu, nnalekera awo okuzannya firimu.

NNAJJUKIRA OKUKKIRIZA KWE NNALINA NGA NKYALI MUTO

Nnatandika okujjukira okukkiriza kwe nnalina nga nkyali kawala kato. Mu kiseera ekyo, buli Lwamukaaga nze ne muganda wange omukulu twagendanga ewa mikwano gyaffe Abajulirwa ba Yakuwa. Taata waabwe, Joe McGrath, bwe yabanga abayigiriza Bayibuli, naffe yatuyigirizanga. Ab’omu maka ago baabanga basanyufu, nga baagalana, era omwami oyo yali ayagala nnyo mukyala we n’abaana be. Ate era nnanyumirwanga nnyo okugenda nabo gye baasinzizanga. Emirundi egimu twagendanga nabo mu nkuŋŋaana zaabwe ennene. Ebiseera ebyo byabanga bya ssanyu, era nnanyumirwanga nnyo.

Kyokka obutafaananako maka ago, ewaffe waaliyo ebizibu bingi. Engeri taata gye yeeyisangamu yaleeteranga maama ennaku nnyingi era yabanga mwennyamivu. Bwe nnali wa myaka nga kkumi, maama yalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Nneeyongera okuyiga Bayibuli naye nga siri munyiikivu, era nnabatizibwa nga nnina emyaka 17. Kyokka oluvannyuma lw’akaseera, nnatandika okwenyigira mu bikolwa ebikontana n’empisa ez’Ekikristaayo ne mba nga sikyali Mujulirwa wa Yakuwa.

NSALAWO OKUKOMAWO

Oluvannyuma lw’akaseera katono nga mmaze okufumbirwa, abalabirizi babiri okuva mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’omu kitundu mwe nnali mbeera bankyalira. Bannyinyonnyola engeri gye nnandisobodde okukomawo eri Yakuwa Katonda, era ne bakola enteekateeka omuminsani ayitibwa Cindy annyambe. Mu kiseera ekyo okukkiriza kwange kwali kuddiridde nnyo, era nnasaba Cindy asooke andage obukakafu obulaga nti Bayibuli Kigambo kya Katonda. Yandaga obunnabbi obuli mu Bayibuli obwatuukirizibwa. Oluvannyuma Cindy yafuuka mukwano gwange nfiirabulago. Yansaba anjigirize Bayibuli era ne nzikiriza. Omulundi ogwasookera ddala mu bulamu bwange, nnakitegeera nti Yakuwa Katonda ayagala nnyo abantu era ayagala mbe musanyufu.

Bwe nnaddamu okusinziza awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnanyumirwanga nnyo okubeera nabo okusinga abantu be nnabeeranga nabo nga nkyazannya firimu. Ebyo bye nnayitamu nga nkyali muvubuka byandeetera okuwulira nti sisobola kwesiga muntu yenna era saali musanyufu. Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa mu kibiina mwe nnali nkuŋŋaanira yandaga engeri Bayibuli gy’eyinza okunnyamba okweggyamu ebiroowozo ebibi, era nnayiga engeri gye nnyinza okufuna emikwano emirungi.

EKINTU EKISINGA ETTUTUMU

Mu 1997, nze n’omwami wange twasengukira mu Amerika mu kibuga Hollywood, eky’omu California. Nga ndi eyo, nnayigirizanga abantu Bayibuli era ekyo kyandeetera essanyu okusinga ettutumu lye nnalina nga nkyazannya firimu. Ng’ekyokulabirako, mu 2002 nnasisinkana Cheri, eyali mukwano gwange nga nkyali mu Hong Kong. Nze ne Cheri twalina ebintu bingi bye tufaanaganya. Ye yali nnalulungi wa Hong Kong omwaka ogwali guvuddeko ndyoke mpangule obwannalulungi omwaka ogwaddako. Mu butuufu, ye yannyambaza engule bwe nnawangula empaka z’obwannalulungi. Naye yali muzannyi wa firimu, era yakolanga ne ba dayirekita ba firimu abatutumufu. Era naye yali yasengukira mu kibuga Hollywood.

Nnawulira bubi Cheri bwe yaŋŋamba nti yafiirwa omusajja gwe yali agenda okufumbirwa. Ab’enzikiriza ye eya Bbuda tebalina kye baakolawo kumubudaabuda. Wadde nga yali afunye ettutumu abantu bangi lye bayaayaanira, teyali musanyufu era yali teyeesiga muntu yenna. Nnatandika okumubuulira ku ebyo bye nnali njize mu Bayibuli, naye olw’okuba yali wa Bbuda, yalwawo okukkiriza ebyo bye nnali mmubuulira.

Mukwano gwange Cheri ng’ali we bakwatira firimu

Lumu mu mwaka gwa 2003, Cheri yankubira essimu ng’ali mu kibuga Vancouver eky’omu Canada, gye yali agenze okuzannyira firimu. Yaŋŋamba nti bwe yali avuga emmotoka nga bw’atunuulira ebifo ebirabika obulungi, yeesanga ng’asaba mu ddoboozi eriwulikika era ng’agamba nti: “Mbuulira, ggwe Katonda ow’amazima? Erinnya lyo ggwe ani?” Mu kiseera ekyo, we yali ayita waaliwo ekizimbe Abajulirwa ba Yakuwa we basinziza era nga kiriko erinnya Yakuwa. Yalowooza nti Katonda azzeemu essaala ye era yali ayagala kusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa amangu ddala nga bwe kisoboka. Mu nnaku ntono, nnakola enteekateeka Cheri n’asobola okugenda mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’omu Vancouver ekikozesa Olucayina.

Oluvannyuma Cheri yaŋŋamba nti Abajulirwa ba Yakuwa bamwagala nnyo era nti yali asobola okubabuulira kyonna ekimuli ku mutima. Ekyo kyansanyusa nnyo kubanga Cheri bwe yali akyazannya firimu, teyalina mikwano. Cheri yeeyongera okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Kyokka mu 2005, yafuna kontulakiti okufulumya firimu bbiri mu China, era ekyo kyali kimwetaagisa okuddayo e Hong Kong. Eky’essanyu, mu 2006 Cheri yabatizibwa mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa olunene olwali mu Hong Kong, n’atandika okuweereza Yakuwa. Wadde nga yali ayagala okukola ekisingawo mu kuweereza Yakuwa, omulimu gwe gwali tegumusobozesa kukikola, era teyali musanyufu.

ESSANYU ERIVA MU KUYAMBA ABALALA

Mu 2009, Cheri yakola enkyukakyuka mu bulamu bwe. Yalekera awo okukola mu bya firimu asobole okuweereza Yakuwa mu bujjuvu era yafuna emikwano mingi mu Bajulirwa ba Yakuwa. Yatandika okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ekiseera kyonna era kimusanyusa nnyo okuyamba abantu okuba n’obulamu obulungi.Matayo 24:14.

Oluvannyuma Cheri yasalawo okuyiga Olunepali asobole okwegatta ku Bajulirwa ba Yakuwa ababuulira abantu aboogera olulimi olwo mu Hong Kong. Abanepali abasinga obungi mu Hong Kong banyoomebwa olw’okuba tebamanyi bulungi Lungereza wadde Olucayina, era n’olw’okuba obuwangwa bwabwe bwa njawulo. Cheri yaŋŋamba nti anyumirwa nnyo okuyigiriza abantu abo Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba, yasanga omukyala Omunepali eyali alina ky’amanyi ku Yesu naye nga tamanyi bikwata ku Yakuwa, Katonda ow’amazima. Cheri yakozesa Bayibuli okumulaga nti Yesu yasabanga Kitaawe ali mu ggulu. Omukyala oyo bwe yakimanya nti asobola okusaba Katonda ow’amazima ayitibwa Yakuwa, yakkiriza amawulire amalungi. Oluvannyuma lw’akaseera katono, omwami we ne muwala we nabo baatandika okuyiga Bayibuli.Zabbuli 83:18; Lukka 22:41, 42.

Cheri nga bw’afaanana kati

Bwe nnalaba engeri Cheri gye yali anyumirwamu okubuulira ekiseera kyonna, nneebuuza, ‘Lwaki nange sikola nga bw’akola?’ Mu kiseera ekyo, nnali nzizeeyo mu Hong Kong. Nnasalawo okubaako kye nkolawo nsobole okwenyigira mu bujjuvu mu kuyigiriza abantu amazima agali mu Bayibuli. Nkizudde nti okuwuliriza obulungi abantu nga balina kye boogera n’okubayamba okutegeera Ekigambo kya Katonda binnyambye okufuna essanyu erya nnamaddala.

Nkizudde nti okuyamba abantu okutegeera Ekigambo kya Katonda kindeetera essanyu erya nnamaddala

Ng’ekyokulabirako, nnayigiriza Bayibuli omukyala Omuventinaamu eyabeeranga omwennyamivu era ng’akaaba buli kiseera. Kati musanyufu era anyumirwa nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa.

Nze ne Cheri twafuna ekintu ekisinga ettutumu. Wadde ng’okuzannya firimu kyatufuula batutumufu, okuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa Katonda kituleetedde essanyu lingi kubanga kimuweesa ekitiibwa. Mu butuufu, tukakasizza ebigambo bya Yesu bino: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.