Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Omanyi Katonda Kye Yakukolera?

Omanyi Katonda Kye Yakukolera?

“Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”Yokaana 3:16.

Ekyo kye kimu ku byawandiikibwa ebiri mu Bayibuli ebimanyiddwa ennyo era abantu bye basinga okujuliza. Kigambibwa nti ekyawandiikibwa ekyo “kye kisinga okulaga engeri Katonda gy’ayagalamu abantu era n’engeri gye bayinza okufunamu obulokozi.” Eyo ye nsonga lwaki mu nsi ezimu ekyawandiikibwa ekyo, “Yokaana 3:16,” oba ebigambo ebikirimu bitimbibwa mu bifo ebya lukale, ku bidduka, ku bisenge, ne mu bifo ebirala.

Abo abatimba ekyawandiikibwa ekyo balina okuba nga bakkiriza nti okwagala Katonda kwe yabalaga kujja kubasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Ggwe olina ndowooza ki ku nsonga eyo? Omanyi Katonda kye yakola ekiraga nti akwagala?

“KATONDA YAYAGALA NNYO ENSI”

Abantu bangi bakkiriza nti Katonda ye yatutonda era nti ye yatonda eggulu, ensi, n’ebintu ebirala byonna. Engeri ebintu ebiramu gye byakolebwamu yeewuunyisa nnyo ne kiba nti wateekwa okubaawo Omutonzi ow’amagezi eyabitonda. Buli lunaku, abantu bangi beebaza Katonda olw’obulamu bwe balina. Ate era bakimanyi nti okusobola okuba abalamu n’okunyumirwa obulamu, Katonda y’alina okubawa byonna bye beetaaga, gamba ng’empewo, amazzi, emmere, n’ebintu ebirala.

Tusaanidde okwebaza Katonda olw’ebintu ebyo, olw’okuba ye yatutonda era y’atubeesaawo. (Zabbuli 104:10-28; 145:15, 16; Ebikolwa 4:24) Bwe tufumiitiriza ku bintu byonna Katonda by’atukolera okusobola okuba abalamu, tukiraba nti ddala atwagala. Omutume Pawulo yawandiika nti: “[Katonda] y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.”Ebikolwa 17:25, 28.

Naye Katonda takoma ku kukola ku byetaago byaffe eby’omubiri, naye era atukolera n’ebintu ebirala bingi. Yatutonda nga tuli ba njawulo ku bisolo; nga tusobola okuyiga ebimukwatako n’okuba n’enkolagana ennungi naye. (Matayo 5:3) N’olwekyo, abantu abakola Katonda by’ayagala basobola okufuuka “abaana” ba Katonda.Abaruumi 8:19-21.

Yokaana 3:16 era walaga nti Katonda yatwagala nnyo n’atuuka n’okutuma Omwana we ku nsi atuyigirize ebimukwatako era atufiiririre. Kyokka abantu bangi tebamanyi nsonga lwaki Yesu yalina okufa era tebamanyi ngeri okufa kwe gye kwolekamu okwagala kwa Katonda. Ka tulabe engeri Bayibuli gy’etuyambamu okutegeera ensonga ezo.

‘YAWAAYO OMWANA WE EYAZAALIBWA OMU YEKKA’

Abantu bonna balwala, bakaddiwa, era bafa. Naye ekyo si kye kyali ekigendererwa kya Yakuwa Katonda. Yatonda abantu abaasooka nga ba kubeera ku nsi emirembe gyonna. Naye okusobola okubeera abalamu emirembe gyonna, baalina okumugondera. Katonda yabagamba nti bwe bandimujeemedde, bandifudde. (Olubereberye 2:17) Eky’ennaku, omuntu eyasooka yajeemera Katonda bw’atyo n’afa, era ekyo kyaviirako abantu bonna okutandika okufa. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”Abaruumi 5:12.

Naye, Katonda mwenkanya. (Zabbuli 37:28) Wadde nga teyabuusa maaso ekibi omuntu eyasooka kye yakola mu bugenderevu, akoze enteekateeka ey’okuggyawo okubonaabona n’okufa ebyajjawo olw’obujeemu bw’omuntu omu. Yakuwa yakolera ku musingi ogw’obwenkanya ogugamba nti “obulamu olw’obulamu” bw’atyo n’akola enteekateeka eyandisobozesezza abantu abawulize okufuna obulamu obutaggwaawo. (Okuva 21:23) Kati olwo, kyandisobose kitya abantu okufuna obulamu obutuukiridde? Kyali kyetaagisa omuntu omulala okuwaayo obulamu obutuukiridde nga Adamu bwe yalina.

Yesu yajja ku nsi n’awaayo obulamu bwe okusobola okununula abantu okuva mu kibi n’okufa

Ekyo kitegeeza nti tewali n’omu ku bantu abatatuukiridde eyali asobola okuwaayo obulamu obwo. Yesu yekka ye yali asobola okukikola. (Zabbuli 49:6-9) Olw’okuba teyasikira kibi, Yesu yali atuukiridde nga Adamu bwe yali nga tannayonoona. Yesu yawaayo obulamu bwe okununula abantu okuva mu buddu bw’ekibi. Bwe kityo, yasobozesa abantu bonna okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutuukiridde ng’obwo Adamu ne Kaawa bwe baalina. (Abaruumi 3:23, 24; 6:23) Waliwo ekintu kyonna kye twetaaga okukola okusobola okuganyulwa mu kwagala okwo okw’ensusso Katonda kwe yatulaga?

“BULI MUNTU YENNA AMUKKIRIRIZAAMU”

Yokaana 3:16, era wagamba nti “buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” Ekyo kitegeeza nti bwe tuba ‘ab’okufuna obulamu obutaggwaawo,’ waliwo kye tulina okukola. Tulina okukkiririza mu Yesu n’okumugondera.

Naye oyinza okwebuuza nti: ‘Lwaki kyetaagisa okumugondera? Yesu teyagamba nti “buli muntu yenna amukkiririzaamu” ajja kufuna obulamu obutaggwaawo?’ Kituufu nti okuba n’okukkiriza kikulu nnyo. Naye, okukkiriza okwogerwako mu Bayibuli si kukkiriza bukkiriza nti Yesu waali. Oyo akkiririza mu Yesu alina n’okukola ebyo Yesu bye yayigiriza. Bw’aba tabikola, okukkiriza kwe kuba tekugasa. Bayibuli egamba nti: “Okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.” (Yakobo 2:26) Mu ngeri endala, tuyinza okugamba nti omuntu akkiririza mu Yesu y’oyo akola ebyo Yesu bye yayigiriza, mu mbeera zonna ez’obulamu bwe.

Omutume Pawulo yakinnyonnyola mu ngeri eno: “Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza, kubanga tutegedde nti omuntu omu [Yesu] yafiiririra bonna . . . era yafiiririra bonna, abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiiririra era n’azuukira.” (2 Abakkolinso 5:14, 15) Okusobola okulaga nti tusiima ekyo Yesu kye yatukolera, tulina okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe; nga tetwefaako ffekka, wabula nga tulowooza ne ku oyo eyatufiiririra. Ekyo kitegeeza nti tulina okukulembeza ebyo Yesu bye yayigiriza. Ekyo okusobola okukikola, tusaanidde okukakasa nti ebyo bye tutwala ng’ebikulu, n’ebintu ebirala byonna bye tukola bituukagana n’ebyo Yesu bye yayigiriza. Abo abakkiririza mu Yesu era ne bakola bye yayigiriza banaafuna mpeera ki?

“ALEME OKUZIKIRIRA NAYE AFUNE OBULAMU OBUTAGGWAAWO”

Ekitundu ekisembayo ekya Yokaana 3:16 kitulaga ekyo Katonda ky’asuubizza abo abakkiririza mu kinunulo kya Yesu era abakola Katonda by’ayagala. Katonda asuubizza nti abantu abo ‘tebajja kuzikirira naye bajja kufuna obulamu obutaggwaawo.’ Naye obulamu obwo banaabufunira wa?

Abamu ku bo Yesu yabasuubiza nti bajja kugenda mu ggulu. Yagamba abayigirizwa be abeesigwa nti yali agenda kubateekerateekera ekifo mu ggulu basobole okufugira awamu naye. (Yokaana 14:2, 3; Abafiripi 3:20, 21) Abo abazuukizibwa okugenda mu ggulu “baliba bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye nga bakabaka okumala emyaka lukumi.”Okubikkulirwa 20:6.

Abagoberezi ba Kristo abajja okufuna enkizo eyo batono. Mu butuufu, Yesu yagamba nti: “Temutya mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa obwakabaka.” (Lukka 12:32) Bantu bameka abali mu ‘kisibo ekyo ekitono’? Okubikkulirwa 14:1, 4 wagamba nti: “Ne ndaba era laba! Omwana gw’Endiga [Yesu Kristo] ng’ayimiridde ku Lusozi Sayuuni [mu ggulu], ng’ali wamu n’emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya, ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa ku byenyi byabwe. . . . Baagulibwa okuva mu bantu okuba ebibala ebibereberye eri Katonda n’Omwana gw’Endiga.” Bwe tulowooza ku buwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaakabeera ku nsi, abantu abo 144,000 ddala ‘kisibo kitono.’ Nga bwe tulabye, abantu abo bajja kuba bakabaka. Kati olwo, banaafuga baani?

Yesu yayogera ku bantu abalala abamukkiririzaamu abajja okuganyulwa mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Mu Yokaana 10:16, Yesu yagamba nti: “Nnina endiga endala ezitali za mu kisibo kino; nazo nnina okuzireeta era zijja kuwulira eddoboozi lyange, zonna zifuuke ekisibo kimu, wansi w’omusumba omu.” Abo abayitibwa “endiga” bajja kufuna obulamu obutaggwaawo wano ku nsi, era ng’obwo bwe bulamu Adamu ne Kaawa bwe baalimu nga tebannayonoona. Tukakasa tutya nti abantu abo bajja kubeera wano ku nsi?

Emirundi mingi, Bayibuli eyogera ku lusuku lwa Katonda olujja okubeera wano ku nsi. Okukakasa kino, tukusaba obikkule Bayibuli yo osome ebyawandiikibwa bino: Zabbuli 37:9-11; 46:8, 9; 72:7, 8, 16; Isaaya 35:5, 6; 65:21-23; Matayo 5:5; Yokaana 5:28, 29; Okubikkulirwa 21:4. Ebyawandiikibwa ebyo biraga nti entalo, enjala, endwadde, n’okufa, bijja kuggwaawo. Ate era biraga nti ekiseera kijja kutuuka abantu abalungi babe nga basobola okwezimbira ennyumba ezaabwe, okubeera n’ennimiro ezaabwe, n’okuzaala abaana ng’ensi erimu mirembe gyokka. * Tekikusanyusa okukimanya nti Katonda atusubizza ebintu ebyo? Beera mukakafu nti ebisuubizo ebyo bijja kutuukirira.

KATONDA ATUKOLEDDE EBINTU BINGI

Bw’ofumiitiriza ku bintu Katonda by’akukoledde, ne by’akoledde abantu bonna okutwalira awamu, kyeyoleka kaati nti atukoledde ebintu ebirungi bingi nnyo. Tulina amagezi, tuli balamu, era atuwa ebintu byonna bye twetaaga okusobola okuba abalamu. N’ekisinga obukulu, Katonda yawaayo omwana we Yesu, eyatufiiririra tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo, nga bwe tulabye mu Yokaana 3:16.

Lowooza ku ssanyu ly’ojja okuba nalyo ng’ofunye obulamu obutaggwaawo mu nsi omutali ntalo, njala, kulwala, wadde okufa! Kyokka, bw’oba oyagala okufuna obulamu obwo osaanidde okukola Katonda by’ayagala. Kati weebuuze, Nkola Katonda by’ayagala?

^ lup. 24 Okumanya ebisingawo ebikwata ku bisuubizo ebyo, laba essuula 3 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.