OMUNAALA GW'OMUKUUMI Janwali 2015 | Gavumenti Eteribaamu Kulya Nguzi

Abantu bangi okwetooloola ensi yonna bagamba nti ebitongole bya gavumenti bye bisinga okubaamu obulyi bw’enguzi. Ddala kisobola okufuna gavumenti eteriimu bulyi bwa nguzi?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Ebizibu Ebiva mu Kulya Enguzi

Ekizibu ekyo kya maanyi n’okusinga abamu bwe balowooza.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Obwakabaka bwa Katonda—Gavumenti Eteribaamu Kulya Nguzi

Ebintu mukaaga ebiraga nti Obwakabaka bwa Katonda tebujja kubaamu kulya nguzi.

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU

Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Bye Nnali Nneebuuza

Mayli Gündel yalekera awo okukkiririza mu Katonda kitaawe bwe yafa. Kiki ekyamuyamba okuddamu okukkiririza mu Katonda n’okufuna emirembe mu mutima?

Abaami—Amaka Gammwe Galimu Emirembe?

Amaka gayinza okuba obulungi mu by’enfuna kyokka nga gali bubi mu bintu ebisinga obukulu.

Obadde Okimanyi?

Ekigambo “omulaawe” ekikozesebwa mu Bayibuli kirina makulu ki? Lwaki abasumba ab’omu biseera eby’edda baayawulanga endiga ku mbuzi?

Tusaanidde Okusaba Yesu?

Yesu kennyini addamu ekibuuzo ekyo.

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Abantu Katonda ye yabatonda, oba baava mu nsolo?

Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa

Ddala Bayibuli Erina ky’Eyogera ku Kugattibwa kw’Abantu Abafaanaganya Ekikula?

Oyo eyatandikawo obufumbo amanyi ekisobola okuyamba obufumbo okuwangaala n’okubaamu essanyu.